YouVersion Logo
Search Icon

ABAROOMA 4

4
Ekyokulabirako ekya Aburahamu
1Kale tunaagamba ki ku jjajjaffe Aburahamu? 2Singa Aburahamu yali mutuukirivu olw'ebyo bye yakola, yandibadde n'ekimwenyumirizisa, wabula takirina mu maaso ga Katonda. 3Kale ekyawandiikibwa kigamba kitya? Kigamba nti: “Aburahamu yakkiriza Katonda, n'abalibwa okuba omutuukirivu.”#Laba ne Nta 15:6; Bag 3:6
4Omuntu akola omulimu, empeera ye tebalibwa ng'emuweebwa obuweebwa ng'ekirabo, obulabo, wabula aba ateekwa okugiweebwa. 5Kyokka atakoze mulimu, wabula n'akkiriza bukkiriza Katonda atukuza aboonoonyi n'abafuula abatuukirivu, okukkiriza kwe Katonda kw'asinziirako okumufuula omutuukirivu. 6Era kino Dawudi kye yategeeza bwe yayogera ku mukisa gw'omuntu, Katonda gw'abala okuba omutuukirivu awatali by'akoze. Agamba nti:
7“Ba mukisa abasonyiyibwa
ebyonoono byabwe,
ne baggyibwako ebibi byabwe.#Laba ne Zab 32:1-2
8Omuntu oyo wa mukisa
Mukama gw'abala nti talina kibi.”
9Kale omukisa ogwo gwa bakomole bokka, oba n'abatali bakomole nabo gwabwe? Tugamba nti: “Aburahamu yakkiriza Katonda, n'abalibwa okuba omutuukirivu.” 10Kino kyabaawo ddi? Ng'amaze okukomolebwa, oba nga tannakomolebwa? Tekyabaawo ng'amaze okukomolebwa, wabula nga tannaba kukomolebwa. 11Yakomolebwa luvannyuma, okukomolebwa kwe ne kuba akabonero akakasa obutuukirivu bwe yaweebwa olw'okukkiriza kwe, nga tannakomolebwa. Bw'atyo n'aba jjajja wa bonna abakkiriza nga si bakomole, ne babalibwa okuba abatuukirivu.#Laba ne Nta 17:10 12Era ye jjajja w'abakomole, sso si ow'abo abakoma ku kukomolebwa obukomolebwa, naye ow'abo abagoberera obulamu obw'okukkiriza, jjajjaffe Aburahamu bwe yalina nga tannakomolebwa.
Katonda bye yasuubiza bifunibwa bakkiriza
13Aburahamu n'ezzadde lye baasuubizibwa okuweebwa ensi, si lwa kutuukiriza ebiri mu Mateeka g'Ekiyudaaya, wabula lwa butuukirivu obuva mu kukkiriza.#Laba ne Nta 17:4-6; 22:17-18; Bag 3:29 14Singa abo abanywerera ku Mateeka g'Ekiyudaaya be baweebwa ebyo Katonda bye yasuubiza, okukkiriza kwandibadde kwa bwereere, n'ebyo Katonda bye yasuubiza tebyandibaddewo,#Laba ne Bag 3:18 15kubanga Amateeka gatuleetera okusunguwalirwa Katonda. Naye awatali Mateeka, tewaba kwonoona.
16Kale ebyo Katonda bye yasuubiza byesigamye ku kukkiriza, biryoke birabikire ddala nti byava mu kisa kya Katonda okuweebwa ezzadde lya Aburahamu lyonna, sso si abo bokka abanywerera ku Mateeka, naye n'abo abalina okukkiriza nga Aburahamu kwe yalina, kubanga Aburahamu ye jjajjaffe ffenna;#Laba ne Bag 3:7 17nga bwe kyawandiikibwa nti: “Nkutaddewo obeere jjajja w'amawanga amangi.” Ekyo kyamusuubizibwa Katonda gwe yakkiriza, Katonda azuukiza abafu, era alagira ebitaliiwo ne bibaawo.#Laba ne Nta 17:5
18Aburahamu yakkiriza n'asuubira, mu kifo ky'okuggwaamu essuubi. Kyeyava aba jjajja w'amawanga amangi, nga bwe yasuubizibwa nti: “Ezzadde lyo liriba bwe lityo.”#Laba ne Nta 15:5
19Teyaddirira mu kukkiriza, newaakubadde nga yali awezezza emyaka nga kikumi egy'obukulu, era ng'alaba nti omubiri gwe guli ng'ogufudde, nga ne Saara mugumba.#Laba ne Nta 17:17 20Teyalekayo kukkiriza, era teyabuusabuusa mu ebyo Katonda bye yamusuubiza. Yeeyongera okufuna amaanyi mu kukkiriza kwe, n'agulumiza Katonda, 21kubanga yakakasiza ddala nti Katonda asobola okukola kye yasuubiza. 22Olw'okukkiriza kwe, kyeyava abalibwa okuba omutuukirivu.
23Kyokka ebigambo ebigamba nti: “Yabalibwa okuba omutuukirivu”, tebyawandiikibwa ku lulwe yekka, 24wabula era ne ku lwaffe. Naffe abakkiriza oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe, tulibalibwa okuba abatuukirivu. 25Yesu oyo yattibwa olw'ebibi byaffe, n'azuukira tulyoke tuggyibweko omusango.#Laba ne Yis 53:4-5

Currently Selected:

ABAROOMA 4: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in