YouVersion Logo
Search Icon

ABAROOMA 16:25-27

ABAROOMA 16:25-27 LBWD03

Tutenderezenga Katonda ayinza okubanyweza mu kukkiriza. Ago ge Mawulire Amalungi ge ntegeeza abantu, ge ga Yesu Kristo, era kye kyama ekyakwekebwa okuva edda n'edda lyonna. Naye kaakano ekyama ekyo kyamanyisibwa mu byawandiikibwa abalanzi. Era Katonda ataggwaawo yalagira kimanyibwe ab'amawanga gonna, abantu balyoke bakkirize Katonda era bamuwulirenga. Kale Katonda oyo omu era omugezi yekka, aweebwenga ekitiibwa ku bwa Yesu Kristo emirembe n'emirembe. Amiina.