ABAROOMA 10
10
Mukama w'abantu bonna ye omu
1Abooluganda, omutima gwange kye gwagala, era kye nsabira Abayisirayeli eri Katonda, kye kino nti balokolebwe. 2Nkakasa nga banyiikirira okussaamu Katonda ekitiibwa, naye okunyiikira kwabwe tekwesigamye ku kumanya okutuufu. 3Tebaamanya ngeri Katonda gy'aweeramu bantu butuukirivu, bwe batyo ne bagezaako okwezuulira ekkubo eryabwe ku bwabwe, ne batagoberera ngeri Katonda gy'aweeramu bantu butuukirivu. 4Ekigendererwa ky'Amateeka kituukirizibwa mu Kristo, buli akkiriza alyoke abe mutuukirivu.
Obulamu si bwa balondemu
5Musa yawandiika ebikwata ku butuukirivu obuva mu kuwulira Amateeka, nti alibugoberera bulimuweesa obulamu.#Laba ne Leev 18:5 6Naye obutuukirivu obuva mu kukkiriza bugamba bwe buti nti: “Togambanga mu mutima gwo nti: Ani alirinnya mu ggulu?” - kwe kugamba, okuggyayo Kristo akke ku nsi#Laba ne Ma 30:12-14 7oba nti: “Ani alikka emagombe?” - kwe kugamba, aggyeyo Kristo okuva mu bafu. 8Kale obutuukirivu obwo bugamba butya? Bugamba nti: “Ekigambo kya Katonda kiri kumpi naawe; kiri mu kamwa ko, ne mu mutima gwo” - kwe kugamba, kye kigambo kye tutegeeza abantu, ekifa ku kukkiriza. 9Bw'oyatula n'akamwa ko nti: Yesu ye Mukama, era n'okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza, olirokolebwa. 10Omuntu akkiriza na mutima gwe n'aba omutuukirivu, era ayatula na kamwa ke n'alokolebwa.
11Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti “Buli amukkiriza taliswazibwa,”#Laba ne Yis 28:16 12tekisosola Muyudaaya na wa ggwanga ddala. Bonna Mukama waabwe ye omu, agaggawaza bonna abamukoowoola. 13Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokolebwa.”#Laba ne Yol 2:32
14Naye baliyinza batya okukoowoola gwe batannakkiriza? Era baliyinza batya okukkiriza gwe batawulirangako? Era baliyinza batya okumuwulirako, nga tewali abategeeza? 15Era baliyinza batya okutegeezebwa, nga tewali batumiddwa? Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Okujja kw'abo abaleeta Amawulire Amalungi nga kulungi!”#Laba ne Yis 52:7
16Naye si bonna abakkiriza Amawulire Amalungi. Yisaaya agamba nti: “Mukama, ani yakkiriza bye twayogera?”#Laba ne Yis 53:1 17N'olwekyo okukkiriza kuva mu ebyo ebiwulirwa, n'ebiwulirwa biva mu kutegeeza bantu ebifa ku Kristo.
18Naye ka mbuuze: tebabiwuliranga? Ddala baabiwulira, kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti:
“Eddoboozi lyabwe
lyabuna mu nsi zonna,
n'ebigambo byabwe
byatuuka ensi gy'ekoma.”#Laba ne Zab 19:4
19Era ka mbuuze: abantu ba Yisirayeli tebamanyi? Musa ye yasooka okugamba nti:
“Ndibaleetera okukwatirwa obuggya
abantu abatali ggwanga,
mbaleetere mmwe okusunguwalira
eggwanga eritalina magezi.”#Laba ne Ma 32:21
20Ne Yisaaya aguma n'agamba nti:
“Nalabibwa abo abatannoonyanga.
Nalabikira abo abatambuulirizanga.”#Laba ne Yis 65:1
21Kyokka eri Yisirayeli agamba nti: “Olunaku lwonna nalumala nga ngololedde emikono gyange abantu abatawulira era abajeemu.”#Laba ne Yis 65:2
Currently Selected:
ABAROOMA 10: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: