ABAFILIPPI 3
3
Obutuukirivu bwennyini
1Kale kaakano baganda bange, musanyukirenga mu Mukama. Okuddamu ebyo bye nabawandiikira edda tekunkooya, ate mmwe kwongera kubanyweza. 2Mwekuumenga ab'empisa embi, era abakomola omubiri obubiri, be mpita embwa. 3Ffe bakomolebwa abutuufu, kubanga tusinza Katonda nga Mwoyo we bw'atulaga, era twenyumiririza mu Yesu Kristo. Tetwesiga bikolebwa bukolebwa ku mubiri. 4Ne bwe kwandibadde okwesiga ebikolebwa obukolebwa ku mubiri, nze mbasinga abo. 5Nze nakomolebwa ku lunaku olw'omunaana okuva ku kuzaalibwa kwange. Eggwanga lyange, ndi Muyisirayeli, ow'omu Kika kya Benyamiini. Ndi Mwebureeyi wawu, omwana w'Abeebureeyi. Nali mu kibiina ekisinga okukwata amateeka g'Ekiyudaaya, kye ky'Abafarisaayo.#Laba ne Bik 23:6; 26:5; Bar 11:1 6Mu kunyiikira, nayigganya ab'ekibiina ky'abakkiriza Kristo, era mu kukwata amateeka g'Ekiyudaaya, saaliko kye nnenyezebwamu.#Laba ne Bik 8:3; 22:4; 26:9-11 7Naye ebyo byonna ebyali eby'omugaso gye ndi, nabiraba ng'okufiirwa olwa Kristo.
8Ddala ebintu byonna nabiraba ng'okufiirwa, kubanga okutegeera Kristo Mukama wange, kisinga ebirala byonna. Olwa Kristo nafiirwa ebintu byonna, era mbiraba ng'ebisasiro olw'okufuna Kristo ng'empeera yange, 9ndyoke mbeere mu ye, nga sirina butuukirivu bwange ku bwange, obuva mu kukwata amateeka g'Ekiyudaaya, wabula nga nnina obwo obuva mu kukkiriza Kristo, era obuva eri Katonda, obwesigamye ku kukkiriza. 10Kye njagala kwe kutegeera Kristo era n'okutegeera amaanyi agava mu kuzuukira kwe. Njagala okugabana ku kubonaabona kwe, era n'okumufaanana mu kufa kwe, 11nga nsuubira nti nange ndizuukira.
12Sigamba nti ekyo mmaze okukifuna, oba nti mmaze okutuukirira, wabula ŋŋenda mu maaso, nga ngezaako okufuna ekyo Kristo Yesu kye yagenderera mu kunfuula owuwe. 13Abooluganda, mmanyi nti sinnakifuna, naye kye nkola, kwe kwerabira eby'emabega, ne nduubirira ebiri mu maaso. 14Ŋŋenda mu maaso, ntuuke ku kiruubirirwa, awali ekirabo eky'obulamu obw'omu ggulu, Katonda kye yampitira mu Kristo Yesu. 15Kale ffe abakuze mu kukkiriza, ekyo kye tuba tulowoozanga. Naye oba kye mulowooza kirala, na kino Katonda alikibalaga. 16Naye tunywerere ku ekyo kye tutuuseeko.
17Abooluganda, mungobererenga mwenna, era mugobererenga abo abalina empisa ng'ezaffe.#Laba ne 1 Kor 4:16; 11:1 18Ekyo nkibabuulidde emirundi mingi, era kaakano nkiddamu nga nkaaba n'amaziga, nti waliwo bangi, mu mbeera z'obulamu bwabwe, abafuuse abalabe b'omusaalaba gwa Kristo. 19Enkomerero yaabwe, kuliba kuzikirira. Olubuto ye Katonda waabwe, ebyandibakwasizza ensonyi bye beenyumiririzaamu, n'ebirowoozo byabwe babimalidde ku bya nsi. 20Naye ffe obutaka bwaffe buli mu ggulu, era eyo Omulokozi, Mukama Yesu Kristo gye tumulindirira okuva. 21Emibiri gyaffe eminafu egifa, aligifuula ng'ogugwe ogwekitiibwa, ng'akozesa amaanyi agamusobozesa n'okussa ebintu byonna mu buyinza bwe.
Currently Selected:
ABAFILIPPI 3: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: