MARIKO 9
9
1Awo Yesu n'ayongera okubagamba nti: “Mazima mbagamba nti abamu ku bantu abali wano, balifa bamaze okulaba ng'Obwakabaka bwa Katonda buzze na maanyi.”
Okufuuka kw'endabika ya Yesu
(Laba ne Mat 17:1-13; Luk 9:28-36)
2Ennaku mukaaga bwe zaayitawo, Yesu n'atwala Peetero, ne Yakobo, ne Yowanne bokka, n'abakulembera, ne balinnya olusozi oluwanvu. Awo endabika ye n'efuuka nga balaba.#Laba ne 2 Peet 1:17-18 3Ebyambalo bye ne bimasamasa, ne bitukula nnyo nga tewali mwozi n'omu ku nsi eyandisobodde okubitukuza okwenkana awo. 4Olwo ne balaba Eliya ne Musa nga boogera ne Yesu.
5Awo Peetero n'agamba Yesu nti: “Mukama waffe, kirungi okuba nga tuli wano. Leka tuzimbewo ensiisira ssatu: emu yiyo, eyookubiri ya Musa, n'eyookusatu ya Eliya.” 6Peetero yagamba bw'atyo, ng'ebyokwogera bimubuze, kubanga ye ne banne, baali batidde nnyo.
7Awo ekire ne kijja, ne kibabikka n'ekisiikirize kyakyo, era eddoboozi ne lyogerera mu kire ekyo nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa, mumuwulirize.”#Laba ne Mat 3:17; Mak 1:11; Luk 3:22 8Ate amangwago bwe beebunguluza amaaso, ne batalaba muntu mulala ali nabo, wabula Yesu yekka.
9Awo bwe baali baserengeta okuva ku lusozi, Yesu n'abakuutira nti: “Kye mulabye temukibuulirako muntu mulala, okutuusa Omwana w'Omuntu lw'alimala okuzuukira.” 10Era nabo ne bagondera ky'abagambye, wabula ne beebuuzaganya nti: “Ategeezezza ki bw'ayogedde ku kuzuukira?”
11Awo ne bamubuuza nti: “Lwaki abannyonnyozi b'amateeka bagamba nti Eliya ye ateekwa okusooka okujja?”#Laba ne Mal 4:5; Mat 11:14 12Yesu n'abaddamu nti: “Kituufu, Eliya ye ateekwa okusooka okujja atereeze byonna. Wabula, lwaki kyawandiikibwa nti Omwana w'Omuntu ateekwa okubonyaabonyezebwa ennyo, era n'okunyoomebwa? 13Naye mbagamba nti Eliya yajja dda, era abantu baamukolako byonna bye baayagala, ng'ebyawandiikibwa bwe byamwogerako.”
Yesu awonya omulenzi aliko omwoyo omubi
(Laba ne Mat 17:14-21; Luk 9:37-43)
14Awo Yesu n'abayigirizwa be abasatu, bwe baava ku lusozi, ne basanga ekibiina ky'abantu kinene, nga kyetoolodde abayigirizwa be abalala, era ng'abannyonnyozi b'amateeka bawakana nabo. 15Abantu bonna bwe baalaba Yesu, amangwago ne bajjula essanyu, ne badduka okugenda gy'ali, ne bamwaniriza. 16Awo ye n'abuuza abayigirizwa be nti: “Kiki kye muwakana nabo?”
17Omu ku bantu abangi abaaliwo, n'amuddamu nti: “Muyigiriza, nakuleetedde mutabani wange, aliko omwoyo omubi ogumugaana okwogera. 18Buli lwe gumukwata, gumukuba ebigwo, n'abimba ejjovu, n'aluma amannyo, era n'alambaala. Nasabye abayigirizwa bo okugumugobako ne balemwa.”
19Yesu n'abaddamu nti: “Bantu mmwe, ab'omulembe guno ogutalina kukkiriza, ndimala nammwe kiseera kyenkana wa nga mbagumiikiriza? Omulenzi mumundeetere.” 20Awo ne bamumuleetera.
Omwoyo omubi bwe gwalaba Yesu, amangwago ne gujugumiza omulenzi, n'agwa wansi, ne yeevulungula, nga bw'abimba ejjovu. 21Yesu n'abuuza kitaawe w'omulenzi nti: “Amaze bbanga ki ng'akwatiddwa omwoyo guno omubi?” Ye n'addamu nti: “Okuviira ddala mu buto. 22Era emirundi mingi gumusuula mu muliro, oba mu mazzi, gumutte. Naye tukwatirwe ekisa, otuyambe, singa osobola.”
23Yesu n'amuddamu nti: “Ogambye nti: ‘Singa osobola?’ Manya nti byonna bisoboka, omuntu bw'aba n'okukkiriza.” 24Amangwago, kitaawe w'omulenzi n'addamu n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Nzikiriza, wabula nnyamba ssebo okukkiriza kwange kuggweemu okubuusabuusa!”
25Yesu bwe yalaba abantu abalala bangi nga nabo bajja badduka, n'aboggolera omwoyo omubi nti: “Mwoyo ggwe omubi ogutayogera, era ogwaziba amatu, nkulagira nti omulenzi muveeko, era tomuddangako nate.”
26Awo bwe gwamala okuleekaana n'okujugumiza ennyo omulenzi, ne gumuvaako, n'aba ng'afudde. Era abasinga obungi ne bagamba nti: “Afudde!” 27Kyokka Yesu n'amukwata ku mukono, n'amuyimusa, era omulenzi n'ayimirira.
28Oluvannyuma, Yesu bwe yayingira mu nnyumba, abayigirizwa be ne bamubuuza nti: “Lwaki ffe tetwasobodde kugumugobako?” 29Ye n'abaddamu nti: “Tewali kirala kye muyinza kugobesa mwoyo mubi gwa ngeri eno ku muntu, okuggyako okusaba Katonda.”
Yesu ayogera nate ku kufa kwe
(Laba ne Mat 17:22-23; Luk 9:43b-45)
30Yesu n'abayigirizwa be bwe baava awo, ne bayita mu Galilaaya, Yesu n'atayagala bantu balala bamanye, 31kubanga yali n'abayigirizwa be ng'abayigiriza nti: “Omwana w'Omuntu ajja kuweebwayo mu bantu, era bajja kumutta, wabula nga bamaze okumutta, waliyitawo ennaku ssatu n'azuukira.” 32Kyokka kye yabagamba tebaakitegeera, ate ne batya okumubuuza.
Asinga okuba oweekitiibwa
(Laba ne Mat 18:1-5; Luk 9:46-48)
33Awo Yesu n'abayigirizwa be ne batuuka e Kafarunawumu. Bwe baamala okuyingira mu nnyumba, Yesu n'ababuuza nti: “Mubadde muwakana ku ki mu kkubo?” 34Naye bo ne basirika, kubanga mu kkubo baali bawakana nga beebuuzaganya nti ani asinga okuba oweekitiibwa mu bo.#Laba ne Luk 22:24
35Awo Yesu n'atuula n'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, ne bajja w'ali, n'abagamba nti: “Buli ayagala okuba ow'olubereberye, ateekwa okuba asembayo mu bonna, era ateekwa okuba omuweereza wa bonna.”#Laba ne Mat 20:26-27; 23:11; Mak 10:43-44; Luk 22:26
36Awo n'ayita omwana omuto, n'amugamba okuyimirira we bayinza okumulabira. Namulera, olwo n'abagamba nti: 37“Buli ayaniriza omwana omuto ng'ono ku lwange, aba ayanirizza nze. Ate buli annyaniriza, aba tayanirizza nze, wabula aba ayanirizza oyo eyantuma.”#Laba ne Mat 10:40; Luk 10:16; Yow 13:20
Atatulwanyisa taba mulabe waffe
(Laba ne Luk 9:49-50)
38Awo Yowanne n'agamba Yesu nti: “Muyigiriza, twalaba omuntu ng'agoba emyoyo emibi ku bantu ng'akozesa erinnya lyo, ffe ne tugezaako okumuziyiza, kubanga takugoberera wamu naffe.”
39Yesu n'addamu nti: “Temumuziyiza, kubanga buli akola ebyamagero ng'akozesa erinnya lyange, tasobola, nga waakayitawo akaseera katono, okunjogerako obubi. 40Buli atatulwanyisa, taba mulabe waffe.#Laba ne Mat 12:30; Luk 11:23 41Mazima mbagamba nti buli abawa mmwe eggiraasi y'amazzi okunywa, kubanga muli ba Kristo, alifuna empeera ye, awatali kubuusabuusa.#Laba ne Mat 10:42
Ebisikiriza abantu okukola ekibi
(Laba ne Mat 18:6-9; Luk 17:1-2)
42“Buli alikozesa ekibi omu ku bato bano abanzikiriza, ekyandimusingidde obulungi kwe kumusiba ejjinja ezzito mu bulago, n'asuulibwa mu nnyanja. 43Era singa omukono gwo gukukozesa ekibi, gutemeko. Kirungi ofune obulamu obutaggwaawo ng'oli wa mukono gumu, okusinga lw'osigaza emikono gyombi, naye n'osuulibwa mu kifo eky'okuzikirira,#Laba ne Mat 5:30 [44omuli omuliro ogutazikira, era omutaggwa nvunyu.”]#9:44 Ebiwandiiko ebimu eby'edda tebirina lunyiriri luno (Laba olunyiriri 48).
45Oba singa okugulu kwo kukukozesa ekibi, kutemeko. Kirungi ofune obulamu obutaggwaawo ng'oli mulema, okusinga lw'osigaza amagulu gombi, naye n'osuulibwa mu kifo eky'okuzikirira, [46omuli omuliro ogutazikira, era omutaggwa nvunyu.]#9:46 Ebiwandiiko ebimu eby'edda tebirina lunyiriri luno (Laba olunyiriri 48).
47“Oba singa eriiso lyo likukozesa ekibi, liggyeemu. Kirungi oyingire Obwakabaka bwa Katonda ng'oli wa liiso limu, okusinga lw'osigaza amaaso gombi, naye n'osuulibwa mu kifo eky'okuzikirira,#Laba ne Mat 5:29 48omuli omuliro ogutazikira, era omutaggwa nvunyu.#Laba ne Yis 66:24
49“Buli muntu alikumwamu omuliro, ng'emmere bw'erungwamu omunnyo. 50Omunnyo gwa mugaso, naye singa gusaabulukuka, muyinza mutya okuguzzaamu obuka bwagwo? Mube n'omunnyo mu mpisa zammwe, era mutabagane.”#Laba ne Mat 5:13; Luk 14:34-35
Currently Selected:
MARIKO 9: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.