YouVersion Logo
Search Icon

MATAYO 4

4
Okukemebwa kwa Yesu
(Laba ne Mak 12:13; Luk 4:1-13)
1Awo Mwoyo Mutuukirivu n'atwala Yesu mu ddungu okukemebwa Sitaani.#Laba ne Beb 2:18; 4:15 2Yesu n'amalayo ennaku amakumi ana nga talya emisana n'ekiro. Bwe zaggwaako, enjala n'emuluma. 3Omukemi n'ajja n'amugamba nti: “Oba oli Mwana wa Katonda, gamba amayinja gano gafuuke emmere.”
4Yesu n'addamu nti: “Kyawandiikibwa nti: ‘Omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo, Katonda ky'ayogera.’ ”#Laba ne Ma 8:3
5Awo Sitaani n'atwala Yesu mu Kibuga Ekitukuvu, n'amuteeka ku kitikkiro ky'Essinzizo, 6n'amugamba nti: “Oba oli Mwana wa Katonda, weesuule wansi, kubanga kyawandiikibwa nti:
‘Katonda aliragira bamalayika be
bakuwanirire mu mikono gyabwe,
oleme okwekoona ekigere ku jjinja.’ ”#Laba ne Zab 91:11-12
7Yesu n'amuddamu nti: “Era kyawandiikibwa nti: ‘Tokemanga Mukama Katonda wo.’ ”#Laba ne Ma 6:16
8Sitaani ate n'atwala Yesu ku lusozi oluwanvu ennyo, n'amulaga obwakabaka bwonna obw'omu nsi, n'ekitiibwa kyabwo. 9N'amugamba nti: “Ebyo byonna nja kubikuwa, singa ofukamira n'onsinza.”
10Awo Yesu n'agamba Sitaani nti: “Vvaawo Sitaani! Kyawandiikibwa nti: ‘Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw'oweerezanga yekka.’ ”#Laba ne Ma 6:13
11Awo Sitaani n'aleka Yesu, bamalayika ne bajja ne bamuweereza.
Yesu atandika okuyigiriza mu Galilaaya
(Laba ne Mak 1:14-15; Luk 4:14-15)
12Awo Yesu bwe yawulira nga Yowanne aggaliddwa mu kkomera, n'agenda e Galilaaya.#Laba ne Mat 14:3; Mak 6:17; Luk 3:19-20 13N'aleka Nazaareeti, n'ajja n'abeera e Kafarunawumu, ekiri ku nnyanja mu kitundu kya Zebbulooni ne Nafutaali.#Laba ne Yow 2:12 14Kino kyaba bwe kityo, omulanzi kye yalanga kiryoke kituukirire, ekigamba nti:
15“Ensi ya Zebbulooni,
n'ensi ya Nafutaali,
etunuulidde ennyanja,
emitala wa Yorudaani,
Galilaaya ey'ab'amawanga amalala!#Laba ne Yis 8:22–9:2
16Abantu abaabeeranga mu kizikiza
balabye ekitangaala ekingi.
N'abaabeeranga mu nsi y'olumbe
ne mu kisiikirize kyalwo,
ekitangaala kibaakidde.”
17Okuva olwo, Yesu n'atandika okutegeeza abantu n'okubagamba nti: “Mwenenye, kubanga Obwakabaka obw'omu ggulu busembedde.”#Laba ne Mat 3:2
Yesu ayita abavubi abana
(Laba ne Mak 1:16-20; Luk 5:1-11)
18Yesu bwe yali ng'atambula ku lubalama lw'Ennyanja y'e Galilaaya, n'alaba abooluganda babiri, abavubi: Simooni ayitibwa Peetero, ne muganda we Andereya, nga batega akatimba mu nnyanja. 19N'abagamba nti: “Mujje muyitenga nange, ndibafuula abavubi b'abantu.” 20Amangwago ne baleka awo obutimba bwabwe, ne bagenda naye.
21Bwe yatambulako okuva awo, n'alaba abooluganda babiri abalala: Yakobo ne Yowanne, batabani ba Zebedaayo. Baali mu lyato ne kitaabwe Zebedaayo, nga baddaabiriza obutimba bwabwe. Yesu n'abayita. 22Amangwago ne baleka awo obutimba ne kitaabwe, ne bagenda ne Yesu.
Yesu ayigiriza n'awonya n'abalwadde
(Laba ne Luk 6:17-19)
23Awo Yesu n'atambula Galilaaya yonna ng'ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng'ategeeza abantu Amawulire Amalungi ag'Obwakabaka bwa Katonda, era ng'awonya obulwadde bwonna n'obuyongobevu bwonna mu bantu.#Laba ne Mat 9:35; Mak 1:39 24Ettutumu lye ne libuna mu Siriya mwonna. Ne bamuleetera abalwadde ab'endwadde eza buli ngeri, n'abaalina buli ekibabonyaabonya, n'abaliko emyoyo emibi, n'ab'ensimbu, n'abakonvubye, bonna n'abawonya. 25Abantu bangi nnyo ne bajja gy'ali, nga bava mu Galilaaya ne mu kitundu ky'e Dekapoli,#4:25 Dekapoli: Kitegeeza “Ebibuga ekkumi.” ne mu Kibuga Yerusaalemu, ne mu Buyudaaya, era n'emitala wa Yorudaani.

Currently Selected:

MATAYO 4: LBwD03

Highlight

Share

Copy

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in

YouVersion uses cookies to personalize your experience. By using our website, you accept our use of cookies as described in our Privacy Policy