MATAYO 27
27
Yesu atwalibwa eri Pilaato
(Laba ne Mak 15:1; Luk 23:1-2; Yow 18:28-32)
1Obudde bwe bwakya, bakabona abakulu n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bateesa ku kutta Yesu. 2Ne bamusiba, ne bamutwala ne bamuwaayo eri Pilaato omufuzi Omurooma.
Okufa kwa Yuda
(Laba ne Bik 1:18-19)
3Awo Yuda eyalyamu Yesu olukwe, bwe yalaba nga Yesu asaliddwa ogw'okufa, ne yejjusa. Era ebitundu bya ffeeza n'abiddiza bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga,#Laba ne Bik 1:18-19 4nga bw'agamba nti: “Nayonoona okuwaayo omuntu okuttibwa sso nga talina musango!” Naye bo ne bamuddamu nti: “Ekyo tukifaako ki? Ezo nsonga zo.” 5Yuda n'asuula ebitundu bya ffeeza mu Ssinzizo, n'afuluma, n'agenda yeetuga.
6Bakabona abakulu bwe baggyayo ebitundu bya ffeeza ebyo, ne bagamba nti: “Tekikkirizibwa okuteeka ensimbi zino mu kifo omuteekebwa ebirabo, kubanga ziguze omusaayi gw'omuntu.”
7Bwe baamala okukkaanya, ne bazigulamu ennimiro y'omubumbi, okuziikangamu abagenyi. 8Ennimiro eyo kyeyava eyitibwa Ennimiro y'Omusaayi n'okutuusa kati.
9Olwo ekyayogerwa omulanzi Yeremiya ne kituukirira nti: “Ne batwala ebitundu bya ffeeza amakumi asatu, omuwendo abamu ku bantu ba Yisirayeli gwe baalamula mu oyo,#Laba ne Zek 11:12-13; Yer 32:6-9 10ne bagulamu ennimiro y'omubumbi, nga Mukama bwe yandagira.”
Pilaato abuuza Yesu ebibuuzo
(Laba ne Mak 15:2-5; Luk 23:3-5; Yow 18:33-38)
11Awo Yesu n'ayimirira mu maaso g'omufuzi Omurooma. Omufuzi oyo n'amubuuza nti: “Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?” Yesu n'amuddamu nti: “Nga bw'oyogedde.”
12Ate bakabona abakulu bwe baamuwawaabira, n'ataddamu n'akatono. 13Awo Pilaato n'amugamba nti: “Towulira ebyo byonna bye bakulumiriza?” 14Kyokka Yesu n'atamuddamu kigambo na kimu. Omufuzi ne yewuunya nnyo.
Yesu asalirwa ogw'okufa
(Laba ne Mak 15:6-15; Luk 23:13-25; Yow 18:39–19:16)
15Ku buli Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako, omufuzi Omurooma yali amanyidde okuta omusibe, ekibiina ky'abantu gwe kyamusabanga. 16Ku mulundi guno, waaliwo omusibe amanyiddwa ennyo, ayitibwa Barabba. 17Awo abantu bwe baakuŋŋaana, Pilaato n'ababuuza nti: “Mwagala mbateere aluwa: Barabba, oba Yesu ayitibwa Kristo?” 18Kubanga yamanya nti baali bawaddeyo Yesu lwa buggya.
19Awo Pilaato bwe yali atudde ku ntebe ey'obulamuzi, mukazi we n'amutumira ng'agamba nti: “Omuntu oyo atalina musango tomukolako kabi n'akatono, muleke, kubanga olwaleero, nalumiddwa nnyo mu kirooto ku lulwe.”
20Awo bakabona abakulu, n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bafukuutirira ekibiina ky'abantu okusaba Barabba ateebwe, Yesu azikirizibwe. 21Naye omufuzi n'ababuuza nti: “Ku bano bombi mwagala mbateere aluwa?” Ne baddamu nti: “Barabba.”
22Pilaato n'ababuuza nti: “Kale Yesu ayitibwa Kristo nnaamukola ntya?” Bonna ne baddamu nti: “Akomererwe ku musaalaba!” 23Pilaato n'ababuuza nti: “Lwaki, kibi ki ky'akoze?” Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti: “Akomererwe ku musaalaba!”
24Pilaato bwe yalaba nga byonna bya bwereere, era nga beeyongera bweyongezi okusasamala, n'addira amazzi, n'anaaba mu ngalo, mu maaso g'abantu bonna nga bw'agamba nti: “Nze sirina kye nvunaanibwa ku kuttibwa kwa muntu ono. Byonna biri ku mmwe.”#Laba ne Ma 21:6-9
25Abantu bonna ne baddamu nti: “Ekibonerezo olw'okuttibwa kwe kibe ku ffe, ne ku baana baffe.”
26Awo Pilaato n'abateera Barabba. Ate Yesu bwe yamala okukubibwa n'embooko eriko amalobo agasuna, Pilaato n'amuwaayo okukomererwa ku musaalaba.
Abaserikale bakudaalira Yesu
(Laba ne Mak 15:16-20; Yow 19:2-3)
27Awo abaserikale ba Pilaato ne batwala Yesu mu lubiri lwa Pilaato, oluyitibwa Purayitoriyo. Ekibiina kyonna ne kimukuŋŋaanirako. 28Ne bamwambulamu engoye ze, ne bamwambaza olugoye olumyufu. 29Ne bawetaaweta amaggwa, ne bakolamu engule, ne bagimuteeka ku mutwe. Ne bamukwasa olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo, ne bafukamira mu maaso ge, ne bamukudaalira nga bagamba nti: “Wangaala, Kabaka w'Abayudaaya!” 30Ne bamufujjira amalusu, ne bakwata olumuli, ne bamukuba mu mutwe.
31Bwe baamala okumukudaalira, ne bamwambulamu olugoye luli, ne bamwambaza engoye ezize, ne bamutwala okumukomerera ku musaalaba.
Yesu akomererwa ku musaalaba
(Laba ne Mak 15:21-32; Luk 23:26-43; Yow 19:17-27)
32Bwe baali bafuluma, ne basisinkana omusajja Omukireene, ayitibwa Simooni, ne bamuwaliriza okwetikka omusaalaba gwa Yesu. 33Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Golugoota, ekitegeeza Ekifo ky'Ekiwanga, 34ne bawa Yesu omwenge gw'emizabbibu, nga gutabuddwamu ekintu ekikaawa. Kyokka bwe yakombako, n'atayagala kunywa.#Laba ne Zab 69:22
35Bwe baamala okumukomerera ku musaalaba, ne bagabana engoye ze, nga bazikubira akalulu.#Laba ne Zab 22:19; Mak 15:24; Luk 23:34; Yow 19:24 36Ne batuula awo ne bamukuuma.
37Waggulu w'omutwe gwe ne bateekawo omusango ogumuvunaanibwa, nga guwandiikiddwa nti: “ONO YE YESU, KABAKA W'ABAYUDAAYA.” 38Era ne bakomerera abanyazi babiri ku misaalaba okumpi ne Yesu: omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, omulala ku lwa kkono.
39Abantu abaali bayitawo ne bavuma Yesu,#Laba ne Zab 22:8; 109:25 40ne banyeenya emitwe, era ne bagamba nti: “Ggwe amenya Essinzizo, ate n'olizimba mu nnaku essatu, weewonye. Oba nga oli Mwana wa Katonda, va ku musaalaba okke!”#Laba ne Mat 26:61; Yow 2:19
41Bakabona abakulu n'abannyonnyozi b'amateeka, n'abantu abakulu mu ggwanga, nabo ne bamukudaalira nga bagamba nti: 42“Yawonyanga balala, tayinza kwewonya ye yennyini. Ye Kabaka wa Yisirayeli, kaakano ave ku musaalaba akke, tulyoke tumukkirize. 43Yeesiga Katonda, era yagamba nti Mwana wa Katonda. Kale Katonda amuwonye kaakano oba ng'amwagala.”#Laba ne Zab 22:9
44Abanyazi abaakomererwa ku misaalaba okumpi naye, nabo ne bamuvuma mu ngeri ye emu.
Okufa kwa Yesu
(Laba ne Mak 15:33-41; Luk 23:44-49; Yow 19:28-30)
45Okuva ku ssaawa mukaaga ez'emisana, okutuusa ku ssaawa mwenda ez'olweggulo, ekizikiza ne kibikka ensi yonna. 46Awo nga ku ssaawa ey'omwenda, Yesu n'akoowoola n'eddoboozi ery'omwanguka nti: “Eli, Eli, lama sabakutaani?” Ekitegeeza nti: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”#Laba ne Zab 22:2
47Abamu abaali bayimiridde awo bwe baawulira, ne bagamba nti: “Ayita Eliya!” 48Amangwago omu ku bo n'adduka, n'akwata ekyangwe, n'akinnyinka mu mwenge ogw'emizabbibu omukaatuufu, n'akissa ku lumuli, n'awa Yesu okunywa.#Laba ne Zab 69:22
49Naye abalala ne bagamba nti: “Leka, tulabe oba nga Eliya anajja okumuwonya!” 50Awo Yesu n'akoowoola nate n'eddoboozi ery'omwanguka, n'afa.
51Awo olutimbe olw'omu Ssinzizo ne luyulikamu wabiri, okuva waggulu okutuuka wansi. Ensi n'ekankana, enjazi ne zaatika.#Laba ne Kuv 26:31-33 52Entaana ne zibikkuka, abatuukirivu bangi abaali bafudde ne bazuukira, 53ne bava mu ntaana. Era Yesu bwe yamala okuzuukira, ne bayingira mu Kibuga Ekitukuvu, abantu bangi ne babalaba.
54Omurooma omukulu w'ekibinja ky'abaserikale era n'abaserikale abaali naye nga bakuuma Yesu, bwe baalaba ensi bw'ekankana, era ne byonna ebibaddewo, ne batya nnyo, ne bagamba nti: “Ddala ono abadde Mwana wa Katonda!”
55Waaliwo n'abakazi bangi abaayitanga ne Yesu okuva e Galilaaya, nga bamuweereza, abaali ewalako nga balengera.#Laba ne Luk 8:2-3 56Mu abo mwalimu Mariya Magudaleena, ne Mariya nnyina Yakobo ne Yose, era ne nnyina w'abatabani ba Zebedaayo.
Okuziikibwa kwa Yesu
(Laba ne Mak 15:42-47; Luk 23:50-56; Yow 19:38-42)
57Obudde bwe bwawungeera, omusajja omugagga ow'e Arimataya, ayitibwa Yosefu, n'ajja. Era naye yali muyigirizwa wa Yesu. 58N'agenda eri Pilaato, n'amusaba omulambo gwa Yesu. Awo Pilaato n'alagira okugumuwa.
59Yosefu n'atwala omulambo, n'aguzinga mu lugoye olweru olulungi. 60N'aguteeka mu ntaana eyiye empya ey'empuku, gye yali asimye mu lwazi. N'ayiringisa ejjinja eddene, n'aliggaza omulyango gw'entaana, n'agenda. 61Mariya Magudaleena ne Mariya omulala baali batudde awo mu maaso g'entaana.
Abakuumi ku ntaana
62Ku lunaku olwaddirira, kwe kugamba oluddirira olw'Okweteekateeka,#27:62 Oluddirira olw'Okweteekateeka: Lwe lwa Sabbaato lwennyini, Matayo lw'ataabotola butereevu. Laba Mak 15:42 bakabona abakulu n'Abafarisaayo, ne bakuŋŋaana, Ne bagenda eri Pilaato, 63ne bagamba nti: “Ssebo, tujjukidde: omulimba oyo bwe yali ng'akyali mulamu, yagamba nti: ‘Ennaku bwe ziriyitawo essatu, ndizuukira.’#Laba ne Mat 16:21; 17:23; 20:19; Mak 8:31; 9:31; 10:33-34; Luk 9:22; 18:31-33 64Kale nno lagira bakuumire ddala entaana, okutuusa ku lunaku olwokusatu, abayigirizwa be baleme kugenda kumubbamu, bagambe abantu nti: ‘Azuukidde!’ Olwo obulimba obwo obw'oluvannyuma ne buba bubi okusinga obwo obwasooka.”
65Pilaato n'abagamba nti: “Mulina abakuumi. Mugende mukuumire ddala entaana nga bwe muyinza.” 66Awo ne bagenda, ne banywereza ddala entaana, ejjinja ne balissaako akabonero, ne balekawo abakuumi.
Currently Selected:
MATAYO 27: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: