MATAYO 24
24
Yesu ayogera ku kuzikirizibwa kw'Essinzizo
(Laba ne Mak 13:1-2; Luk 21:5-6)
1Awo Yesu n'ava mu Ssinzizo. Bwe yali ng'agenda, abayigirizwa be ne bajja w'ali, okumulaga enzimba y'Essinzizo. 2Ye n'abaddamu nti: “Bino byonna mubiraba? Mazima mbagamba nti: mu kifo kino tewaliba jjinja na limu lirisigala nga lizimbiddwa ku linnaalyo. Gonna gagenda kusuulibwa wansi.”
Okuzibuwalirwa n'okuyigganyizibwa
(Laba ne Mak 13:3-13; Luk 21:7-19)
3Yesu bwe yali ng'atudde ku Lusozi olw'emiti Emizayiti, abayigirizwa ne bajja w'ali mu kyama, ne bagamba nti: “Tubuulire, ebyo biribaawo ddi? Era kabonero ki akaliraga okujja kwo, n'enkomerero y'ensi?” 4Yesu n'abaddamu nti: “Mwerinde, waleme kubaawo ababuzaabuza. 5Kubanga bangi balijja nga beeyita nze, Kristo, era balibuzaabuza bangi. 6Muliwulira entalo wano ne wali. Mwerinde muleme kweraliikirira. Ebyo biteekwa okubaawo, naye enkomerero eriba tennatuuka. 7Eggwanga erimu lirirumba eggwanga eddala, n'obwakabaka bulirumba obwakabaka obulala. Walibaawo enjala n'okukankana kw'ensi mu bitundu bingi. 8Naye olwo okubonaabona kuliba kutandika butandisi.
9“Mmwe balibakwata, ne babawaayo mubonyaabonyezebwe, era mulittibwa. Abantu bonna balibakyawa mmwe olw'okuba muli bagoberezi bange.#Laba ne Mat 10:22 10Olwo bangi baliterebuka, baliryaŋŋanamu olukwe, era balikyawagana. 11N'abalanzi ab'obulimba balirabika, ne babuzaabuza bangi. 12Olw'obujeemu okuyinga obungi, okwagala kw'abangi kuliwola. 13Naye oyo aligumira ebizibu okutuusa ku nkomerero, alirokolebwa.#Laba ne Mat 10:22 14Era Amawulire Amalungi agafa ku Bwakabaka galitegeezebwa abantu mu nsi zonna, okuba obujulirwa eri amawanga gonna, olwo enkomerero n'eryoka etuuka.
Ekintu eky'omuzizo ekyenyinyalwa
(Laba ne Mak 13:14-23; Luk 21:20-24)
15“Kale bwe muliraba eky'omuzizo ekyenyinyalwa, Daniyeli omulanzi kye yayogerako, nga kiri mu kifo ekitukuvu, (oyo asoma bino ategeere),#Laba ne Dan 9:27; 11:31; 12:11 16olwo abaliba mu Buyudaaya, baddukiranga mu bitundu eby'ensozi. 17Aliba waggulu ku nnyumba ye, bw'akkanga, tayingiranga mu nnyumba kuggyamu ky'anaatwala.#Laba ne Luk 17:31 18Aliba mu nnimiro, taddanga ka kunona kkooti ye. 19Abali embuto n'abayonsa mu nnaku ezo, nga balibonaabona nnyo! 20Mwegayirire Katonda, ekiseera kye muteekwa okuddukiramu kireme kubaawo mu biseera eby'obutiti oba ku Sabbaato. 21Kubanga mu nnaku ezo, walibaawo okubonaabona kungi, nga kusinga okulala kwonna okwali kubaddewo, okuviira ddala Katonda lwe yatonda ensi, okutuusa kati. Era tewagenda kuddawo kubonaabona kulala kwenkana awo.#Laba ne Dan 12:1; Kub 7:14 22Era singa ennaku ezo ez'okubonaabona tezaakendeezebwako, tewandiwonyeewo muntu n'omu. Naye olw'abalondemu, ennaku ezo zirikendeezebwako.
23“Mu biro ebyo, singa omuntu abagambanga nti: ‘Kristo ali wano’, oba nti: ‘Ali wali’, temukkirizanga. 24Kubanga abalimba nga beeyita Kristo, oba nga beeyita abalanzi, balirabika, ne bakola ebyamagero era ebyewuunyisa, nga bagenderera okukyamya abalondemu ba Katonda, singa kisoboka. 25Mwerinde, mbabuulidde nga bukyali.
26“Kale bwe babagambanga nti: ‘Kristo ali mu ddungu’, temugendangayo; oba nti: ‘Ali mu nnyumba’, temukkirizanga.#Laba ne Luk 17:23-24 27Kubanga ng'okumyansa okw'eggulu bwe kumyansiza ebuvanjuba ne kulabikira n'ebugwanjuba, n'okujja kw'Omwana w'Omuntu bwe kutyo bwe kuliba.
28“Awaba ekifudde, awo n'ensega we zikuŋŋaanira.#Laba ne Luk 17:37
Okutuuka kw'Omwana w'Omuntu
(Laba ne Mak 13:24-27; Luk 21:25-28)
29“Mu nnaku ezo, ekiseera eky'okubonaabona nga kyakaggwa, enjuba erijjako ekizikiza, n'omwezi gulirekayo okwaka, n'emmunyeenye ziriwanuka waggulu ne zigwa, n'amaanyi agali waggulu mu bbanga galinyeenyezebwa.#Laba ne Yis 13:10; 34:4; Ezek 32:7; Yol 2:10; 3:4; 3:15; Kub 6:12-13 30Olwo akabonero k'Omwana w'Omuntu kalirabika ku ggulu, ebika byonna eby'oku nsi ne bikuba ebiwoobe. Era ne balaba Omwana w'Omuntu ng'ajjira mu bire eby'oku ggulu, ng'alina obuyinza bungi, n'ekitiibwa kinene.#Laba ne Dan 7:13; Zek 12:10-14; Kub 1:7 31Eŋŋombe ey'eddoboozi ery'omwanguka erivuga, Omwana w'Omuntu n'atuma bamalayika be mu njuyi zonna ennya ez'ensi. Era balikuŋŋaanya abantu be abalondemu, okuva mu buli kasonda konna ak'ensi.
Ekiyigirwa ku muti omutiini
(Laba ne Mak 13:28-31; Luk 21:29-33)
32“Mulabire ku muti omutiini muyige: amatabi gaagwo bwe gatandika okutojjera ne gaddako ebikoola, mumanya nti obudde obw'ekyeya bunaatera okutuuka. 33Mu ngeri y'emu bwe mulabanga ebyo byonna, mumanyanga nti enkomerero eri kumpi nnyo. 34Mazima mbagamba nti: ebintu bino byonna bigenda kubaawo ng'abantu ab'omulembe guno tebannafa kuggwaawo. 35Ensi n'ebiri waggulu mu bbanga biriggwaawo, naye ebigambo byange tebiriggwaawo.
Tewali amanyi lunaku na ssaawa
(Laba ne Mak 13:32-37; Luk 17:26-30,34-36)
36“Naye tewali amanyi lunaku lwennyini na ssaawa, ebyo we biribeererawo, newaakubadde bamalayika mu ggulu, wadde nze Omwana, wabula Kitange yekka ye amanyi.
37“Nga bwe kyali mu mulembe gwa Noowa, bwe kityo bwe kiriba ne mu kujja kw'Omwana w'Omuntu.#Laba ne Nta 6:5-8 38Mu nnaku ezaakulembera omujjuzo, abantu baali balya era nga banywa. Baali bawasa era nga bafumbirwa, okutuusa ku lunaku Noowa lwe yayingira mu lyato. 39Ne batamanya, okutuusa omujjuzo lwe gwajja, ne gubasaanyaawo bonna. Bwe kityo bwe kiriba, Omwana w'Omuntu lw'alijja.#Laba ne Nta 7:6-24
40“Mu nnaku ezo, abantu abaliba ababiri mu nnimiro, omu alitwalibwa, ate omulala n'alekebwa. 41Abakazi babiri abaliba awamu nga basa ku lubengo, omu alitwalibwa, ate omulala n'alekebwa.
42“Kale mwerinde, kubanga temumanyi lunaku, Mukama wammwe lw'alijjirako. 43Mumanye kino nti singa nnannyini nnyumba amanya ekiseera omubbi ky'anajjiramu, yanditunudde, n'ataleka nnyumba ye kumenyebwa na kuyingirwa.#Laba ne Luk 12:39-40 44Kale nno nammwe mubenga beetegefu, kubanga Omwana w'Omuntu alijjira mu kiseera kye mutamusuubiriramu.
Abaddu abeetegekera mukama waabwe
(Laba ne Luk 12:41-48)
45“Kale ani omuwanika omwesigwa era omwegendereza, mukama we gw'aliteekawo okulabirira abaweereza be, abawe omugabo gwabwe ogw'emmere mu kiseera kyayo? 46Wa mukisa omuddu oyo, mukama we bw'alijja, gw'alisanga ng'akola bw'atyo. 47Mazima mbagamba nti: alimuteekawo okulabirira ebintu bye byonna.
48“Naye singa omuddu oyo aba omubi, n'agamba mu mutima gwe nti: ‘Mukama wange aluddewo okudda’, 49n'atandika okukuba baddu banne, era n'atandika okulya n'okunywa awamu n'abatamiivu, 50mukama w'omuddu oyo alijjira ku lunaku lw'atamusuubirirako, ne mu ssaawa gy'atamanyi. 51Alimutemamu wabiri, n'amuteeka wamu n'abakuusa, awaliba okukaaba n'okuluma obujiji.
Currently Selected:
MATAYO 24: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: