MATAYO 24:9-11
MATAYO 24:9-11 LBWD03
“Mmwe balibakwata, ne babawaayo mubonyaabonyezebwe, era mulittibwa. Abantu bonna balibakyawa mmwe olw'okuba muli bagoberezi bange. Olwo bangi baliterebuka, baliryaŋŋanamu olukwe, era balikyawagana. N'abalanzi ab'obulimba balirabika, ne babuzaabuza bangi.





