ABEEBUREEYI 1
1
Katonda ayogerera mu Mwana we
1Edda Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe emirundi mingi era mu ngeri nnyingi, ng'ayita mu balanzi. 2Naye mu biseera bino eby'oluvannyuma, ayogedde naffe ng'ayita mu Mwana we, gwe yateekawo okuweebwa byonna, era gwe yayitamu okutonda ebintu byonna. 3Mu ye ekitiibwa kya Katonda mwe kirabikira, era mu ye mwe tulabira ddala Katonda nga bw'afaanana. Era ye awanirira ebintu byonna n'amaanyi g'ekigambo kye. Bwe yamala okusobozesa ebibi by'abantu okusonyiyibwa, n'atuula mu ggulu ku ludda olwa ddyo olwa Katonda Nnannyinibuyinza.#1:3 ku ludda olwa ddyo olwa…: Ekyo kye kifo ekisinga eby'abalala obuyinza n'ekitiibwa. Ebyokulabirako ebirala laba ne 1:13, 8:1; 10:12; 1 Bassekabaka 2:19; Zabbuli 110:1; Ebikolwa 2:34; Abeefeso 1:20.
Omwana asinga bamalayika ekitiibwa
4Omwana yaweebwa ekitiibwa ekisinga ekya bamalayika, nga bwe yaweebwa erinnya erisinga agaabwe. 5Kubanga ani ku bamalayika, Katonda gwe yali agambye nti:
“Oli Mwana wange,
olwaleero nkuzadde”?
Oba nti:
“Ndiba Kitaawe,
naye n'aba Mwana wange”?#Laba ne Zab 2:7; 2 Sam 7:14; 1 Byom 17:14
6Era ate Katonda bwe yali ng'ali kumpi okutuma mu nsi Omwana we omuggulanda, yagamba nti:
“Bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.”#Laba ne Ma 32:43
7Bw'ayogera ku bamalayika agamba nti:
“Katonda afuula bamalayika be ng'empewo,
n'abaweereza be
abafuula ennimi ng'ez'omuliro.”#Laba ne Zab 104:4
8Kyokka bw'ayogera ku Mwana, agamba nti:
“Entebe yo ey'obwakabaka,
ayi Katonda,
ebeerawo emirembe n'emirembe.
N'obwakabaka bwo
obufugisa bwenkanya.#Laba ne Zab 45:6-7
9Oyagala abantu bakole ebituufu,
n'okyawa abantu okukola ebikyamu.
Katonda, Katonda wo,
kyeyava akufukako omuzigo
okukuwa ekitiibwa,
n'osanyuka okusinga banno.”
10Era agamba nti:
“Ggwe, Mukama,
mu kusooka watonda ensi,
n'eggulu ggwe walikola wennyini.#Laba ne Zab 102:25-27
11Byo biriggwaawo,
naye ggwe oli wa lubeerera.
Byonna birikaddiwa ng'ekyambalo.
12Olibizingako ng'omunagiro,
era birikyusibwa ng'ekyambalo.
Naye ggwe tokyukako,
n'obulamu bwo tebulikoma.”
13Kale ani ku bamalayika, Katonda gwe yali agambye nti:
“Tuula ku ludda lwange olwa ddyo,
okutuusa lwe ndifuula abalabe bo,
ekirinnyibwako ebigere byo”?#Laba ne Zab 110:1
14Kale bamalayika bonna, si gye myoyo egiweereza Katonda, gy'atuma okuyamba abo ab'okulokolebwa?
Currently Selected:
ABEEBUREEYI 1: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.