ENTANDIKWA 46
46
Yisirayeli n'ab'omu maka ge bagenda e Misiri
1Awo Yisirayeli n'atwala byonna bye yalina, n'agenda e Beruseba, n'awaayo ekitambiro eri Katonda wa kitaawe Yisaaka. 2Katonda n'ayogera ne Yisirayeli, ng'amulabikidde ekiro, n'amuyita nti: “Yakobo, Yakobo!” Ye n'addamu nti: “Nzuuno!”
3Katonda n'agamba nti: “Nze Katonda, Katonda wa kitaawo. Totya kuserengeta mu Misiri, kubanga bazzukulu bo ndibafuulira eyo eggwanga eddene. 4Nja kuserengeta wamu naawe mu Misiri, era ndikomyawo bazzukulu bo mu nsi eno. Era bw'olifa, Yosefu aliba waali, era alikuziika.”
5Yakobo n'asitula n'ava mu Beruseba, batabani be ne bamuteeka ye n'abaana baabwe ne bakazi baabwe, mu magaali, kabaka w'e Misiri ge yaweereza okumutwaliramu. 6Ne batwala ensolo zaabwe, n'ebintu byabwe bye baafunira mu nsi ya Kanaani, ne bagenda mu Misiri. Yakobo n'agenda wamu n'ezadde lye lyonna,#Laba ne Bik 7:15 7batabani be, ne bazzukulu be ab'obulenzi n'ab'obuwala.
Abayisirayeli abaagenda e Misiri
8Gano ge mannya g'Abayisirayeli abaagenda mu Misiri, Yakobo ne batabani be: Rewubeeni, omwana omubereberye owa Yakobo; 9ne batabani ba Rewubeeni: Hanoki ne Pallu, ne Hezirooni, ne Karumi; 10Simyoni ne batabani be: Yemweli ne Yamini, ne Okaadi, Yakini, ne Zohari, ne Sawuuli omwana w'omukazi Omukanaani; 11Leevi ne batabani be: Gerusooni ne Kohati, ne Merari; 12Yuda ne batabani be: Eri ne Onani, ne Seera ne Pereezi ne Zeera. Naye Eri ne Onani bafiira mu nsi ya Kanaani. Batabani ba Pereezi baali Hezurooni ne Hamuli. 13Yissakaari ne batabani be: Toola ne Puva, ne Yobu, ne Zimurooni. 14Zebbulooni ne batabani be: Seredi ne Eloni, ne Yaleeli. 15Abo be batabani ba Leeya, be yazaalira Yakobo mu Paddanaraamu. Waaliwo ne muwala we Dina. Ezzadde lyonna erya Yakobo eryasibuka mu Leeya, baali abantu amakumi asatu mu basatu.
16Gaadi ne batabani be: Zifiyooni ne Haggi, ne Suni ne Ezubooni, ne Eri ne Aroodi, ne Areli; 17Aseri ne batabani be: Yimuna ne Yisuwa ne Yisuyi, ne Beriya, ne Seera mwannyinaabwe; batabani ba Beriya: Heberi ne Malukiyeeli. 18Abo ekkumi n'omukaaga, lye zzadde lya Yakobo eryasibuka mu Zilupa, omuzaana Labani gwe yawa Leeya muwala we.
19Raakeeli muka Yakobo, yamuzaalira abaana ab'obulenzi babiri: Yosefu ne Benyamiini. 20Mu Misiri, Asenati, muwala wa Potifera kabona w'e Oni, yazaalira Yosefu abaana ab'obulenzi babiri: Manasse ne Efurayimu.#Laba ne Nta 41:50-52 21Batabani ba Benyamiini baali: Bela ne Bekeri, ne Asubeeli ne Gera, ne Naamani ne Eki, ne Roosi, ne Muppimu, ne Huppimu, ne Aruudi. 22Abo ekkumi n'abana lye zadde lya Yakobo eryasibuka mu Raakeeli.
23Daani yalina mutabani we Husimu. 24Batabani ba Nafutaali baali Yazeeli, ne Guni, ne Yezeri, ne Sillemu. 25Abo omusanvu lye zadde lya Yakobo eryasibuka mu Biliha, omuzaana Labani gwe yawa Raakeeli muwala we.
26Ezzadde lya Yakobo lyonna eryagenda mu Misiri, lyali abantu nkaaga mu mukaaga, nga tobaliddeemu baka batabani be. 27Batabani ba Yosefu abaamuzaalirwa mu Misiri, baali babiri. Abantu bonna ab'omu nnyumba ya Yakobo abaagenda mu Misiri, baali nsanvu.#Laba ne Bik 7:14
Yakobo n'ab'omu nnyumba ye mu Misiri
28Yakobo n'atuma Yuda okumukulemberamu, agende eri Yosefu amusabe abasisinkane e Goseni. Ne batuuka mu kitundu ky'e Goseni. 29Yosefu n'ateekateeka eggaali ye, n'agenda e Goseni okusisinkana Yisirayeli kitaawe. Bwe baasisinkana, Yosefu n'agwa kitaawe mu kifuba, n'akaaba amaziga okumala ekiseera kiwanvu. 30Yisirayeli n'agamba Yosefu nti: “Ne bwe nfa kaakano, kasita nkulabyeko ne mmanya ng'okyali mulamu.”
31Yosefu n'agamba baganda be n'ab'omu nnyumba ya kitaawe nti: “Ka ŋŋende ntegeeze kabaka nti baganda bange n'ab'omu nnyumba ya kitange, abaali mu nsi ya Kanaani, bazze gye ndi. 32Nja kumutegeeza nti muli basumba, era abalunzi b'ebisolo, era nti muleese endiga zammwe n'embuzi n'ente zammwe, n'ebyammwe byonna bye mulina. 33Kabaka bw'anaabayita n'ababuuza nti: ‘Mukola mulimu ki?’ 34Munaamuddamu nti: ‘Ffe abaweereza bo, tubadde basumba okuva mu buto bwaffe n'okutuusa kati, nga ne bajjajjaffe bwe baali,’ mulyoke mubeere mu kitundu ky'e Goseni, kubanga Abamisiri baziza okubeera n'abasumba.”
Currently Selected:
ENTANDIKWA 46: LBwD03
Highlight
Share
Compare
Copy
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.