Bible App logo
Search Icon

ESITEERI 7

7
Hamani awanikibwa ku kalabba
1Awo kabaka ne Hamani ne bagenda okulya ekijjulo ewa Nnaabagereka Esiteeri, 2omulundi ogwokubiri. Bwe baali banywa omwenge, kabaka n'agamba Esiteeri nate nti: “Nnaabagereka Esiteeri, kiki ky'osaba? Kijja kukuweebwa. Era kiki ky'oyagala? Kijja kutuukirizibwa, ne bwe kinaaba ekimu ekyokubiri eky'obwakabaka.”
3Awo Nnaabagereka Esiteeri n'agamba nti: “Bw'oba ng'onkwatiddwa ekisa, era bw'oba ng'osiimye, ayi Ssaabasajja, okumpa kye nsaba, nkusaba n'obuwombeefu mpeebwe obulamu bwange, era nkwegayirira, abantu bange baleme okuttibwa. 4Nze n'abantu bange tutundiddwa okuttibwa, okuzikirizibwa, n'okumalibwawo ddala. Singa kibadde kikoma ku kya kutundibwa okuba abaddu n'abazaana, nandisirise ne sikuteganya, newaakubadde ng'omulabe teyandiyinzizza kuliwa, kabaka bye yandifiiriddwa.”
5Awo Kabaka Ahaswero n'abuuza Nnaabagereka Esiteeri nti: “Ani ayinza okwaŋŋanga okukola ekintu ng'ekyo? Era omuntu oyo ali ludda wa?”
6Awo Esiteeri n'agamba nti: “Omulabe waffe, atuyigganya, ye musajja ono Hamani omubi.”
Hamani n'atya nnyo mu maaso ga kabaka ne Nnaabagereka. 7Kabaka n'asituka ng'ajjudde obusungu, n'ava we yali anywera omwenge, n'afuluma ebweru, n'agenda mu bulimiro bw'omu lubiri. Hamani bwe yalaba nga kabaka amaliridde okumubonereza, n'asigalawo okwegayirira Nnaabagereka Esiteeri okuwonya obulamu bwe. 8Awo kabaka n'akomawo ng'ava mu bulimiro bw'omu lubiri, n'ayingira mu kifo mwe yali anywera omwenge, n'asanga Hamani ng'agudde ku kitanda, Esiteeri kwe yali. Awo kabaka n'agamba nti: “Omusajja ono ayagala na kukwata Nnaabagereka wano mu maaso gange, mu lubiri lwange?” Olwayogera ekyo, ne babikka ku maaso ga Hamani. 9Awo Haruboona omu ku balaawe abaweereza kabaka n'agamba nti: “Era Hamani yabadde akoze n'akalabba mu maka ge ak'okuwanikako Moruddekaayi, eyawonya obulamu bwa Ssaabasajja. Obugulumivu bw'akalabba ako, bwa mita amakumi abiri mu bbiri n'ekitundu.”
Kabaka n'alagira nti: “Mumuwanike okwo.”
10Awo Hamani n'awanikibwa ku kalabba, ke yali akoledde Moruddekaayi. Awo obusungu bwa kabaka ne bukkakkana.

Currently Selected:

ESITEERI 7: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in