YouVersion Logo
Search Icon

EBIKOLWA 9

9
Okukyuka kwa Sawulo
(Laba ne Bik 22:6-16; 26:12-18)
1Sawulo bwe yali ng'akyewerera okutta abayigirizwa ba Mukama, n'agenda eri Ssaabakabona, 2n'amusaba ebbaluwa emuwa obuyinza okugenda mu makuŋŋaaniro ag'e Damasiko, akwate abasajja n'abakazi abatambulira mu Kkubo lya Mukama, abaleete e Yerusaalemu basibibwe.
3Awo bwe yali ng'anaatera okutuuka e Damasiko, amangwago okwakaayakana okwava mu ggulu ne kumwetooloola. 4N'agwa wansi, n'awulira eddoboozi nga limugamba nti: “Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki?”
5N'agamba nti: “Ggwe ani Mukama wange?” N'addamu nti: “Nze Yesu gw'oyigganya. 6Naye golokoka, oyingire mu kibuga. Eyo gy'onootegeerezebwa ky'onookola.” 7Abasajja abaali batambula ne Sawulo ne bayimirira nga basamaaliridde, kubanga baawulira eddoboozi, naye nga tebalaba muntu. 8Sawulo n'agolokoka. Bwe yazibula amaaso ge, n'atasobola kulaba. Ne bamukwata ku mukono, ne bamuyingiza mu Damasiko. 9N'amalira ddala ennaku ssatu nga talaba, era nga talya wadde okunywa.
10Waaliwo omuyigirizwa mu Damasiko, erinnya lye Ananiya. Mukama n'amulabikira n'amugamba nti. “Ananiya!” N'addamu nti: “Nzuuno Mukama wange.”
11Mukama n'amugamba nti: “Golokoka okwate ekkubo eriyitibwa Eggolokofu, obuuze mu nnyumba ya Yuda, omuntu ow'e Taruso, erinnya lye Sawulo. Mu kiseera kino asinza Katonda, 12era alabikiddwa omuntu, erinnya lye Ananiya, ng'ayingira era ng'amussaako emikono addemu okulaba.”
13Ananiya n'amuddamu nti: “Mukama wange, mpulidde bangi nga boogera ku musajja oyo, nga bw'abonyaabonyezza abantu bo abali mu Yerusaalemu. 14Era ne wano alina obuyinza obumuweereddwa bakabona abakulu, asibe abo bonna abakoowoola erinnya lyo.” 15Mukama n'amugamba nti: “Genda, kubanga oyo nze mwerondedde ammanyise mu b'amawanga amalala, ne mu bakabaka, ne mu bantu ba Yisirayeli. 16Era ndimulaga nga bw'ateekwa okubonaabona ennyo ku lwange.”
17Awo Ananiya n'agenda, n'ayingira mu nnyumba, n'amussaako emikono, n'amugamba nti: “Owooluganda Sawulo, Mukama Yesu yennyini eyakulabikira bwe wali mu kkubo ng'ojja, antumye oddemu okulaba, era ojjuzibwe Mwoyo Mutuukirivu.”
18Amangwago, ku maaso ge ne kuvaako ebintu ebiri ng'amagamba g'ebyennyanja, n'asobola okuddamu okulaba. N'agolokoka n'abatizibwa. 19Bwe yamala okulya emmere, n'addamu amaanyi.
Sawulo abuulira ab'omu Damasiko
Awo Sawulo n'amala ennaku ntonotono ng'ali n'abayigirizwa mu Damasiko. 20Teyalwa, n'ayingira mu makuŋŋaaniro, ng'agenda ategeeza abantu nti Yesu ye Mwana wa Katonda.
21Bonna abaamuwulira ne bawuniikirira, ne bagamba nti: “Ono si ye wuuyo eyayigganyanga ab'omu Yerusaalemu abakowoola erinnya eryo? Era si kye kyamuleeta ne wano abasibe, abatwale eri bakabona abakulu?”
22Kyokka Sawulo ne yeeyongera okuba n'amaanyi mu kuyigiriza kwe, n'asirisa Abayudaaya abaali mu Damasiko, ng'akakasa nti Yesu ye Kristo.
23Ennaku nnyingi bwe zaayitawo, Abayudaaya ne bateesa okutta Sawulo.#Laba ne 2 Kor 11:32-33 24Kyokka Sawulo n'ategeera olukwe lwabwe. Baamukuumanga ku nzigi emisana n'ekiro bamutte. 25Naye ekiro abayigirizwa be ne bamutwala ne bamussiza ku kisenge nga bamutadde mu kisero.
Sawulo mu Yerusaalemu
26Sawulo bwe yatuuka mu Yerusaalemu, n'agezaako okwetaba n'abayigirizwa, kyokka bo ne bamutya, kubanga tebakkiriza nti naye muyigirizwa. 27Kyokka Barunaba n'amutwala n'amwanjula eri abatume, n'abategeeza nga Sawulo bwe yali mu kkubo n'alaba Mukama, era nga Mukama bwe yayogera naye. Era n'abategeeza nga Sawulo bwe yali mu Damasiko n'ayogera n'obuvumu mu linnya lya Yesu. 28Sawulo n'abeera nabo mu Yerusaalemu nga yeetaaya, ng'agenda ayogera n'obuvumu mu linnya lya Mukama. 29N'ayogera era n'awaanyisaganyanga ebirowoozo n'Abayudaaya aboogera Oluyonaani, naye bo ne bagezaako okumutta. 30Abooluganda bwe baakimanya, ne bamutwala e Kayisaariya, ne bamuweereza e Taruso.
31Awo ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Buyudaaya bwonna ne Galilaaya ne Samariya ne kiba mirembe, era ne kinywezebwa, ne kyeyongera obunene, nga kissaamu Katonda ekitiibwa, nga ne Mwoyo Mutuukirivu akijjuza essanyu.
Peetero mu Lida ne Yoppa
32Awo Peetero n'atambula wonna wonna, n'atuuka eri abakkiriza ab'e Lida. 33N'asangayo omuntu erinnya lye Ayineeya, eyali akoozimbye, nga tava ku kitanda okumala emyaka munaana. 34Peetero n'amugamba nti: “Ayineeya, Yesu Kristo akuwonya. Situka weeyalire.” Awo Ayineeya n'asituka. 35Abantu bonna abaali mu Lida ne mu Saroni ne bamulaba, ne bakkiriza Mukama. 36Mu Yoppa mwalimu omukazi erinnya lye Tabbiita, mu Luyonaani Doruka, ekitegeeza engabi. Tabbiita oyo yakolanga ebikolwa ebirungi bulijjo, era ng'agabira abaavu. 37Mu nnaku ezo n'alwala n'afa. Omulambo gwe ne bagunaaza ne baguteeka mu kisenge ekya waggulu. 38Yoppa kyali kumpi ne Lida. Awo abayigirizwa abaali e Yoppa bwe baawulira nti Peetero ali mu Lida, ne bamutumira abasajja babiri, ne bamugamba nti: “Tukwegayiridde, jjangu mangu gye tuli.” 39Awo Peetero n'asitula, n'agenda nabo. Bwe yatuukayo n'atwalibwa mu kisenge ekya waggulu. Bannamwandu bonna ne bamwetooloola nga bakaaba era nga bamulaga amakooti n'engoye endala Doruka bye yakola ng'akyali mulamu.
40Peetero n'abafulumya ebweru bonna, n'afukamira ne yeegayirira Katonda. N'akyukira omulambo, n'agamba nti: “Tabbiita, golokoka.” Awo Tabbiita n'azibula amaaso ge. Bwe yalaba Peetero, n'atuula. 41Peetero n'amukwata ku mukono, n'amuyimusa. Awo n'ayita bannamwandu n'abakkiriza abalala, n'amubalaga nga mulamu. 42Ne kimanyibwa mu Yoppa yenna. Bangi ne bakkiriza Mukama. 43Peetero n'amala ennaku nnyingi mu Yoppa ewa Simooni, omuwazi w'amaliba.

Currently Selected:

EBIKOLWA 9: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in