YouVersion Logo
Search Icon

EBIKOLWA 8:29-31

EBIKOLWA 8:29-31 LBWD03

Mwoyo Mutuukirivu n'agamba Filipo nti: “Genda otuuke ku gaali eyo.” Awo Filipo bwe yadduka n'agituukako, n'amuwulira ng'asoma ekitabo ky'omulanzi Yisaaya, n'amubuuza nti: “By'osoma obitegeera?” Ye n'amuddamu nti: “Nnyinza ntya okubitegeera nga tewali abinnyinyonnyola?” Awo n'ayita Filipo alinnye, atuule wamu naye.