EBIKOLWA 28
28
Mu Malita
1Bwe twamala okuwona, ne tutegeera ng'ekizinga ekyo kiyitibwa Malita. 2Bannansi baakwo baatukwatirwa ekisa ekitali kya bulijjo, kubanga enkuba yali etandise okutonnya, nga n'obudde bwa butiti, ne batukumira omuliro, ne batwaniriza ffenna. 3Pawulo bwe yakuŋŋaanya omuganda gw'obuku n'agussa mu muliro, omusota ogw'obusagwa ne guvaamu olw'ebbugumu, ne gumwerippa ku mukono. 4Bannansi bwe baalaba ng'omusota guleebeetera ku mukono gwe, ne bagambagana nti: “Mazima omuntu ono mutemu. Newaakubadde awonye ennyanja, omuwoolezi w'eggwanga tamuganya kubeera mulamu.” 5Kyokka Pawulo, omusota n'agukunkumulira mu muliro, n'atabaako kabi. 6Bannansi ne balinda, nga balowooza nti anaazimba oba nti ajja kugwa awo afiirewo. Bwe baalwawo ennyo nga bamutunuulira, ne batalaba kabi kamubaddeko, ne beefukulula, ne bagamba nti: “Ono lubaale.”
7Okumpi n'ekifo ekyo, waaliwo ebyalo by'omusajja omwami w'ekizinga ekyo, erinnya lye Pubuliyo, eyatwaniriza n'atukyaza ewuwe okumala ennaku ssatu. 8Awo olwatuuka, kitaawe n'akwatibwa omusujja n'ekiddukano eky'omusaayi. Pawulo n'ayingira gy'ali n'amusabira. Bwe yamussaako emikono, n'amuwonya. 9Ekyo bwe kyakolebwa, abantu abalala abaali ku kizinga ekyo nga balwadde, nabo ne bajja ne bawonyezebwa. 10Ne batuwa ekitiibwa kinene. Bwe twatuusa okusaabala okuvaayo ne batuleetera byonna bye twali twetaaga mu lugendo.
11Bwe waayitawo emyezi esatu, ne tusaabala mu lyato ery'e Alekisanderiya, eryali limaze ebiseera eby'obutiti ku kizinga ekyo. Eryato eryo lyaliko ekifaananyi ky'Abalongo. 12Ne tugoba ku Sirakuusa, ne tumalayo ennaku ssatu. 13Bwe twavaayo, ne tugenda nga tubalama, ne tutuuka e Reegiyo.
Bwe twamalayo olunaku lumu, empewo ey'ebukiikakkono n'ejja. Ku lunaku olwokubiri ne tutuuka e Putewoli. 14Eyo twasangayo abooluganda, ne batuyita ne tumala nabo ennaku musanvu. Oluvannyuma ne tugenda e Rooma. 15Abooluganda ab'omu Rooma bwe baawulira, ne bajja ku katale ka Apiyo ne ku Bisulo Ebisatu okutusisinkana. Pawulo bwe yabalaba, ne yeebaza Katonda, era n'aguma omwoyo.
Pawulo mu Rooma
16Bwe twatuuka mu Rooma, Pawulo n'akkirizibwa okubeera yekka, ng'alina omuserikale amukuuma.
17Bwe waayitawo ennaku ssatu, Pawulo n'ayita abakulu b'Abayudaaya abaali mu Rooma bakuŋŋaane. Bwe baakuŋŋaana, n'abagamba nti. “Abooluganda, newaakubadde nga sirina kibi kye nakola ggwanga lyaffe, wadde okusobya empisa ze twafuna okuva ku bajjajjaffe, nasibibwa ne mpeebwayo mu mikono gy'Abarooma mu Yerusaalemu. 18Bwe bampozesa, ne baagala okunta, kubanga baazuula nga sikolanga kintu na kimu ekinsaanyiza okuttibwa. 19Kyokka Abayudaaya bwe baakiwakanya, ne mpalirizibwa okujulira eri Kayisaari, newaakubadde nga saalina kye nvunaana ggwanga lyange.#Laba ne Bik 25:11 20Kale olw'ensonga eyo, mbayise mbalabe era njogereko nammwe, kubanga nsibiddwa mu njegere zino, olw'oyo abantu ba Yisirayeli gwe basuubira.”
21Bo ne bamugamba nti: “Tetufunanga bbaluwa n'emu kuva Buyudaaya ekwogerako, wadde omu ku booluganda okujja okutubuulira, oba okwogera ekibi ku ggwe. 22Naye twandyagadde okumanya ggwe by'olowooza, kubanga tumanyi nti buli wantu ekibiina ekyo bakiwakanya.” 23Ne bamulagaanya olunaku olulala, era ku olwo ne bajja bangi mu nnyumba mwe yasulanga. N'abannyonnyola ng'abategeeza eby'Obwakabaka bwa Katonda, era n'anyiikira okubakkirizisa Yesu ng'ajuliza eby'omu Mateeka agaaweebwa Musa, n'ebyawandiikibwa abalanzi. Ekyo yakikola okuva enkya okutuusa akawungeezi. 24Abamu ne bakkiriza olw'ebyo bye yayogera, kyokka abalala ne batakkiriza. 25Ne balemwa okukkiriziganya, ne baabuka nga Pawulo amaze okubagamba kino nti: “Mwoyo Mutuukirivu yali mutuufu bwe yagamba bajjajjammwe ng'ayita mu mulanzi Yisaaya eyagamba nti:
26‘Genda eri abantu abo obagambe nti:
Weewaawo muliwulira,
naye temulitegeera.
Weewaawo mulitunula,
naye temulyetegereza.#Laba ne Yis 6:9-10
27Omutima gw'abantu bano gugubye,
n'amatu gaabwe gazibikidde,
n'amaaso gaabwe bagazibirizza,
sikulwa nga balaba n'amaaso,
nga bawulira n'amatu,
nga bategeera n'omutima,
ne bakyuka, ne mbawonya.’
28“Kale mutegeere nti obulokozi bwa Katonda buno buweerezeddwa eri ab'amawanga amalala. Bo baliwuliriza.” [ 29Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, Abayudaaya ne bagenda nga bawakana nnyo bokka na bokka.]#28:29 Ebiwandiiko ebimu eby'edda tebirina lunyiriri luno. 30Pawulo n'amala emyaka ebiri miramba ng'ali mu nnyumba gye yapangisa, n'ayanirizanga bonna abajjanga gy'ali. 31N'abategeezanga eby'Obwakabaka bwa Katonda, era n'abayigirizanga ebifa ku Mukama waffe Yesu Kristo, ng'ayogera n'obuvumu era nga tewali amuziyiza.
Currently Selected:
EBIKOLWA 28: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: