EBIKOLWA 23
23
1Pawulo ne yeekaliriza amaaso ab'Olukiiko, n'agamba nti: “Abasajja abooluganda, neegendereza okutuusa ku lunaku lwa leero nga sirina kinnumya mutima mu maaso ga Katonda.”
2Awo Ssaabakabona Ananiya n'alagira abo abaali okumpi ne Pawulo bamukube emimwa. 3Pawulo n'agamba nti: “Ggwe ekisenge ekyasiigibwa erangi enjeru, Katonda alikukuba. Otudde okunnamula ng'osinziira mu mateeka, ate n'olagira okunkuba sso ng'amateeka gakigaana.”#Laba ne Mat 23:27-28
4Abo abaali bayimiridde okumpi ne bagamba nti: “Ovuma Ssaabakabona wa Katonda!” 5Pawulo n'agamba nti: “Abooluganda, mbadde simanyi nga ye Ssaabakabona, kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti: ‘Toyogeranga bubi ku mukulu wa ggwanga lyo.’ ”#Laba ne Kuv 22:28
6Pawulo bwe yamanya ng'abali mu lukiiko, abamu Basaddukaayo, abalala nga Bafarisaayo, n'akangula ku ddoboozi, n'agamba nti: “Abooluganda, nze ndi Mufarisaayo, mwana w'Abafarisaayo. Mpozesebwa lwa kubanga nnina essuubi ery'okuzuukira kw'abafu.”#Laba ne Bik 26:5; Baf 3:5
7Bwe yayogera ekyo, ne wasitukawo empaka wakati w'Abafarisaayo n'Abasaddukaayo. Olukiiko ne lwesalamu, 8kubanga Abasaddukaayo bagamba nti tewali kuzuukira, tewali bamalayika, wadde emyoyo. Naye Abafarisaayo byonna ebyo babikkiriza.#Laba ne Mat 22:23; Mak 12:18; Luk 20:27 9Ne wabaawo okuyoogaana kungi, era abamu ku bannyonnyozi b'amateeka ab'omu kibiina ky'Abafarisaayo ne bayimirira, ne bawakana n'amaanyi nga bagamba nti: “Tetulaba kibi ku muntu ono. Kyandiba nga malayika oba omwoyo, gwe gwogedde naye.” 10Empaka bwe zaakalambira, omukulu w'abaserikale n'atya nti sikulwa nga Pawulo bamukutulamu. N'alagira abaserikale baserengete mu kibiina ky'abantu, bamubaggyeko lwa maanyi, bamutwale mu kigo.
11Mu kiro ekyaddirira, Mukama n'ayimirira awali Pawulo n'amugamba nti: “Guma omwoyo, kubanga nga bwe wammanyisa mu Yerusaalemu, era bw'otyo bw'oteekwa okummanyisa ne mu Rooma.”
Olukwe lw'okutta Pawulo
12Bwe bwakya enkya, Abayudaaya ne bakuŋŋaana ne bateesa ne beerayirira nga bwe bagamba nti tebajja kulya kantu konna wadde okunywa, nga tebanatta Pawulo. 13Abaakola olukwe olwo bwe batyo, baali basukka mu makumi ana. 14Awo ne bagenda eri bakabona abakulu n'abantu abakulu mu ggwanga, ne bagamba nti: “Twerayiridde obutakomba ku kantu nga tetunnaba kutta Pawulo. 15Kale nno kaakano mmwe n'olukiiko, mutume eri omukulu w'abaserikale aserengese Pawulo gye muli, nga muli ng'abaagala okwongera okwetegereza ebimufaako. Ffe twetegese okumutta nga tannatuuka gye muli.”
16Kyokka mutabani wa mwannyina Pawulo n'ategeera olukwe lwabwe. N'agenda n'ayingira mu kigo, n'alabula Pawulo. 17Pawulo n'ayita omu ku bakulu b'ebibinja by'abaserikale, n'amugamba nti: “Twala omuvubuka ono eri omukulu w'abaserikale, alina ky'ayagala okumubuulira.” 18N'amutwala, n'amutuusa eri omukulu w'abaserikale, n'agamba nti: “Omusibe Pawulo ampise, n'ansaba ndeete omuvubuka ono gy'oli, mbu alina ky'ayagala okukugamba.”
19Omukulu w'abaserikale n'akwata omuvubuka ku mukono, n'amuzza ku bbali, n'amubuuza nti: “Kiki ky'oyagala okuŋŋamba?” 20Ye n'agamba nti: “Abakulu b'Abayudaaya bateesezza okukusaba oserengese Pawulo mu lukiiko enkya, nga bali ng'abaagala okwongera okwetegereza ebimufaako. 21Kyokka ggwe tobakkiriza, kubanga waliwo abasajja abasoba mu makumi ana, abajja okumuteega. Beerayiridde obutalya kantu konna wadde okunywa, nga tebannamutta. Era kaakano beeteeseteese, balindirira ky'onoogamba.”
22Omukulu w'abaserikale n'amusiibula, nga bw'amukuutira nti: “Tobaako omuntu n'omu gw'otegeeza nti ombuulidde ebigambo bino.”
Pawulo aweerezebwa ew'omufuzi Felikisi
23Awo omukulu w'abaserikale n'ayita babiri ku bakulu b'ebibinja n'agamba nti: “Mutegeke abaserikale ebikumi bibiri wamu n'ab'embalaasi nsanvu, n'ab'amafumu ebikumi bibiri, bagende e Kayisaariya ku ssaawa ssatu ez'ekiro. 24Era mutegeke embalaasi ze banaatwalirako Pawulo, bamutuuse eri omufuzi Felikisi.”
25Olwo n'awandiika ebbaluwa egamba nti: 26“Kulawudiyo Lusiya alamusa omufuzi oweekitiibwa ennyo Felikisi. 27Abayudaaya baakwata omusajja oyo, era baali bagenda kumutta. Bwe nategeera nga Murooma, ne ŋŋenda n'abaserikale, ne mmubaggyako. 28Olw'okwagala okumanya kye bamuvunaana ne mmutwala mu lukiiko lwabwe. 29Ne nzuula nti talina kye yakola kimusaanyiza kufa, wadde okusibibwa mu kkomera. 30Bwe nategeezebwa nti Abayudaaya baali bategese olukwe okumutta, ne nsalawo okumuweereza gy'oli. Ne ndagira abamuvunaana bajje bamuvunaanire mu maaso go.”
31Abaserikale ne bakola nga bwe baalagirwa. Ne batwala Pawulo ekiro ekyo, ne bamutuusa mu Antipatiri. 32Ku lunaku olwaddirira, ne baleka ab'oku mbalaasi okugenda naye, bo ne baddayo mu kigo. 33Bwe baamutuusa e Kayisaariya, ne bawa omufuzi ebbaluwa, ne bamukwasa ne Pawulo. 34Bwe yagisoma, n'abuuza ekitundu Pawulo gy'asibuka. Bwe yamanya nga w'e Kilikiya, 35n'amugamba nti: “Omusango gwo ndiguwulira abakuvunaana nga bazze.” N'alagira, Pawulo akuumirwe mu lubiri lwa Herode.
Currently Selected:
EBIKOLWA 23: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: