EBIKOLWA 16
16
Timoteewo agenda ne Pawulo ne Siila e Derube
1Awo Pawulo n'atuuka e Derube n'e Lisitura. Eyo waaliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoteewo, nga nnyina Muyudaaya omukkiriza mu Kristo, kyokka kitaawe nga Muyonaani. 2Abooluganda bonna, ab'omu Derube ne Yikoniyo, nga basiima nnyo Timoteewo oyo. 3Pawulo n'ayagala okugenda naye. Kyeyava amukomola, kubanga Abayudaaya abaali mu kitundu ekyo bonna, baali bamanyi nga kitaawe yali Muyonaani.
4Awo ne bayita mu bibuga, nga bakuutira abakkiriza, okukwata ebyasalibwawo abatume n'abantu abakulu abaali mu Yerusaalemu. 5Olwo ebibiina by'abakkiriza Kristo ne binywezebwa mu kukkiriza, era abantu ne babyegattangako buli lunaku.
Pawulo alabikirwa
6Ne bayita mu kitundu ky'e Furigiya n'e Galatiya, nga Mwoyo Mutuukirivu abagaanyi okutegeeza abantu ekigambo kya Katonda mu Asiya. 7Bwe baatuuka okumpi ne Musiya, ne bagezaako okugenda mu kitundu eky'e Bitiniya, kyokka Mwoyo wa Yesu n'atabakkiriza. 8Bwe baayita ku Musiya, ne baserengeta e Turoowa. 9Ekiro Pawulo n'alabikirwa, n'alaba omuntu ow'omu Makedooniya ng'ayimiridde amwegayirira nti: “Jjangu e Makedooniya otuyambe.” 10Bwe yamala okulabikirwa, amangwago ne tusala amagezi tugende e Makedooniya, nga tutegedde nti Katonda atuyise okutegeeza abaayo Amawulire Amalungi.
Okukyuka kwa Lidiya
11Ne tusaabala okuva e Turoowa, ne tugoba e Samoturakiya. Olunaku olwaddirira ne tutuuka e Neyapoli. 12Bwe twavaayo, ne tutuuka e Filippi, ekibuga ekikulu eky'e Makedooniya; ettwale ly'Abarooma. Ne tumalayo ennaku ntonotono. 13Ku lunaku lwa Sabbaato ne tufuluma mu kibuga, ne tugenda ku mabbali g'omugga, gye twalowooza nti eriyo ekifo gye basinziza Katonda. Ne tutuula ne twogera n'abakazi abaali bakuŋŋaanye. 14Omu ku bo, erinnya lye Lidiya, eyava mu kibuga Tiyatira, n'atuwuliriza. Yali mutunzi wa ngoye eza kakobe, era ng'assaamu Katonda ekitiibwa. Mukama n'aggula omutima gwe, n'akkiriza ebyo Pawulo bye yayogera. 15Ye n'ab'omu nnyumba ye bwe baamala okubatizibwa, n'atwegayirira ng'agamba nti: “Oba nga mulabye nti nzikiriza Mukama mu mazima, mujje mubeere ewange.” N'atukkirizisa.
Basibwa mu kkomera e Filippi
16Awo olwatuuka, bwe twali tugenda mu kifo eky'okusinzizaamu Katonda, omuwala omuzaana eyalagulanga, era eyafuniranga bakama be ebintu ebingi olw'okulagula kwe, n'atusisinkana. 17Omuwala oyo n'atugoberera nga bw'awowoggana nti: “Abantu bano baweereza ba Katonda Atenkanika, ababategeeza nga bwe muyinza okulokolebwa.” 18Ekyo n'akiddiŋŋananga okumala ennaku nnyingi. Naye Pawulo bwe yanakuwala, n'akyuka n'agamba lubaale nti: “Mu linnya lya Yesu nkulagira, muveeko.” Amangwago lubaale n'amuvaako.
19Bakama b'omuwala bwe baalaba ng'essuubi ery'okufuna ebintu liweddewo, ne bakwata Pawulo ne Siila, ne babawalaawala ne babatwala mu mbuga eri ab'obuyinza. 20Bwe baabatuusa eri abalamuzi, ne bagamba nti: “Abantu bano Bayudaaya era basasamaza ekibuga kyaffe. 21Bayigiriza empisa ffe Abarooma ze tutayinza kukkiriza wadde okugoberera.”
22Ekibiina ky'abantu nakyo ne kyegatta mu kubakuba. Abalamuzi ne bayuza engoye za Pawulo ne Siila, era ne balagira bakubwe emiggo. 23Bwe baamala okubakuba ennyo, ne babateeka mu kkomera, ne balagira omukuumi okubakuuma ennyo. 24Omukuumi w'ekkomera bwe yamala okulagirwa, n'abateeka mu kkomera eryomunda, amagulu gaabwe n'agassa mu nvuba.
25Ekiro nga mu ttumbi, Pawulo ne Siila ne beegayirira Katonda era ne bamutendereza mu nnyimba, n'abasibe abalala ne bawulira. 26Amangwago ne wabaawo okukankana kw'ensi okw'amaanyi, ne kuyuuguumya ekkomera n'emisingi gyalyo. Awo enzigi z'ekkomera zonna ne zeggula, n'enjegere ezaali zisibye abasibe ne zisumulukuka. 27Omukuumi w'ekkomera bwe yazuukuka, n'alaba ng'enzigi z'ekkomera nzigule, n'asowola ekitala kye yette, ng'alowooza nti abasibe babombye. 28Kyokka Pawulo n'aleekaana nnyo nti: “Teweekolako kabi! Ffenna weetuli wano.”
29Awo omukuumi w'ekkomera n'atumya ettaala, n'ayingira mangu, n'agwa kumpi n'ebigere bya Pawulo ne Siila nga bw'akankana. 30N'abafulumya ebweru n'ababuuza nti: “Bassebo, kiki kye ŋŋwanira okukola ndyoke ndokolebwe?” 31Ne bamugamba nti: “Kkiriza Mukama Yesu, onoolokolebwa ggwe, n'ab'omu nnyumba yo bonna.” 32Awo ne bamutegeeza awamu n'ab'omu nnyumba ye bonna ekigambo kya Mukama. 33Mu kiro ekyo kyennyini, omukuumi w'ekkomera n'abatwala, n'abanaaza ebiwundu. Amangwago n'abatizibwa awamu n'ab'omu nnyumba ye bonna. 34Olwo n'atwala Pawulo ne Siila mu nnyumba ye, n'abawa ebyokulya. N'asanyuka nnyo awamu n'ab'omu nnyumba ye bonna, olw'okukkiriza Katonda.
35Obudde bwe bwakya, abalamuzi ne batuma abaserikale baabwe mu kkomera, nga bagamba nti: “Abantu abo mubate.” 36Awo omukuumi w'ekkomera n'agamba Pawulo nti: “Abalamuzi balagidde muteebwe. Kale kaakano mufulume, mugende mirembe.” 37Kyokka Pawulo n'abagamba nti: “Baatukubidde mu lujjudde nga tetuwozezza na kuwoza, sso nga tuli Barooma. Ate kaakano batuta batya mu kyama? Nedda. Bo bennyini be baba bajja batute.”
38Abaserikale ebigambo ebyo ne babibuulira abalamuzi. Abalamuzi bwe baawulira nga Pawulo ne Siila Barooma, ne batya. 39Ne bajja ne babeetondera, ne babafulumya ebweru w'ekkomera ne babeegayirira bave mu kibuga. 40Awo Pawulo ne Siila ne bava mu kkomera, ne bagenda ewa Lidiya. Bwe baamala okulaba abooluganda n'okubagumya, ne bavaayo.
Currently Selected:
EBIKOLWA 16: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: