2 ABATESSALONIKA 3
3
Mutusabire
1Eky'enkomerero, abooluganda, mutusabire, ekigambo kya Mukama kiryoke kyeyongere okubuna amangu, era kiweebwe ekitiibwa, nga bwe kyali mu mmwe. 2Era mutusabire, tuwone abantu aboonoonyi era ababi, kubanga okukkiriza si kwa bonna.
3Kyokka Mukama waffe mwesigwa. Alibawa amaanyi mmwe, era alibawonya Omubi. 4Tubeesiga, kubanga muli ba Mukama, ne tukakasa nti mukola era munaakolanga ebyo bye twabalagira. 5Mukama aluŋŋamye emitima gyammwe mu kwagala kwa Katonda n'okugumiikiriza kwa Kristo.
Obutaba bagayaavu
6Kale baganda bange, tubalagira mu linnya lya Mukama Yesu Kristo: mwewale abooluganda abagayaavu, era abatagoberera ebyo bye twabayigiriza mmwe. 7Mmwe mwennyini mumanyi bulungi nti musaanidde okukola nga ffe bwe twakolanga. Bwe twali nammwe, tetwali bagayaavu. 8Tetwalyanga mmere ya bwereere, wabula twakolanga nnyo, nga tufuba emisana n'ekiro, tuleme okukaluubirira wadde omu ku mmwe. 9Tetugamba nti tekyanditugwanidde, wabula twayagala kubawa kyakulabirako, namwe mukolenga nga ffe.
10Ne bwe twali nga tukyali wamu nammwe, twabalagira nti: “Agaananga okukola emirimu, n'okulya talyanga.” 11Twawulira nti abamu mu mmwe bagayaavu, tebakola mirimu, wabula okweyingiza mu bya bannaabwe. 12Ab'engeri eyo tubalagira era tubabuulirira mu linnya lya Mukama waffe Yesu, bakolenga emirimu nga bakkakkamu, bafune kye balya.
13Abooluganda, temukoowanga kukola bulungi. 14Bwe wabangawo agaana okugoberera kye tugamba mu bbaluwa eno, mumugenderere, era muleme kukolagana naye, alyoke akwatibwe ensonyi. 15Kyokka temumuyisa ng'omulabe, wabula mumulabule nga muganda wammwe.
Ebisembayo
16Kale Mukama waffe yennyini, nnannyini mirembe, abawenga emirembe bulijjo, buli we mubeera. Mukama abeerenga namwe mmwenna.
17Nze Pawulo, okulamusa kuno nze nkuwandiise ne nteekako omukono. Ako ke kabonero akalaga buli bbaluwa gye mba mpandiise. Bwe ntyo bwe mpandiika.
18Mukama waffe Yesu Kristo abakwatirwenga ekisa mmwe mwenna.
Currently Selected:
2 ABATESSALONIKA 3: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: