2 ABAMAKKABEEWO 2
2
Yeremiya akweka ensiisira n'essanduuko ey'endagaano
1“Tusanga mu biwandiiko nga Yeremiya omulanzi yalagira abaali batwalibwa mu buwaŋŋanguse, batoole ku muliro gw'oku alutaari ey'ebitambiro agukweke nga bwe tugambye waggulu. 2Era yabayigiriza Amateeka ga Katonda, n'abalabula baleme kulimbibwalimbibwa ebifaananyi bya balubaale ebitimbiddwa zaabu ne ffeeza, mu nsi gye balitwalibwa mu buwaŋŋanguse. 3N'abakubiriza obuteggyanga ku Mateeka ga Katonda.
4“Ebiwandiiko bye bimu era bitubuulira nti Yeremiya oyo yaluŋŋamizibwa Katonda, n'alagira weema n'essanduuko ey'endagaano bimugoberere ku lusozi, Musa lwe yalinnya n'alengera ensi, Katonda gye yalagaanya abantu be. 5Yeremiya bwe yatuukayo n'asangayo empuku, n'agiteekamu weema n'essanduuko ey'endagaano, ne alutaari eyoterezebwako obubaane, n'aggalawo omulyango gwayo.
6“Abamu ku bantu be baagezaako okumugoberera balambe ekifo ekyo, naye ne balemwa okukizuula. 7Yeremiya bwe yamanya, n'abanenya, era n'agamba nti: ‘Ekifo ekyo kirisigala tekimanyiddwa okutuusa Katonda lw'aliddamu okukuŋŋaanya abantu be, n'abakwatirwa ekisa. 8Olwo Mukama aliraga ekifo ebintu ebyo mwe biri, era ekitiibwa kye kirirabikira mu kire, nga bwe kyalabika mu biseera bya Musa, era nga bwe gwali, Solomooni bwe yasaba nti Essinzizo litukuzibwe mu kitiibwa ng'ekyo.’#Laba ne Kuv 16:10; 24:16; 1 Bassek 8:10-11
9“Ekiwandiiko kitubuulira era nga Solomooni ow'amagezi bwe yawaayo ekitambiro mu kutukuza Essinzizo ng'amaze okulizimba. 10Nga Musa bwe yasaba Katonda, omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekitambiro, ne Solomooni bwe yasaba Katonda, omuliro ne guva mu ggulu ne gwokya ekitambiro. 11Musa yagamba nti: ‘Ekitambiro ekiweebwayo olw'ebibi nga bwe kitaliibwa, kyekiva kyokebwa omuliro ne kiggwaawo.’ 12Ne Solomooni yakuza omukolo ogw'okutukuza Essinzizo okumala ennaku munaana.
Etterekero ly'ebitabo n'okutukuza Essinzizo
13“Ebyo ebyogeddwako bisangibwa mu biwandiiko ebitongole ne mu ebyo Nehemiya bye yawandiikanga buli lunaku. Nehemiya ono yateekawo etterekero ly'ebitabo, n'akuŋŋaanya ebitabo ebyogera ku bakabaka, ne ku balanzi, n'ebiwandiiko bya Dawudi, n'amabaluwa ga bakabaka agoogera ku biweebwayo eri Katonda. 14Era ne Yuda bw'atyo bwe yakuŋŋaanya ebitabo ebyasaasaana mu ntalo ezatutuukako, era kaakano tubirina. 15Kale singa mu byetaaga, mutume abanaabibaleetera.
16“Nga bwe tunaatera okukuza ennaku enkulu ez'okutukuza Essinzizo, tubawandiikidde okubategeeza. Kirungi nammwe mukuze ennaku ezo.#Laba ne 1 Bamak 4:59 17Katonda alokodde abantu be n'atuddiza ffenna ensi entukuvu, n'obwakabaka, n'obwakabona, n'okutukuzibwa, 18nga bwe yasuubiza mu Mateeka ge. Nga bw'atuggye mu kabi akanene aka buli ngeri, era n'atukuza n'Essinzizo, twesiga nti mu bbanga ttono ajja kutukwatirwa ekisa, atukuŋŋaanyize mu kifo ekitukuvu, ng'atuggya mu buli ggwanga eriri ku nsi.”
Ennyanjula y'omuwandiisi w'ekitabo kino
19Yasoni ow'e Kireene yawandiika ebitabo bitaano. Yawandiika ebifa ku Yuda Makkabeewo ne baganda be, ne ku kutukuzibwa kw'Essinzizo ekkulu ennyo, n'okw'alutaari ey'ebitambiro. 20Yanyumya ku ntalo ez'okulwanyisa Antiyooko Epiifane ne mutabani we Ewupatori, 21ne ku mirundi emingi abo abaalwana n'obuzira okutaasa Abayudaaya, gye baalabikirwamu eby'omu ggulu. N'annyonnyola nga bwe baali abatono, naye ne bawangula ensi yaabwe yonna, ne bagigobamu nnamungi w'ab'amawanga amalala, 22ne beddiza Essinzizo erimanyiddwa mu nsi yonna. Ne banunula ekibuga Yerusaalemu ne bazzaawo amateeka agaali gadibiziddwa. Baasobola okukola ebyo byonna, kubanga Mukama yabakwatirwa ekisa n'abayamba. 23Kale ebyo byonna Yasoni bye yawandiika mu bitabo ebitaano, tujja kugezaako okubifunza mu kitabo kimu. 24Tulowooza nti ebyafaayo bino nga bwe biri ebingi, ate nga biri na mu bitabo bingi, kikaluubiriza abandyagadde okubimanya. 25Kyetuvudde tufuba okulaba nti bisobola okugasa bonna, nga binyumira abanaabisoma era nti abo abaagala okubiyiga, binaabanguyira okujjukira. 26Naye abeewaddeyo okubifunza, omulimu guno tegujja kutwanguyira, wabula tulina okukola ennyo, n'okusula nga tetwebase. 27Tuli ng'abo abateekateeka embaga ey'ebyokulya nga baagala okusanyusa abangi. Naffe olw'okwagala okugasa abangi, twewaddeyo okukola omulimu ogwo. 28Omulimu ogw'okumenya akawonvu n'akagga, tujja kugulekera omuwandiisi eyasooka, ffe tufunzeemu ebikulu. 29Omuntu azimba ennyumba ateekwa okulaba nti atereeza buli kimu ekigiriko. Naye omusiizi wa langi ky'afaako kwe kuginyiriza mu ndabika yaayo. N'omulimu ogwaffe bwe guli bwe gutyo. 30Eyakuŋŋaanya ebyafaayo n'abiwandiika y'ateekwa okubitereeza n'okubinnyonnyola buli kimu nga bwe kyagenda. 31Naye oyo alondamu ebifunze, asaanye okukkirizibwa okunyumya mu bimpimpi nga talondobereza. 32Kati bye twogedde mu kwanjula bimala. Ka tutandikirewo bye tugenda okunyumya, kubanga kiba kya busiru okwogera ebingi mu kwanjula emboozi, ate emboozi yennyini n'ogifunza.
Currently Selected:
2 ABAMAKKABEEWO 2: LBwD03
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda DC Bible © Bible Society of Uganda, 2003.

: