YouVersion Logo
Search Icon

2 ABAKORINTO 12

12
Okulabikirwa kwa Pawulo
1Ndi wa kwenyumiriza, newaakubadde okwenyumiriza tekugasa. Naye ka njogere ku kulagibwa n'okulabikirwa Mukama waffe. 2Mmanyi omugoberezi wa Kristo eyatwalibwa mu ggulu erya waggulu ennyo, kati emyaka kkumi n'ena egiyiseewo. Simanyi oba nga ekyo kyabeererawo ddala, oba nga kwali kulabikirwa. Simanyi, Katonda ye amanyi. 3Era mmanyi nti omuntu oyo, (oba nga ekyo kyabeererawo ddala, oba nga kwali kulabikirwa, simanyi, Katonda ye amanyi), 4yatwalibwa mu kifo eky'okwesiima, n'awulira ebigambo ebitannyonnyolekeka, omuntu by'atasobola kwogera.
5Kale nneenyumirizanga olw'omuntu oyo, naye sijja kwenyumiriza ku lwange, okuggyako olw'ebyo ebiraga bwe ndi omunafu. 6Kyokka ne bwe nandyagadde okwenyumiriza, sandibadde musirusiru, kubanga nandyogedde mazima. Naye ka nkireke, kubanga saagala wabeewo muntu n'omu andowoozaako bisinga ku ebyo by'andabamu, ne by'awulira njogera.
7Naye olw'okunziyiza okwekulumbaza olw'ebintu ebyewuunyisa bye nalaba emirundi emingi, naweebwa obulumi obungi mu mubiri gwange, nga ye mubaka wa Sitaani, ambonyeebonye, nneme kwekulumbaza. 8Emirundi esatu neegayirira Mukama waffe amponye obulumi obwo, 9kyokka yaŋŋamba nti: “Obuyambi bwe nkuwa bukumala, kubanga amaanyi gange galabikira mu bunafu bwo.”
Kyennaavanga nsanyuka okwenyumiriza olw'obunafu bwange, amaanyi ga Kristo galyoke gabeere mu nze. 10Kale olwa Kristo nsanyukira obunafu, okuvumibwa, ebizibu, okuyigganyizibwa era n'ebinkaluubirira, kubanga lwe mba omunafu, lwe mba ow'amaanyi.
Obweraliikirivu bwa Pawulo
11Nfuuse ng'omusirusiru, naye mmwe mumpalirizza. Mmwe mwandibadde ab'okunsiima. Kuba newaakubadde nga siriiko bwe ndi, naye abo abatume abakulu ennyo, tebalina kye bansingamu n'akatono. 12Ebyo ebiraga nti ddala ndi mutume, byakolerwa mu mmwe mu bugumiikiriza obungi. Mwalaba ebyewuunyo, ebyamagero, n'eby'amaanyi. 13Kale ebibiina ebirala eby'abakkiriza Kristo, bibasinza ki? Okuggyako nti nze saabazitoowerera mmwe. Munsonyiwe olw'obutaba mwenkanya mu kino.
14Kaakano neeteeseteese okujja gye muli omulundi ogwokusatu, naye sijja kubazitoowerera. Sibanoonyaako byammwe, wabula noonya mmwe. Abaana si be basaana okuterekeranga abazadde baabwe, wabula abazadde be basaana okuterekeranga abaana baabwe. 15Nze njija kuwaayo ebyange, era nange nneeweereyo ddala ku lwammwe, nga ndi musanyufu nnyo. Kale bwe mbaagala ennyo, mmwe musaana kunjagala katono?
16Mukkiriza nti nze saabazitoowerera, naye mugamba nti nali mukalabakalaba, ne mbatega mu lukwe, ne mbakwasa. 17Mu abo be nabatumira, mulimu gwe nakozesa okubalyakula? 18Neegayirira Tito okujja gye muli, era ne ntuma owooluganda omulala awamu naye. Tito oyo ye yabalyakula? Ye nange tetwakolera mu mutima gumu? Era tetwakwata kkubo limu?
19Obw'edda mulowooza nti twewolereza mu maaso gammwe? Abaagalwa, ffe abagoberezi ba Kristo byonna bye twogera, tubyogerera mu maaso ga Katonda olw'okubagasa mmwe. 20Kye ntya, kwe kujja mpozzi ne mbasanga nga muli nga bwe saagala, oba mmwe okundaba nga nninga bwe mutayagala, olwo mpozzi ne wabaawo okuyombagana, obuggya, obusungu, okwefaako, okugeyaŋŋana, olugambo, okwekulumbaza, era n'okutabukatabuka. 21Era ntya nti bwe ndijja nate, Katonda wange alintoowaza mu maaso gammwe, ne nkungubagira bangi abaakola ebibi ne bateenenya bukaba, n'obwenzi, n'obugwagwa bye baakola.

Currently Selected:

2 ABAKORINTO 12: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in