2 ABAKORINTO 12:6-7
2 ABAKORINTO 12:6-7 LBWD03
Kyokka ne bwe nandyagadde okwenyumiriza, sandibadde musirusiru, kubanga nandyogedde mazima. Naye ka nkireke, kubanga saagala wabeewo muntu n'omu andowoozaako bisinga ku ebyo by'andabamu, ne by'awulira njogera. Naye olw'okunziyiza okwekulumbaza olw'ebintu ebyewuunyisa bye nalaba emirundi emingi, naweebwa obulumi obungi mu mubiri gwange, nga ye mubaka wa Sitaani, ambonyeebonye, nneme kwekulumbaza.





