Bible App logo
Search Icon

1 TIMOTEEWO 2

2
Okusaba
1Okusookera ddala, mbasaba muwanjagenga, musabenga, mwegayirirenga, era mwebazenga Katonda ku lw'abantu bonna. 2Era musabirenga bakabaka, n'abafuzi abalala bonna, tulyoke tube bulungi, nga tuli mirembe, nga tussaamu Katonda ekitiibwa, era nga twegendereza mu buli ngeri. 3Ekyo kye kirungi era ekisiimibwa mu maaso ga Katonda Omulokozi waffe, 4ayagala abantu bonna balokolebwe, era bamanye amazima. 5Kubanga Katonda ali omu, era omutabaganya w'abantu ne Katonda ali omu, ye muntu Kristo Yesu, 6eyeewaayo abe omutango olwa bonna. Ekyo kyakakasibwa mu kiseera kyakyo ekituufu. 7Era nze kye nateekerwawo mbe omutume era omuyigiriza w'ab'amawanga amalala, mbategeeze eby'okukkiriza n'eby'amazima. Njogera mazima, sirimba.#Laba ne 2 Tim 1:11
8N'olwekyo njagala abasajja, buli wantu beegayirirenga Katonda, nga bayimusa emikono gyabwe emirongoofu, nga tebalina busungu wadde empaka.
9Era njagala abakazi bambalenga ebyambalo ebisaanira, beegenderezenga, nga tebeemalira mu misono gya nviiri, na mu kwewoomya nga bambala ebya zaabu n'amayinja ag'omuwendo, wadde okwambala engoye ez'omuwendo ennyo,#Laba ne 1 Peet 3:3 10wabula bakole ebikolwa ebirungi, nga bwe kisaanira abakazi abassaamu Katonda ekitiibwa.
11Mu kuyigirizibwa, omukazi asirikenga, nga yeewombeese. 12Sikkiriza mukazi kuyigiriza, wadde okuba n'obuyinza ku musajja, wabula asaana asirike, 13kubanga Adamu ye yasooka okutondebwa, ne kuddako Haawa.#Laba ne Nta 2:7,21-22 14Era Adamu si ye yalimbibwalimbibwa, wabula omukazi ye yalimbibwalimbibwa, n'agwa mu kibi.#Laba ne Nta 3:1-6 15Kyokka omukazi alirokolerwa mu kuzaala, kasita anaanywereranga mu kukkiriza ne mu kwagala, ne mu butuukirivu, ne mu kwegendereza.

Currently Selected:

1 TIMOTEEWO 2: LBwD03

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in