1 ABATESSALONIKA 1:2-3
1 ABATESSALONIKA 1:2-3 LBWD03
Bulijjo twebaza Katonda ku lwammwe mwenna, era tetwosa kubasabira eri Katonda. Bulijjo nga tuli mu maaso ga Katonda era Kitaffe, tujjukira nga bwe mulaga okukkiriza kwammwe n'okwagala kwammwe, mu ebyo bye mukola. Era tujjukira nga bwe mulaga essuubi lyammwe mu Mukama waffe Yesu Kristo.





