Mat 1:18-19
Mat 1:18-19 BIBU1
Okuzaalibwa kwa Yezu Kristu kwali bwe kuti: Mariya nnyina ng'amaze okwogerezebwa Yozefu, nga tebannaba kubeera wamu, n'alabika ng'ali lubuto ku bwa Mwoyo Mutuukirivu. Naye Yozefu bba, kubanga yali mutuukirivu era nga tayagala kumuswaza, n'ateesa okumugoba mu kyama.





