Luusi 4
4
1 #
Luus 3:12, 2 Sam 15:2, Zab 127:5 Awo Bowaazi n'ayambuka eri omulyango, n'atuula eyo: era, laba, muganda we oyo Bowaazi gw'ayogeddeko n'ayitawo; n'amugamba oyo nti Owange, gundi! kyama otuule wano. N'akyama n'atuula. 2#Ma 25:7, 1 Bassek 21:8, Nge 31:23N'atwala abasajja kkumi ku bakadde b'ekibuga n'ayogera nti Mutuule wano. Ne batuula. 3#Luus 1:22N'agamba muganda w'omukazi nti Nawomi eyakomawo okuva mu nsi ya Mowaabu, atunda ekibanja ekyali ekya muganda waffe Erimereki: 4#Leev 25:25, Yer 32:7,8era mbadde ndowooza okukutegeeza nga njogera nti Kigulire mu maaso g'abo abatuula wano, ne mu maaso g'abakadde b'abantu bange. Bw'oyagala okukinunula, kinunule: naye bw'otoyagala kukinunula, kale mbuulira mmanye: kubanga tewali anaakinunula wabula ggwe; nange nze nkuddirira. N'ayogera nti Ndikinunula. 5#Ma 25:5,6, Luus 3:13; 4:10Awo Bowaazi n'ayogera nti Bw'oligula ennimiro mu mukono gwa Nawomi, kirikugwanira ne Luusi Omumowaabu, mukazi w'oyo eyafa, okukuguza, okuddizaawo obusika bwe erinnya ly'oyo eyafa. 6#Luus 3:12,13Muganda w'omukazi oyo n'ayogera nti Siyinza kukyenunulira nzekka, nneme okwonoona obusika bwange nze: ggwe weetwalire okununula kwange okwo: kubanga nze siyinza kukinunula. 7#Ma 25:7-10Era eno ye yali empisa edda mu Isiraeri ey'okununula n'okuwaanyisa, okunyweza ebigambo byonna; omusajja yanaanulanga engatto ye, n'agiwa munne: n'okwo kwabanga bujulirwa mu Isiraeri. 8Awo muganda w'omukazi oyo n'ayogera nti Kyegulire. N'anaanula engatto ye. 9#Luus 1:2,4,5Bowaazi n'agamba abakadde n'abantu bonna nti Muli bajulirwa leero, nga nguze byonna ebyali ebya Erimereki, ne byonna ebyali ebya Kiriyoni n'ebya Maloni, mu mukono gwa Nawomi. 10#Luus 4:5Era Luusi Omumowaabu mukazi wa Maloni mmuguze okuba mukazi wange, okuddizaawo obusika bwe erinnya ly'oyo eyafa, erinnya ly'oyo eyafa lireme okuzikirira mu baganda be ne mu mulyango gw'ekifo kye: mmwe muli bajulirwa leero. 11#Lub 29:31—30:24; 35:16-19Awo abantu bonna abaali mu mulyango n'abakadde ne boogera nti Ffe tuli bajulirwa. Mukama afaananye omukazi azze mu nnyumba yo nga Laakeeri ne Leeya, abaazimba bombi ennyumba ya Isiraeri: naawe okole ebisaana mu Efulasa, oyatiikirire mu Besirekemu: 12#Lub 38:29, Luus 4:18, 1 Sam 2:20, 1 Byom 2:4, Mat 1:3n'ennyumba yo ebeere ng'ennyumba ya Pereezi, Tamali gwe yazaalira Yuda, olw'ezzadde Mukama ly'alikuweera mu mukazi ono omuvubuka. 13#Lub 29:31; 33:5Awo Bowaazi n'atwala Luusi, naye n'amufumbirwa; n'ayingira gy'ali, Mukama n'amuwa olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi. 14#Luus 2:20, Luk 1:58Abakazi ne bagamba Nawomi nti Mukama yeebazibwe, atakulese leero nga tolina mununuzi wo, era erinnya lye lyatiikirire mu Isiraeri. 15#1 Sam 1:8Era alibeera gy'oli akomyawo obulamu era aliisa obukadde bwo: kubanga muka mwana wo akwagala, akusanyusa okusinga abaana ab'obulenzi omusanvu, abaamuzaaliddwa. 16Awo Nawomi n'atwala omwana, n'amuwambaatira mu kifuba kye, n'aba omulezi we. 17#1 Sam 16:1, Luk 1:59Abakazi baliraanwa be ne bamutuuma erinnya nga boogera nti Nawomi azaaliddwa omwana wa bulenzi; ne bamutuuma erinnya Obedi: oyo ye kitaawe wa Yese, kitaawe wa Dawudi.
18 #
1 Byom 2:4-15, Mat 1:3-6, Luk 3:31-33 Era kuno kwe kuzaala kwa Pereezi: Pereezi yazaala Kezulooni; 19Kezulooni n'azaala Laamu; Laamu n'azaala Amminadaabu; 20Amminadaabu n'azaala Nakusoni; Nakusoni n'azaala Salumooni; 21Salumooni n'azaala Bowaazi; Bowaazi n'azaala Obedi; 22Obedi n'azaala Yese; Yese n'azaala Dawudi.
Currently Selected:
Luusi 4: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: