Luusi 1
1
1 #
Balam 2:16, 1 Sam 22:3,4, 2 Bassek 8:1 Awo olwatuuka mu nnaku abalamuzi ze baalamuliramu, enjala n'egwa mu nsi. Awo omusajja ow'e Besirekemuyuda n'agenda okutuula mu nsi ya Mowaabu, ye ne mukazi we, ne batabani be bombi. 2#Lub 35:19, 1 Byom 4:4, Mi 5:2N'erinnya ly'omusajja lyali Erimereki, n'erinnya lya mukazi we Nawomi, n'erinnya lya batabani be bombi Maloni ne Kiriyoni, Abaefulaasi ab'e Besirekemuyuda. Ne batuuka mu nsi ya Mowaabu, ne babeera eyo. 3Awo Erimereki bba Nawomi n'afa; naye n'asigalawo ne batabani be bombi. 4Ne bawasa ku bakazi ba Mowaabu; erinnya ly'omu Olupa, n'erinnya ly'ow'okubiri Luusi: ne bamalayo emyaka nga kkumi. 5Awo Maloni ne Kiriyoni ne bafa bombi; omukazi n'afiirwa abaana be bombi ne bba. 6#Kuv 3:16; 4:31, Zab 132:15, Luk 1:68Awo n'alyoka agolokoka ne baka baana be, addeyo ng'ava mu nsi ya Mowaabu: kubanga yali awulidde ng'ali mu nsi ya Mowaabu nga Mukama bwe yajjira abantu be ng'abawa emmere. 7N'ava mu kifo mwe yali, ne baka baana be bombi wamu naye; ne batambula mu kkubo okuddayo mu nsi ya Yuda. 8#Yos 2:12,14, Luus 2:20Awo Nawomi n'agamba baka baana be bombi nti Mugende muddeyo buli omu ku mmwe mu nnyumba ya nnyina: Mukama abakole eby'ekisa, nga mmwe bwe mwakola abaafa era nange. 9#Luus 3:1Mukama abawe okulaba okuwummula, buli omu ku mmwe mu nnyumba ya bba. N'alyoka abanywegera; ne bayimusa eddoboozi lyabwe, ne bakaaba amaziga. 10Ne bamugamba nti Nedda; naye tuliddayo naawe eri abantu bo. 11#Ma 24:5, Ma 2:15Nawomi n'agamba nti Mukyuke nate, baana bange: kiki ekibaagaza okugenda nange? nkyalina abaana mu lubuto lwange babeere babbammwe? 12Mukyuke nate, baana bange, mweddireyo; kubanga nkaddiye mpitiridde okuba n'omusajja. Bwe nnaayogera nti Nsuubira, newakubadde nga mbeera n'omusajja ekiro kino, era ne nzaala abaana ab'obulenzi; 13#Balam 2:15, 1 Sam 5:9; 12:15kale mwandibalindiridde okukula? kyemuliva muleka okuba n'abasajja? nedda, baana bange; kubanga nnumwa nnyo ku lwammwe, kubanga omukono gwa Mukama gwafuluma okulwana nange. 14Ne bayimusa eddoboozi lyabwe, ne bakaaba nate amaziga: Olupa n'anywegera nnyazaala we; naye Luusi ne yeegata naye. 15#Kubal 21:29, 1 Bassek 11:7, 2 Bassek 23:13, Yer 48:13,46N'ayogera nti Laba, muggya wo azzeeyo eri abantu be n'eri katonda we: naawe ddayo ogoberere muggya wo. 16#Luus 2:11,12, 2 Sam 15:21, 2 Bassek 2:2,4Awo Luusi n'ayogera nti Tonneegayirira kukuleka, n'okuddayo obutakugoberera: kubanga gy'onoogendanga, gye nnaagendanga nze: era gy'onoosulanga, gye nnaasulanga nze: abantu bo be banaabanga abantu bange, era Katonda wo Katonda wange: 17#1 Sam 3:17, 2 Sam 19:13, 1 Bassek 2:23, 2 Bassek 6:31gy'olifiira, nze gye ndifiira, era gye balinziika: Mukama ankole bw'atyo era n'okusingawo, oba ng'ekigambo kyonna kiritwawukanya ggwe nange wabula okufa. 18Awo bwe yalaba ng'amaliridde okugenda naye, n'aleka okwogera naye. 19Awo abo bombi ne batambula okutuusa lwe baatuuka e Besirekemu. Awo olwatuuka bwe baamala okutuuka e Besirekemu, ekibuga kyonna ne kisasamala ku lwabwe, abakazi ne boogera nti Ono Nawomi? 20#Kuv 15:23, Yob 27:2N'abagamba nti Temumpita Nawomi, naye mumpite Mala: kubanga Omuyinza w'ebintu byonna yankola ebikaawa ennyo. 21#Yob 1:21Nnava wano nga njijudde, era Mukama ankomezzaawo ewattu nga sirina kantu: kiki ekibampisa Nawomi, kubanga Mukama yategeeza ku nze, era Omuyinza w'ebintu byonna yambonyaabonya? 22#Luus 2:23Bwe batyo Nawomi n'akomawo, ne Luusi Omumowaabu, muka mwana we, wamu naye, eyakomawo okuva mu nsi ya Mowaabu: ne batuuka e Besirekemu nga kyebajje bakungule sayiri.
Currently Selected:
Luusi 1: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: