Abafiripi 2:9-11
Abafiripi 2:9-11 LUG68
Era Katonda kyeyava amugulumiza ennyo n'amuwa erinnya liri erisinga amannya gonna; buli vviivi lifukaamirirenga erinnya lya Yesu, ery'eby'omu ggulu n'eby'oku nsi n'ebya wansi w'ensi, era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama waffe, Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.





