YouVersion Logo
Search Icon

Okubala 9

9
1Mukama n'agambira Musa mu ddungu lya Sinaayi, mu mwezi ogw'olubereberye ogw'omwaka ogw'okubiri nga bamaze okuva mu nsi y'e Misiri, 2#Kuv 12:1-14, Kubal 28:16nti Era abaana ba Isiraeri bakwatenga Okuyitako mu ntuuko zaakwo ezaalagirwa. 3#Leev 23:5Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno, akawungeezi, kwe munaakukwatiranga mu ntuuko zaakwo ezaalagirwa: ng'amateeka gaakwo gonna n'obulombolombo bwakwo bwonna bwe buli, bwe munaakukwatanga bwe mutyo. 4Musa n'agamba abaana ba Isiraeri bakwatenga Okuyitako. 5Ne bakwatira Okuyitako mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi, akawungeezi, mu ddungu lya Sinaayi: nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa, bwe batyo bwe baakola abaana ba Isiraeri. 6#Kuv 18:15, Kubal 5:2Awo ne wabaawo abantu abaali nga si balongoofu olw'omulambo gw'omuntu, n'obutayinza ne batayinza kukwatira Kuyitako ku lunaku olwo: ne bajja mu maaso ga Musa ne Alooni ku lunaku olwo: 7abantu abo ne bamugamba nti Tetuli balongoofu olw'omulambo gw'omuntu: ekituziyiza kiki okuwaayo ekitone kya Mukama mu ntuuko zaakyo mu baana ba Isiraeri? 8Musa n'abagamba nti Musooke muleke; ndyoke mpulire Mukama ky'anaalagira ku mmwe.
9Mukama n'agamba Musa 10nti Gamba abaana ba Isiraeri nti Omuntu yenna ku mmwe oba ku mirembe gyammwe bw'anaabanga si mulongoofu olw'omulambo oba bw'anaabanga ali mu lugendo ewala, naye anaakwatanga Okuyitako eri Mukama: 11#Kuv 12:6,8, 2 Byom 30:1-5,15mu mwezi ogw'okubiri ku lunaku olw'ekkumi n'ennya akawungeezi kwe banaakukwatiranga; banaakulyanga n'emigaati egitazimbulukuswa n'enva ezikaawa: 12#Kuv 12:10,43-49, Yok 19:36tebasigazangako okutuusa enkya, so tebamenyanga ggumba lyakwo: ng'etteeka lyonna ery'Okuyitako bwe liri bwe banaakukwatanga bwe batyo. 13#Kuv 12:15Naye omuntu omulongoofu so atali mu lugendo, n'aleka okukwata Okuyitako, obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu bantu be: kubanga tawaddeeyo kitone kya Mukama mu ntuuko zaakyo ezaalagirwa, omuntu oyo anaabangako ekibi kye. 14#Kuv 12:48,49Era omugenyi bw'anaatuulanga mu mmwe, n'ayagala okukwata Okuyitako eri Mukama; ng'etteeka ery'Okuyitako n'obulombolombo bwakwo bwe buli, bw'anaakolanga bw'atyo: munaabanga n'etteeka limu eri omugenyi era n'eri oyo eyazaalirwa mu nsi.
15 # Kuv 40:17,34,38 Awo ku lunaku ennyumba kwe yasimbirwa ekire ne kibikka ku nnyumba y'eweema ey'obujulirwa: era akawungeezi ne kiba ku nnyumba ng'ekifaananyi ky'omuliro, okutuusa enkya. 16Bwe kyabanga bwe kityo ennaku zonna: ekire kyagibikkangako, n'ekifaananyi ky'omuliro ekiro. 17#Kuv 40:36, Kubal 10:11Era buli ekire lwe kyaggibwangako ku Weema, awo abaana ba Isiraeri ne balyoka batambula: ne mu kifo ekire mwe kyabeeranga, awo abaana ba Isiraeri we baasiisiranga. 18#Kuv 40:37Abaana ba Isiraeri baatambulanga lwa kiragiro kya Mukama, era baasiisiranga lwa kiragiro kya Mukama: ekiseera kyonna ekire kye kyamalanga ku nnyumba baatuulanga mu lusiisira. 19Era ekire bwe kyalwanga ennaku nnyingi ku nnyumba, awo abaana ba Isiraeri ne bakwatanga ekiragiro kya Mukama, ne batatambula. 20Era oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono ku nnyumba; awo ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali ne batuulanga mu lusiisira, era ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali baatambulanga. 21Era oluusi ekire kyabangako okusooka akawungeezi okutuusa enkya; era ekire bwe kyaggibwangako enkya ne batambula: oba bwe kyabangako emisana n'ekiro, ekire bwe kyaggibwangako, ne batambula. 22#Kuv 40:36,37Oba nga nnaku bbiri oba nga mwezi oba nga mwaka, ekire bwe kyalwanga ku nnyumba, nga kibeera okwo, abaana ba Isiraeri ne batuulanga mu lusiisira, ne batatambula: naye bwe kyaggibwangako, ne batambulanga. 23#Kubal 1:54Baasiisiranga lwa kiragiro kya Mukama, era baatambulanga lwa kiragiro kya Mukama: baakwatanga ebyo Mukama bye yakuutira, olw'ekiragiro kya Mukama mu mukono gwa Musa.

Currently Selected:

Okubala 9: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in