YouVersion Logo
Search Icon

Okubala 5

5
1Mukama n'agamba Musa 2#Leev 13:45,46; 15:2; 21:1, Kubal 12:10,14; 19:11,13nti Lagira abaana ba Isiraeri, baggye mu lusiisira buli mugenge, na buli muziku, na buli atali mulongoofu olw'omufu: 3#Kuv 25:8; 29:45, Leev 26:11,12abasajja era n'abakazi munaabaggyangamu, munaabafulumyanga ebweru w'olusiisira; balemenga okwonoona olusiisira lwabwe, lwe ntuulamu wakati. 4Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo, ne babafulumya ebweru w'olusiisira: nga Mukama bwe yagamba Musa, abaana ba Isiraeri bwe baakola bwe batyo. 5Mukama n'agamba Musa 6#Leev 6:2,3nti Gamba abaana ba Isiraeri nti Omusajja oba omukazi bw'anaakolanga ekibi kyonna abantu kye bakola, okusobya Mukama, omuntu oyo n'abaako omusango; 7#Leev 5:5; 6:5, Yos 7:19kale banaayatulanga ekibi kye bakoze: era anaaliyiranga ddala byonna olw'omusango gwe, n'assaako n'ekitundu kyabyo eky'okutaano, n'abiwa oyo gw'azzizzaako omusango. 8#Leev 6:6,7Naye omuntu oyo bw'aba nga talina muganda we gwe bayinza okuliyira olw'omusango, ebyo bye baliwa olw'omusango bye baliyira Mukama binaabanga bya kabona; era n'endiga ennume ey'okutangirira, gye banaamutangirizanga. 9#Kubal 18:19Na buli kiweebwayo ekisitulibwa ku bintu byonna ebitukuvu eby'abaana ba Isiraeri, bye baleetera kabona, kinaabanga kikye. 10#Leev 10:12,13N'ebintu ebya buli muntu ebitukuzibwa, binaabanga bibye: ekintu kyonna omuntu yenna ky'anaawanga kabona, kinaabanga kikye.
11Mukama n'ayogera ne Musa 12nti Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Omukazi w'omuntu yenna bw'anaakyamanga, n'amusobyako, 13#Leev 18:20, Yok 8:4omusajja n'asula naye ne kikwekebwa amaaso ga bbaawe, ne kikisibwa, ye n'ayonooneka, ne wataba mujulirwa amulumiriza, era nga tebamusisinkanirizza; 14omwoyo ogw'obuggya ne gumujjira, n'akwatirwa mukazi we obuggya, naye ng'ayonoonese: oba omwoyo ogw'obuggya bwe gunaamujjiranga, n'akwatirwa mukazi we obuggya, so naye nga tayonoonese: 15#Leev 2:1; 5:11, 1 Bassek 17:18, Ez 29:16kale omusajja anaaleetanga mukazi we eri kabona, n'amuleetera ekitone kye, ekitundu eky'ekkumi ekya efa eky'obutta obwa sayiri; tafukangako mafuta gonna, so tateekangako mugavu; kubanga kye kiweebwayo eky'obutta olw'obuggya, ekiweebwayo eky'obutta eky'okujjukiza, ekijjukiza obutali butuukirivu. 16Awo kabona anaamusembezanga, n'amuteeka mu maaso ga Mukama: 17kabona n'addira amazzi amatukuvu mu kintu eky'ebbumba; ne ku nfuufu eri wansi mu weema kabona anaatolangako n'agiteeka mu mazzi: 18kabona n'ateeka omukazi mu maaso ga Mukama n'abikkula ku nviiri ez'okumutwe gw'omukazi, n'amukwasa mu ngalo ekiweebwayo eky'obutta eky'okujjukiza, kye kiweebwayo eky'obutta eky'obuggya: era kabona anaakwatanga mu mukono gwe amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo: 19awo kabona anaamulayizanga n'agamba omukazi nti Oba nga tewali musajja eyasula naawe, so tokyamanga eri obutali bulongoofu, ng'ofugibwa balo, amazzi gano agakaawa agaleeta ekikolimo tegakubeerako: 20naye oba nga wakyama, ng'ofugibwa balo, era ng'oyonoonese, era omusajja omulala oba nga yasula naawe atali balo: 21#Yer 29:22awo kabona anaalayizanga omukazi ekirayiro eky'okukolima, kabona n'agamba omukazi nti Mukama akufuule ekikolimo n'ekirayiro mu bantu bo, Mukama bw'akoozimbyanga ekisambi kyo, n'atumbiiza olubuto lwo; 22#Ma 27:15, Zab 109:18n'amazzi gano agaleeta ekikolimo ganaagenda mu byenda byo, ne gatumbiiza olubuto lwo, ne gakoozimbya ekisambi kyo; omukazi n'ayogera nti Amina, Amina. 23Awo kabona anaawandiikanga ebikolimo ebyo mu kitabo, n'abyozaako n'amazzi agakaawa: 24n'anywesa omukazi amazzi agakaawa agaleeta ekikolimo: amazzi agaleeta ekikolimo ne gayingira mu ye ne gakaawa. 25#Leev 8:27Awo kabona anaggyanga ekiweebwayo eky'obutta eky'obuggya mu mukono gw'omukazi, n'awuuba ekiweebwayo eky'obutta mu maaso ga Mukama, n'akireeta eri ekyoto: 26#Leev 2:2,9; 5:12kabona n'addira olubatu olw'obutta obuweebwayo, okuba ekijjukizo kyabwo, n'abwokera ku kyoto, oluvannyuma n'anywesa omukazi amazzi ago. 27#Ma 28:37, Yer 24:9, Zek 8:13Awo bw'anaamalanga okumunywesa amazzi, kale olunaatuukanga, bw'anaabanga ayonoonese, era ng'asobezza ku bbaawe, amazzi agaleeta ekikolimo ganaayingiranga mu ye ne gakaawa, n'olubuto lwe ne lutumbiira, n'ekisambi kye ne kikoozimba: n'omukazi anaabanga kikolimo mu bantu be. 28Era omukazi bw'anaabanga tayonoonese, naye nga mulongoofu; kale taabengako kigambo, n'okuba aliba lubuto. 29Eryo lye tteeka ery'obuggya, omukazi ng'afugibwa bbaawe bw'anaakyamanga n'ayonooneka: 30oba omwoyo ogw'obuggya bwe gunajjiranga omusajja, n'akwatirwa mukazi we obuggya; awo anaateekanga omukazi mu maaso ga Mukama, ne kabona anaamukoleranga etteeka eryo lyonna. 31#Ez 18:4Omusajja n'atabaako butali butuukirivu, n'omukazi oyo anaabangako obutali butuukirivu bwe.

Currently Selected:

Okubala 5: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in