Okubala 35
35
1Mukama n'agambira Musa mu nsenyi za Mowaabu ku Yoludaani e Yeriko 2#Leev 25:34, Yos 14:4; 21:2nti Lagira abaana ba Isiraeri okuwa Abaleevi ebibuga eby'okutuulamu nga babiggya ku busika obw'obutaka bwabwe; era n'amalundiro ag'oku bibuga agabyetoolodde muligawa Abaleevi. 3N'ebibuga banaabanga nabyo okusulamu: n'amalundiro gaako ganaabanga ga bisibo byabwe era ga bintu byabwe era ga nsolo zaabwe zonna. 4N'amalundiro ag'oku bibuga, ge muliwa Abaleevi, galiva ku bbugwe w'ekibuga n'okweyongerayo emikono lukumi enjuyi zonna. 5Era muligera ebweru w'ekibuga ku luuyi olw'ebuvanjuba emikono enkumi bbiri, ne ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo emikono enkumi bbiri, ne ku luuyi olw'ebugwanjuba emikono enkumi bbiri, ne ku luuyi olw'obukiika obwa kkono emikono enkumi bbiri, ekibuga nga kiri wakati. Ago ge galiba gye bali amalundiro ag'oku bibuga. 6#Ma 4:41-43, Yos 20:2,3,7; 21:3-40N'ebibuga bye muliwa Abaleevi, biriba ebibuga mukaaga eby'okuddukiramu, bye muliwa omussi w'omuntu okuddukira omwo: era mulyongera ku ebyo ebibuga ana mu bibiri. 7#Yos 21:41Ebibuga byonna bye muliwa Abaleevi biriba ebibuga ana mu munaana; byo n'amalundiro gaabyo. 8#Kubal 26:54N'ebibuga bye muliggya ku butaka obw'abaana ba Isiraeri okubigaba, ku bangi muliggyako bingi; ne ku batono muliggyako bitono: buli muntu ng'obusika bwe bwe buliba bw'alisikira, bw'atyo bw'aligabira Abaleevi ku bibuga bye.
9Mukama n'agamba Musa 10#Kuv 21:13, Ma 19:2-4, Yos 20:2-6nti Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti Bwe mulisomoka Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani, 11kale mulyerondera ebibuga okuba ebibuga eby'okuddukiramu gye muli; omussi w'omuntu anattanga omuntu yenna ng'ataniddwa addukire omwo. 12N'ebibuga binaabanga gye muli bya kuddukirangamu eri omuwoolezi w'eggwanga; omussi w'omuntu alemenga okufa nga tannayimirira mu maaso g'ekibiina okusalirwa omusango. 13N'ebibuga bye muliwa biriba gye muli ebibuga mukaaga bya kuddukiramu. 14#Yos 20:7,8Muliwa ebibuga bisatu emitala wa Yoludaani, era muliwa ebibuga bisatu mu nsi ya Kanani; binaabanga bibuga bya kuddukirangamu. 15#Kubal 15:16Eri abaana ba Isiraeri n'eri omugenyi n'eri oyo atuula mu bo, ebibuga ebyo omukaaga binaabanga bya kuddukirangamu: buli anattanga omuntu yenna ng'ataniddwa addukirenga omwo. 16#Kuv 21:12,14, Leev 24:17, Ma 19:11,12Naye oba nga yamukuba n'ekintu eky'ekyuma n'okufa n'afa, oyo nga mussi wa muntu: omussi w'omuntu talemanga kuttibwa. 17Era oba nga yamukuba n'ejjinja ng'alikutte mu ngalo, eriyinza okutta omuntu, n'afa, oyo nga mussi wa muntu: omussi w'omuntu talemanga kuttibwa. 18Oba nga yamukuba n'ekintu eky'omuti ng'akikutte mu ngalo, ekiyinza okutta omuntu, n'afa, oyo nga mussi wa muntu: omussi w'omuntu talemanga kuttibwa. 19#Ma 19:6,12Omuwoolezi w'omusaayi yennyini ye anattanga omussi w'omuntu: lw'amusisinkananga lw'amuttanga. 20#Kuv 21:14, Ma 19:11Era oba nga yamufumita olw'okumukyawa, oba yamukasuukirira, ng'ateeze, n'okufa n'afa; 21oba yamukuba n'ekikonde olw'obulabe, n'okufa n'afa: eyamukuba talemanga kuttibwa; oyo mussi wa muntu: omuwoolezi w'omusaayi alitta omussi w'omuntu, lw'alimusisinkana. 22Naye oba nga yamufumita mangu awatali bulabe, oba yamukasuukirira ekintu kyonna nga tateeze, 23oba ejjinja lyonna eriyinza okutta omuntu, nga tamulabye, n'alimusuulako, n'okufa n'afa, so tabanga mulabe we, so teyayagala kumukola bubi: 24#Yos 20:6kale ekibiina banaasalanga omusango gw'oyo eyakuba n'omuwoolezi w'omusaayi ng'emisango egyo bwe giri: 25era ekibiina banaawonyanga omussi w'omuntu mu mukono gw'omuwoolezi w'omusaayi, era ekibiina banaamuzzangayo mu kibuga kye eky'okuddukirangamu kye yali addukiddemu: era anaasulanga omwo okutuusa kabona omukulu eyafukibwako amafuta amatukuvu lw'anaafanga. 26Naye omussi w'omuntu bw'anaabanga ayise ku nsalo y'ekibuga kye eky'okuddukirangamu, ky'addukiramu; 27omuwoolezi w'omusaayi n'amusanga ng'ali bweru w'ensalo y'ekibuga kye eky'okuddukirangamu, omuwoolezi w'omusaayi n'atta omussi w'omuntu; tabangako musango gwa musaayi: 28kubanga yalema okubeera mu kibuga kye eky'okuddukirangamu okutuusa kabona omukulu lwe yandifudde: naye kabona omukulu ng'amaze okufa kale omussi w'omuntu anaddangayo mu nsi ey'obutaka bwe. 29Era ebyo binaabanga tteeka lya musango gye muli mu mirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna. 30#Ma 17:6; 19:15, Beb 10:28Buli anattanga omuntu yenna, omussi w'omuntu anattibwanga olw'akamwa k'abajulirwa: naye omujulirwa omu talumirizanga muntu yenna okumutta. 31Era temukkirizanga bya kununula bulamu bwa mussi wa muntu, asaanidde okufa: naye talemanga kuttibwa. 32So temukkirizanga bya kununula oyo eyaddukira mu kibuga kye eky'okuddukirangamu, akomewo okutuula mu nsi, okutuusa kabona lw'alifa. 33#Lub 9:6, Zab 106:38Bwe mutyo temwonoonanga nsi gye mulimu: kubanga omusaayi, ogwo gwe gwonoona ensi: so n'ensi teyinza kutangirirwa olw'omusaayi oguyiise omwo, wabula n'omusaayi gw'oyo eyaguyiwa. 34#Kuv 29:45,46, Leev 18:25; 26:12, Ma 21:23So temwonoonanga nsi gye mutuulamu, gye mbeeramu wakati: kubanga nze Mukama mbeera wakati mu baana ba Isiraeri.
Currently Selected:
Okubala 35: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: