YouVersion Logo
Search Icon

Okubala 33

33
1Bino bye biramago eby'abaana ba Isiraeri, bwa baava mu nsi y'e Misiri ng'eggye lyabwe bwe lyali wansi w'omukono gwa Musa ne Alooni. 2Musa n'awandiika okusitula kwabwe ng'ebiramago byabwe bwe byali olw'ekiragiro kya Mukama: era bino bye biramago byabwe ng'okusitula kwabwe bwe kwali. 3#Lub 47:11, Kuv 12:2; 13:4; 14:8Ne basitula e Lamesesi mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'olubereberye; ku lw'enkya Okuyitako nga kuwedde abaana ba Isiraeri ne bavaayo n'omukono ogwagulumizibwa mu maaso g'Abamisiri bonna, 4#Kuv 12:12,29Abamisiri bwe baali nga bakyaziika ababereberye baabwe bonna Mukama be yakuba mu bo: ne ku bakatonda baabwe Mukama n'awalana emisango. 5#Kuv 12:37Abaana ba Isiraeri ne basitula e Lamesesi, ne basiisira e Sukkosi. 6#Kuv 13:20Ne basitula e Sukkosi, ne basiisira e Yesamu, ekiri ku mabbali g'eddungu. 7#Ma 3:12,13, Kuv 14:2Ne basitula e Yesamu ne badda ennyuma okutuuka e Pikakirosi, ekyolekera Baalizefoni: ne basiisira okwolekera Migudooli. 8#Kuv 14:22; 15:22,23Ne basitula e Kakirosi, ne bayita wakati mu nnyanja ne bayingira mu ddungu: ne batambula olugendo olw'ennaku ssatu mu ddungu ery'e Yesamu, ne basiisira mu Mala. 9#Kuv 15:27Ne basitula e Mala ne batuuka e Erimu: era mu Erimu waaliwo enzizi z'amazzi kkumi na bbiri, n'enkindu nsanvu; ne basiisira eyo. 10Ne basitula e Erimu, ne basiisira ku Nnyanja Emmyufu. 11#Kuv 16:1Ne basitula okuva ku Nnyanja Emmyufu, ne basiisira mu ddungu Sini. 12Ne basitula okuva mu ddungu Sini, ne basiisira e Dofuka. 13Ne basitula e Dofuka, ne basiisira Yalusi. 14#Kuv 17:1Ne basitula e Yalusi, ne basiisira e Lefidimu, awataali mazzi abantu okunywa. 15#Kuv 19:1,2Ne basitula e Lefidimu, ne basiisira mu ddungu lya Sinaayi. 16#Kubal 11:34Ne basitula okuva mu ddungu lya Sinaayi, ne basiisira e Kiberosukataava. 17#Kubal 11:35Ne basitula e Kiberosukataava, ne basiisira e Kazerosi. 18#Kubal 12:16Ne basitula e Kazerosi, ne basiisira e Lisuma. 19Ne basitula e Lisuma, ne basiisira e Limoniperezi. 20Ne basitula e Limoniperezi, ne basiisira e Libuna. 21Ne basitula e Libuna, ne basiisira e Lisa. 22Ne basitula e Lisa, ne basiisira e Kekerasa. 23Ne basitula e Kekerasa, ne basiisira ku lusozi Seferi. 24Ne basitula okuva ku lusozi Seferi, ne basiisira e Kalada. 25Ne basitula e Kalada, ne basiisira e Makerosi. 26Ne basitula e Makerosi, ne basiisira e Takasi. 27Ne basitula e Takasi, ne basiisira e Tera. 28Ne basitula e Tera, ne basiisira e Misuka. 29Ne basitula e Misuka, ne basiisira e Kasumona. 30Ne basitula e Kasumona, ne basiisira e Moserosi. 31#Ma 10:6Ne basitula e Moserosi, ne basiisira e Beneyakani. 32Ne basitula e Beneyakani, ne basiisira e Kolukagidugada. 33#Ma 10:7Ne basitula e Kolukagidugada, ne basiirisa e Yotubasa. 34Ne basitula e Yotubasa, ne basiisira e Yabulona. 35#Ma 2:8, 1 Bassek 9:26; 22:48Ne basitula e Yabulona, ne basiisira e Ezyonigeba. 36#Kubal 20:1Ne basitula e Ezyonigeba, ne basiisira mu ddungu Zini (ye Kadesi). 37#Kubal 20:25-28Ne basitula e Kadesi, ne basiisira ku lusozi Koola, ku mabbali g'ensi ya Edomu. 38Alooni kabona n'alinnya ku lusozi Koola olw'ekiragiro kya Mukama, n'afiira okwo, abaana ba Isiraeri nga baakamaze emyaka ana okuva mu nsi y'e Misiri, mu mwezi ogw'okutaano, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi. 39Era Alooni yali yaakamaze emyaka kikumi mu abiri mu esatu bwe yafiira ku lusozi Koola. 40#Kubal 21:1N'Omukanani, kabaka w'e Yaladi, eyatuulanga ebukiika obwa ddyo mu nsi ya Kanani, n'awulira abaana ba Isiraeri nga bajja. 41#Kubal 21:4Ne basitula okuva ku lusozi Koola, ne basiisira e Zalumona. 42Ne basitula e Zalumona, ne basiisira e Punoni. 43#Kubal 21:10Ne basitula e Punoni, ne basiisira e Yobosi. 44#Kubal 21:11Ne basitula e Yobosi, ne basiisira e Iyeabalimu, ku mabbali ga Mowaabu. 45#Kubal 21:30; 32:34Ne basitula e Iyimu, ne basiisira e Dibonugadi. 46#Yer 48:22Ne basitula e Dibonugadi, ne basiisira e Yalumonudibulasaimu. 47#Ma 32:49, Kubal 27:12Ne basitula e Yalumonudibulasaimu, ne basiisira ku nsozi Abalimu, okwolekera Nebo. 48#Kubal 22:1Ne basitula okuva ku nsozi Abalimu, ne basiisira mu nsenyi za Mowaabu ku Yoludaani e Yeriko. 49#Kubal 25:1Ne basiisira ku Yoludaani, okuva e Besuyesimosi okutuuka e Yaberisitimu mu nsenyi za Mowaabu.
50Mukama n'agambira Musa mu nsenyi za Mowaabu ku Yoludaani e Yeriko 51#Ma 9:1nti Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti Bwe mulisomoka Yoludaani ne muyingira mu nsi ya Kanani, 52#Kuv 23:24,31, Leev 26:1, Ma 7:2,5kale muligobamu bonna abatuula mu nsi mu maaso gammwe, ne muzikiriza amayinja gaabwe gonna agaliko ebifaananyi, ne muzikiriza ebifaananyi byabwe byonna ebifumbe, ne musuulasuula ebifo byabwe byonna ebigulumivu: 53era mulirya ensi ne mutuula omwo: kubanga mmwe ngiwadde ensi okugirya. 54#Kubal 26:53-54,55Era mulisikira ensi n'obululu ng'enda zammwe bwe ziri; abayinga obungi mulibawa obusika okusukkiriza, n'abatono olibawa obusika okukendeezaako: wonna wonna akalulu we kaligwirira omuntu, kale we waliba awawe; ng'ebika bya bakitammwe bwe biri bwe mulisika bwe mutyo. 55#Yos 23:13Naye bwe mutalikkiriza kugobamu abo abatuula mu nsi mu maaso gammwe; kale abo be mulisigaza ku bo banaabanga ng'ebifumita mu maaso gammwe era ng'amaggwa mu mbiriizi zammwe, era banaabateganyanga mu nsi gye mulituulamu. 56Awo olulituuka, nga bwe nnali ndowooza okubakola bo, bwe ntyo bwe ndibakola mmwe.

Currently Selected:

Okubala 33: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in