YouVersion Logo
Search Icon

Okubala 14

14
1Awo ekibiina kyonna ne bayimusa eddoboozi lyabwe, ne balira; abantu ne bakaaba amaziga ekiro ekyo. 2#Zab 106:25, 1 Kol 10:10Abaana ba Isiraeri bonna ne beemulugunyiza Musa ne Alooni: ekibiina kyonna ne babagamba nti Singa twafiira mu nsi y'e Misiri! oba singa twafiira mu ddungu muno! 3Era Mukama atuleetera ki mu nsi muno, okugwa n'ekitala? Bakazi baffe n'abaana baffe abato baliba munyago: si kye kisinga obulungi gye tuli okuddayo mu Misiri? 4#Ma 17:16Ne bagambagana nti Tweteekerewo omugabe, tuddeyo mu Misiri. 5Awo Musa ne Alooni ne bavuunama amaaso gaabwe mu maaso g'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri. 6Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali ku muwendo gw'abo abaaketta ensi, ne bayuza engoye zaabwe: 7ne babuulira ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nga boogera nti Ensi gye twayitamu okugiketta nsi nnungi nnyo. 8#Kubal 13:27, Ma 10:15Mukama oba ng'atusanyukira, kale alituyingiza mu nsi omwo, n'agituwa; ensi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki. 9#Lub 48:21, Ma 9:7,23,24; 20:1,3,4, Zab 14:4Kyokka temujeemera Mukama, so temutya bantu ba mu nsi; kubanga kya kulya gye tuli: ekisiikirize kyabwe kiggiddwa waggulu ku bo, era Mukama ali wamu naffe: temubatya. 10#Kuv 17:4, Leev 9:23Naye ekibiina kyonna ne balagira okubakuba amayinja. Ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira mu weema ey'okusisinkanirangamu eri abaana ba Isiraeri bonna.
11 # Zab 78:22,32; 106:24, Yok 12:37 Mukama n'agamba Musa nti Abantu bano balituusa wa okunnyooma? era balituusa wa obutanzikiriza olw'obubonero bwonna bwe nnakolera mu bo? 12#Kuv 32:10N'abakuba ne kawumpuli, ne mbaggyako obusika bwabwe, ne nkuggyamu eggwanga eribasinga bo obunene n'amaanyi. 13#Kuv 32:12, Ez 20:9Musa n'agamba Mukama nti Kale Abamisiri balikiwulira; kubanga waggya abantu bano mu bo n'amaanyi go n'obalinnyisa; 14#Kuv 13:21; 15:14ne bakibuulira abatuula mu nsi muno: baawulira nga ggwe Mukama oli wakati mu bantu bano; kubanga ggwe Mukama olabika amaaso n'amaaso, n'ekire kyo kiyimirira ku bo, n'obakulembera, mu mpagi ey'ekire emisana, ne mu mpagi ey'omuliro ekiro. 15Kale bw'onotta abantu bano ng'omuntu omu, kale amawanga agaawulira ettutumu lyo balyogera 16#Ma 9:28nti Kubanga Mukama teyayinza kuyingiza bantu bano mu nsi gye yabalayirira, kyeyava abattira mu ddungu. 17Kale kaakano, nkwegayiridde obuyinza bwa Mukama bubeere bungi, nga bwe wayogera 18#Kuv 34:6,7nti Mukama alwawo okusunguwala, era ow'okusaasira kungi, asonyiwa obutali butuukirivu n'okusobya, era atalimuggyako musango n'akatono aguliko; awalana obutali butuukirivu bwa bajjajja baabwe ku baana, ku mirembe egy'okusatu n'egy'okuna. 19Nkwegayiridde, sonyiwa, obutali butuukirivu bw'abantu bano ng'okusaasira kwo bwe kuli okungi, era nga bwe wasonyiwanga abantu bano okuva mu Misiri na guno gujwa. 20Mukama n'agamba nti Nsonyiye ng'ekigambo kyo bwe kibadde: 21naye mazima ddala, nga bwe ndi omulamu, era ng'ensi zonna bwe zirijjula ekitiibwa kya Mukama; 22kubanga abasajja abo bonna abaalaba ekitiibwa kyange n'obubonero bwange bwe nnakolera mu Misiri ne mu ddungu, naye ne bankema emirundi gino ekkumi, ne batawulira ddoboozi lyange; 23mazima tebaliraba nsi gye nnalayirira bajjajja baabwe, so tewaliba ku abo abannyooma n'omu aligiraba: 24naye omuddu wange Kalebu, kubanga ye alina omwoyo omulala mu ye, era ye angobererera ddala, oyo ndimuleeta mu nsi gye yagendamu; n'ezzadde lye lirigirya. 25Kale Omwamaleki n'Omukanani batuula mu kiwonvu: enkya mukyuke, mwegendere mu ddungu mu kkubo ery'Ennyanja Emmyufu.
26Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti 27Ndituusa wa okugumiikiriza ekibiina kino ekibi, abanneemulugunyiza? Mpulidde okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri kwe banneemulugunyiza. 28Bagambe nti Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, mazima nga bwe mwogedde mu matu gange, bwe ntyo bwe nnaabakolanga: 29emirambo gyammwe girigwa mu ddungu muno; n'abo bonna abaabalibwa ku mmwe, ng'omuwendo gwammwe gwonna bwe gwali, abaali baakamaze emyaka abiri n'okukirawo, abanneemulugunyiza, 30mazima temulituuka mu nsi, gye nnayimusiriza omukono gwange okubatuuza omwo, wabula Kalebu mutabani wa Yefune, ne Yoswa mutabani wa Nuuni. 31Naye abaana bammwe abato, be mugambye okuba omunyago, abo ndibayingiza, nabo balimanya ensi gye mugaanyi. 32Naye mmwe, emirambo gyammwe girigwa mu ddungu muno. 33#Kubal 32:13 N'abaana bammwe banaabanga batambuze mu ddungu okumala emyaka ana, era banaabangako obwenzi bwammwe, okutuusa emirambo gyammwe lwe girizikiririra mu ddungu. 34#Kubal 13:25, Zab 95:10, Ez 4:6Ng'omuwendo gw'ennaku bwe gwali ze mwaketteramu ensi, ze nnaku ana, buli lunaku mwaka, bwe munaabangako bwe mutyo obutali butuukirivu bwammwe, gye myaka ana, era munaamanyanga bwe nnabaabulira. 35#Kubal 23:19Nze Mukama njogedde, mazima ndikola kino ekibiina kino kyonna ekibi, abankuŋŋaaniddeko: mu ddungu muno mwe balizikiririra, era mwe balifiira. 36#Kubal 13:31N'abantu Musa be yatuma okuketta ensi, abaakomawo ne bamwemulugunyizisa ekibiina kyonna, nga baleeta ebigambo ebibi ku nsi, 37#1 Kol 10:5,10, Yud 5abantu abo abaaleeta ebigambo ebibi eby'ensi ne bafa kawumpuli mu maaso ga Mukama. 38#Kubal 26:65Naye Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune ne basigalawo nga balamu ku bantu abo abaagenda okuketta ensi. 39#Kuv 33:4Awo Musa n'abuulira abaana ba Isiraeri bonna ebigambo ebyo: abantu ne bawuubaala nnyo. 40#Ma 1:41Ne bagolokoka enkya mu makya, ne beegendera ku ntikko y'olusozi nga boogera nti Laba, tutuuno, era tunaayambuka mu kifo Mukama kye yasubiza: kubanga twayonoona. 41#2 Byom 24:20, Yob 9:4Musa n'agamba nti Kaakano musobeza ki ekiragiro kya Mukama, kubanga tekiibe na mukisa? 42#Ma 1:42Temwambuka, kubanga Mukama tali mu mmwe; muleme okukubirwa ddala mu maaso g'abalabe bammwe. 43Kubanga eyo Omwamaleki n'Omukanani bali mu maaso gammwe, era munaagwa n'ekitala: kubanga mwadda ennyuma obutagoberera Mukama, Mukama kyanaava alema okubeera nammwe. 44#Ma 1:43Naye ne beeyinula okulinnya ku ntikko y'olusozi: naye ssanduuko ey'endagaano ya Mukama ne Musa tebaava mu lusiisira. 45Awo Omwamaleki n'aserengeta, n'Omukanani eyatuula ku lusozi okwo, ne babakuba ne babaseera ddala okutuusa e Koluma.

Currently Selected:

Okubala 14: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in