Okubala 12
12
1 #
Kuv 15:20, Kubal 26:59 Awo Miryamu ne Alooni ne boogera obubi ku Musa olw'omukazi Omukuusi gwe yali awasizza: kubanga yali awasizza omukazi Omukuusi. 2#Kuv 4:15, 2 Bassek 19:4, Ez 35:12Ne boogera nti Mazima Mukama yayogera ne Musa yekka? era teyayogera naffe? Mukama n'abiwulira. 3Era omusajja Musa yali muwombeefu nnyo, okusinga abantu bonna abaali ku nsi yonna. 4Mukama n'ayogera mangu ago ne Musa ne Alooni ne Miryamu nti Mufulume mwensatule mujje ku weema ey'okusisinkanirangamu. Abo bonsatule ne bafuluma. 5#Kubal 11:25Mukama n'akkira mu mpagi ey'ekire, n'ayimirira ku mulyango gw'Eweema, n'ayita Alooni ne Miryamu: bombi ne bafuluma. 6#Lub 20:3; 46:2N'ayogera nti Muwulire nno ebigambo byange: oba nga munaabanga mummwe nabbi, nze Mukama neetegeezanga gy'ali mu kwolesebwa, naayogereranga naye mu kirooto. 7#Zab 105:26, Beb 3:2,5Omuddu wange Musa si bw'ali bw'atyo; oyo mwesigwa mu nnyumba yange yonna: 8#Kuv 33:11,19-23, Kubal 7:89oyo naayogeranga naye akamwa n'akamwa, mu lwatu, so si mu bigambo bya ngero; n'okufaanana kwa Mukama anaakulabanga: kale ekyabalobera ki okutya okwogera obubi ku muddu wange, ku Musa? 9Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku bo; ne yeeviirawo. 10Ekire ne kiva waggulu ku weema; era laba, Miryamu n'abaako ebigenge, ng'omuzira: Alooni n'atunuulira Miryamu, era, laba, ng'aliko ebigenge. 11#2 Sam 19:19Alooni n'agamba Musa nti Ai mukama wange, nkwegayiridde, totuteekako kibi, kubanga tukoze eby'obusirusiru era nga tukoze ekibi. 12Nkwegayiridde aleme okuba ng'omufu, omubiri gwe nga gwonooneseeko ekitundu ng'ava mu lubuto lwa nnyina. 13Musa n'akaabira Mukama ng'ayogera nti Muwonye, ai Katonda, nkwegayiridde. 14#Leev 13:46, Kubal 5:2,3, Ma 25:9Mukama n'agamba Musa nti Kitaawe singa amuwandidde amalusu obulusu mu maaso, ensonyi tezandimukwatidde ennaku musanvu? asibirwe ebweru w'olusiisira ennaku musanvu, kale oluvannyuma alyoke ayingizibwe nate. 15Miryamu n'asibirwa ebweru w'olusiisira ennaku musanvu: abantu ne batatambula okutuusa Miryamu lwe yayingizibwa nate. 16#Kubal 10:12; 11:35Awo oluvannyuma abantu ne basitula e Kazerosi ne batambula ne basiisira mu ddungu lya Palani.
Currently Selected:
Okubala 12: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: