Eby'Abaleevi 23
23
1Mukama n'agamba Musa 2#Kuv 12:16, Kubal 10:3,10nti Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Embaga endagire eza Mukama, ze munaalangiranga okuba okukuŋŋaana okutukuvu, zino ze mbaga zange endagire. 3#Kuv 20:9,10; 23:12; 31:15; 34:21, Ma 5:12-15Ennaku omukaaga zinaakolerwangako omulimu: naye ku lunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombekerako, okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna: olwo ssabbiiti eri Mukama mu nnyumba zammwe zonna.
4 #
Kuv 23:14-16
Zino ze mbaga endagire eza Mukama, kwe kukuŋŋaana okutukuvu, ze munaalangiranga mu ntuuko zaazo endagire. 5#Kuv 12:1,6, Kubal 28:16, Ma 16:1Mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya akawungeezi, kwe Kuyitako kwa Mukama. 6#Kuv 12:15; 34:18Ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogwo ye mbaga ey'emigaati egitazimbulukuswa eri Mukama: munaaliiranga ennaku musanvu emigaati egitazimbulukuswa. 7#Kuv 12:16, Kubal 28:18-25Ku lunaku olw'olubereberye munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu: temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono. 8Naye munaaweerangayo ennaku musanvu ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: ku lunaku olw'omusanvu wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwa mikono.
9Mukama n'agamba Musa 10#Kuv 32:16,19, Kubal 15:23,28, Ma 26:1-3nti Yogera n'abaana ba Isiraeri, obagambe nti Bwe mulimala okuyingira mu nsi gye mbawa, ne mukungula ebikungulwa byayo, ne mulyokanga muleeta ekinywa eky'ebibereberye eby'ebikungulwa byammwe eri kabona: 11#Kuv 29:24naye anaawuubawuubanga ekinywa mu maaso ga Mukama, okukkirizibwa ku lwammwe: ku lw'enkya oluddirira ssabbiiti kabona kw'anaakiwuubirawuubiranga. 12#Leev 1:10Era ku lunaku kwe munaawuubirawuubiranga ekinywa, munaawangayo omwana gw'endiga omulume ogutaliiko bulema ogutannamala mwaka gumu okuba ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama. 13#Leev 2:14-16N'ekiweebwayo kyako eky'obutta kinaabanga ebitundu bibiri eby'ekkumi ebya efa eby'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama okuba evvumbe eddungi: n'ekiweebwayo kyako eky'okunywa kinaabanga kya nvinnyo, ekitundu eky'okuna ekya ini. 14So temulyanga mugaati newakubadde eŋŋano ensiike newakubadde ebirimba ebibisi, okutuusa olunaku olwo, okutuusa lwe munaamalanga okuleeta ekitone kya Katonda wammwe: lye tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna.
15 #
Kuv 34:22, Ma 16:9 Era muneebaliranga okuva ku lw'enkya oluddirira ssabbiiti, okuva ku lunaku kwe mwaleetera ekinywa eky'ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa; wanaabangawo ssabbiiti musanvu ennamba: 16#Kubal 28:16, Bik 2:1okutuusa olw'enkya oluddirira ssabbiiti ey'omusanvu munaabalanga ennaku ataano: awo munaawangayo ekiweebwayo eky'obutta obuggya eri Mukama. 17#Kuv 23:16, Kubal 15:17-20Munaafulumyanga mu nnyumba zammwe emigaati ebiri egiwuubibwawuubibwa egy'ebitundu ebibiri eby'ekkumi ebya efa: ginaabanga gya butta bulungi, ginaayokebwanga n'ekizimbulukusa, okuba ebibereberye eri Mukama. 18Era munaaleetanga wamu n'emigaati abaana b'endiga musanvu abataliiko bulema abatannamala mwaka gumu, n'ente ento emu, n'endiga ennume bbiri: zinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, wamu n'ekiweebwayo kyako eky'obutta, n'ebiweebwayo byako eby'okunywa, kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama. 19#Leev 3:1; 4:23,28, Kubal 28:30Era munaawangayo embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'abaana b'endiga abalume babiri abatannamala mwaka gumu okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe. 20#Leev 7:31-34; 23:11, Kubal 18:12, Ma 18:4Kale kabona anaaziwuubanga wamu n'emigaati egy'ebibereberye okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama, wamu n'abaana b'endiga bombi: binaabanga bitukuvu eri Mukama bya kabona. 21Era munaalangiranga ku lunaku olwo; wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu gye muli: temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono: lye tteeka eritaliggwaawo mu nnyumba zammwe zonna mu mirembe gyammwe gyonna.
22 #
Leev 19:9,10, Ma 24:19 Era bwe munaakungulanga ebikungulwa eby'ensi yammwe, tomaliranga ddala kukungula nsonda za nnimiro yo, so tolondanga ebyerebwa eby'ebikungulwa byo: onoobirekeranga omwavu n'omugenyi: nze Mukama Katonda wammwe.
23Mukama n'agamba Musa 24#Kubal 10:2,10; 29:1nti Gamba abaana ba Isiraeri nti Mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, wanaabangawo okuwummula okw'okwewombeeka gye muli, ekijjukizo eky'okufuuwa amakondeere, okukuŋŋaana okutukuvu. 25Temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono: era munaawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
26Mukama n'agamba Musa 27#Leev 16:29,30, Kubal 29:7,8nti Naye ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogwo ogw'omusanvu lwe lunaku olw'okutangiririrako: lunaabanga kukuŋŋaana kutukuvu gye muli, nammwe munaabonerezanga obulamu bammwe; era munaawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 28So temukolanga mulimu gwonna ku lunaku olwo: kubanga lwe lunaku olw'okutangiririrako okubatangirira mu maaso ga Mukama Katonda wammwe. 29Kubanga buli bulamu bwonna obutaabonerezebwenga ku lunaku olwo, anaazikirizibwanga mu bantu be. 30Era buli bulamu bwonna obunaakolanga omulimu gwonna ku lunaku olwo; obulamu obwo naabuzikirizanga mu bantu be. 31Temukolanga mulimu gwonna: lye tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna. 32Lunaabanga gye muli ssabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombeekerako, nammwe munaabonerezanga obulamu bwammwe: ku lunaku olw'omwenda olw'omwezi akawungeezi, okusooka akawungeezi okutuusa akawungeezi, muneekuumanga ssabbiiti yammwe.
33Mukama n'agamba Musa 34#Kubal 29:12, Ma 16:13, Nek 8:14nti Gamba abaana ba Isiraeri nti Ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi guno ogw'omusanvu wanaabangawo embaga ey'ensiisira okumala ennaku musanvu eri Mukama. 35Ku lunaku olw'olubereberye wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu: temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono. 36#Kubal 29:12-38, Nek 8:18, Yok 7:37Munaaweerangayo ennaku musanvu ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: ku lunaku olw'omunaana wanaabangawo okukuŋŋaana okutukuvu gye muli; nammwe munaawangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: kwe kukuŋŋaana okukulu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono.
37Ezo ze mbaga endagire eza Mukama, ze munaalangiranga okuba okukuŋŋaana okutukuvu, okuwangayo ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama, ekiweebwayo ekyokebwa, n'ekiweebwayo eky'obutta, ssaddaaka, n'ebiweebwayo eby'okunywa, kinnakimu ku lunaku lwakyo: 38#Kubal 29:39obutassaako ssabbiiti za Mukama, n'ebirabo byammwe, n'obweyamo bwammwe bwonna, n'ebyo byonna bye muwaayo ku bwammwe, bye muwa Mukama.
39 #
Kuv 23:16, Ma 16:13 Naye ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu, bwe munaamalanga okukungula ebibala by'ensi, muneekuumiranga embaga ya Mukama ennaku musanvu: ku lunaku olw'olubereberye wanaabangawo okuwummula okw'okwewombeeka, ne ku lunaku olw'omunaana wanaabangawo okuwummula okw'okwewombeeka. 40#Ma 16:14,15, Nek 8:15-18Era ku lunaku olw'olubereberye muneetwaliranga ebibala by'emiti emirungi, amatabi g'enkindu, n'amatabi g'emiti emiziyivu, n'emiti egy'oku migga; era munaasanyukiranga ennaku musanvu mu maaso ga Mukama Katonda wammwe. 41Era munaagyekuumiranga okuba embaga eri Mukama ennaku musanvu buli mwaka: lye tteka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe: munaagyekuumiranga mu mwezi ogw'omusanvu. 42Munaamalanga ennaku musanvu mu nsiisira: enzaalwa bonna ab'omu Isiraeri banaatuulanga mu nsiisira: 43emirembe gyammwe giryoke gimanyenga nga natuuza abaana ba Isiraeri mu nsiisira, bwe nnabaggya mu nsi y'e Misiri: nze Mukama Katonda wammwe. 44Awo Musa n'abuulira abaana ba Isiraeri embaga endagire eza Mukama.
Currently Selected:
Eby'Abaleevi 23: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: