Eby'Abaleevi 16
16
1 #
Leev 10:1,2 Mukama n'ayogera ne Musa, batabani ba Alooni bombi nga bamaze okufa, bwe baasembera mu maaso ga Mukama ne bafa; 2#Kuv 25:22; 30:10; 40:34, 1 Bassek 8:10-12, Beb 9:5,7,25Mukama n'agamba Musa nti Gamba Alooni muganda wo obutamalanga gajja mu watukuvu munda w'eggigi buli biro, mu maaso g'entebe ey'okusaasira eri ku sanduuko; aleme okufa: kubanga naalabikiranga mu kire ku ntebe ey'okusaasira. 3#Leev 1:10; 4:3Bino Alooni by'anajjanga nabyo mu watukuvu: ng'alina ente ennume envubuka okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume okuba ekiweebwayo ekyokebwa. 4#Kuv 28:39,42, Leev 8:6,7Anaayambalanga ekizibawo ekyo ekya bafuta ekitukuvu, era anaabanga ne seruwale eyo eya bafuta ku mubiri gwe, era nga yeesibye olukoba olwo olwa bafuta, era ng'atikkidde enkuffiira eyo eya bafuta; ebyo bye byambalo ebitukuvu; era anaanaabanga omubiri gwe mu mazzi, n'abyambala. 5#Leev 4:23, Kubal 29:11Awo anaatwalanga ku kibiina ky'abaana ba Isiraeri embuzi ennume bbiri okuba ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume emu okuba ekiweebwayo ekyokebwa. 6#Leev 9:7, Beb 5:3; 7:27,28; 9:7Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe, ne yeetangirira ye n'ennyumba ye. 7Awo anaatwalanga embuzi zombi, n'aziteeka mu maaso ga Mukama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 8Awo Alooni anaazikubiranga obululu embuzi zombi; akalulu akamu ka Mukama, n'akalulu ak'okubiri ka Azazeri. 9Awo Alooni anaayanjulanga embuzi egwiriddwako akalulu ka Mukama, n'agiwaayo okuba ekiweebwayo olw'ekibi. 10Naye embuzi egwiriddwako akalulu ka Azazeri, eneetekebwanga mu maaso ga Mukama nga nnamu, okumutangirira, okugisindiikiriza eri Azazeri mu ddungu. 11Awo Alooni anaayanjulanga ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe, ne yeetangirira ye n'ennyumba ye, n'atta ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, eyiye ku bubwe: 12#Leev 10:1, Kubal 16:46, Kub 8:3,5awo anaddiranga ekyoterezo ekijjudde amanda ag'omuliro ng'agaggya ku kyoto mu maaso ga Mukama, n'embatu ze nga zijjudde obubaane obw'akaloosa obusekuddwa ennyo, n'abuleeta munda w'eggigi: 13#Kuv 25:21,22awo anaateekanga obubaane ku muliro mu maaso ga Mukama, omukka ogw'obubaane gubikke ku ntebe ey'okusaasira eri ku bujulirwa, aleme okufa: 14#Leev 4:5,6, Beb 2:17; 9:7,13,25awo anaatoolanga ku musaayi gw'ente ennume, n'agumansira n'engalo ye ku ntebe ey'okusaasira ebuvanjuba; era anaamansiranga ku musaayi mu maaso g'entebe ey'okusaasira n'engalo ye emirundi musanvu. 15Awo anattanga embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, ey'abantu, n'aleeta omusaayi gwayo munda w'eggigi, n'akola omusaayi gwayo nga bw'akoze omusaayi gw'ente ennume, n'agumansira ku ntebe ey'okusaasira, ne mu maaso g'entebe ey'okusaasira: 16#Kuv 29:36, Ez 45:18era anaatangiriranga awatukuvu, olw'obutali bulongoofu bw'abaana ba Isiraeri, n'olw'ebyonoono byabwe, ebibi byabwe byonna: era bw'atyo bw'anaakolanga eweema ey'okusisinkanirangamu, ebeera nabo wakati mu butali bulongoofu bwabwe. 17#Luk 1:10,21So temubanga muntu mu weema ey'okusisinkanirangamu, bw'anaayingiranga okutangirira mu watukuvu, okutuusa lw'anaafulumanga, ng'amaze okwetangirira ye n'ennyumba ye n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri. 18#Leev 1:5; 4:18,24, Ez 43:20Awo anaafulumanga eri ekyoto ekiri mu maaso ga Mukama, n'akitangirira: n'atoola ku musaayi gw'ente ennume, ne ku musaayi gw'embuzi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto enjuyi zonna. 19#Ez 43:18N'akimansirako omusaayi n'engalo ye emirundi musanvu, n'akirongoosa, n'akitukuza okukiggyako obutali bulongoofu bw'abaana ba Isiraeri. 20#Ez 45:20, Leev 23:32Awo bw'anaamaliranga ddala okutangirira awatukuvu, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto, anaayanjulanga embuzi ennamu: 21#Is 53:6, Beb 10:3, 2 Kol 5:21awo Alooni anaateekanga emikono gye gyombi ku mutwe gw'embuzi ennamu n'ayatulira ku yo obutali butuukirivu bwonna obw'abaana ba Isiraeri, n'ebyonoono byabwe byonna, ebibi byabwe byonna; n'abiteeka ku mutwe gw'embuzi, n'agisindiikiriza mu ddungu mu mukono gw'omuntu eyeeteeseteese: 22#Is 53:11, Beb 9:28era embuzi eneesituliranga ku yo obutali butuukirivu bwabwe bwonna n'ebutwala mu nsi eteriimu bantu: kale embuzi anaagiteeranga mu ddungu. 23#Leev 6:11Awo Alooni anaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, n'ayambula ebyambalo ebya bafuta, by'abadde ayambadde ng'ayingidde mu watukuvu, n'abireka eyo: 24#Leev 16:3,5awo anaanaabiranga omubiri gwe n'amazzi mu kifo ekitukuvu, n'ayambala ebyambalo bye, n'afuluma, n'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ekikye n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'abantu, ne yeetangirira ye n'abantu. 25#Kuv 29:13, Leev 4:8-10N'amasavu ag'ekiweebwayo olw'ekibi anaagookeranga ku kyoto. 26#Leev 15:5; 16:8,10N'oyo ateera embuzi eri Azazeri anaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira. 27#Leev 4:11,12, Beb 13:11N'ente ennume ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, omusaayi gwayo oguyingizibwa okutangirira mu watukuvu, zinaafulumizibwanga ebweru w'olusiisira; ne bookera mu muliro amaliba gaazo, n'ennyama yaazo, n'obusa bwazo. 28N'oyo abyokya amaayozanga ebyambalo bye, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, oluvannyuma n'alyoka ayingira mu lusiisira.
29 #
Kuv 12:49, Leev 23:27, Kubal 29:7, Is 58:3,5 Era lino linaabanga tteeka gye muli emirembe gyonna: mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi, munaabonerezanga emmeeme zammwe, so temukolanga mulimu gwonna, enzaalwa newakubadde omugenyi atuula mu mmwe: 30#Yer 33:8, Ez 36:25, Beb 10:1,2kubanga ku lunaku olwo kwe banaabatangiririranga, okubalongoosa; munaabanga balongoofu mu bibi byammwe byonna mu maaso ga Mukama. 31#Leev 23:32Olwo ye ssabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombeekerako gye muli, era munaabonerezanga emmeeme zammwe; lye tteeka ery'emirembe gyonna. 32#Kuv 29:29,30, Leev 16:4, Kubal 20:28Era kabona, anaafukibwangako amafuta era anaayawulibwanga okuba kabona mu kifo kya kitaawe, anaatangiriranga era anaayambalanga ebyambalo ebya bafuta, ebyambalo ebitukuvu: 33era anaatangiriranga awatukuvu awaayawulibwa, era anaatangiriranga eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto; era anaatangiriranga bakabona n'abantu bonna ab'ekibiina. 34#Kuv 30:10, Beb 9:7,25Era lino linaabanga tteeka gye muli eritajjulukuka emirembe gyonna, okutangiriranga abaana ba Isiraeri olw'ebibi byabwe byonna omulundi gumu buli mwaka. N'akola nga Mukama bwe yalagira Musa.
Currently Selected:
Eby'Abaleevi 16: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: