Eby'Abaleevi 11
11
1 #
Ma 14:3-20
Mukama n'ayogera ne Musa ne Alooni ng'abagamba nti 2Mugambe abaana ba Isiraeri nti Bino bye biramu bye munaalyanga ku nsolo zonna eziri ku nsi. 3Buli ekyawulamu ekinuulo, era ekirina ekigere ekyaseemu, era ekizza obwenkulumu, mu nsolo, ekyo kye mulyanga. 4Naye bino bye mutalyanga ku ebyo ebizza obwenkulumu oba ku ebyo ebyawulamu ekinuulo: eŋŋamira, kubanga ezza obwenkulumu naye teyawulamu kinuulo, eyo si nnongoofu gye muli. 5N'omusu, kubanga guzza obwenkulumu naye tegwawulamu kinuulo, ogwo si mulongoofu gye muli. 6N'akamyu, kubanga kazza obwenkulumu naye tekaawulamu kinuulo, ako si kalongoofu gye muli. 7#Is 65:4; 66:3,7,17N'embizzi, kubanga eyawulamu ekinuulo, era erina ekigere ekyaseemu, naye tezza bwenkulumu, eyo si nnongoofu gye muli. 8Ku nnyama yaazo temulyangako, so n'emirambo gyazo temugikomangako; si nnongoofu gye muli.
9Bino bye munaalyanga ku byonna ebiri mu mazzi: buli ekirina amaggwa n'amagamba mu mazzi, mu nnyanja ne mu migga, ebyo bye munaalyanga. 10#Leev 7:21Era buli ekitalina maggwa na magamba mu nnyanja ne mu migga, ku byonna ebitambulira mu mazzi ne ku biramu byonna ebiri mu mazzi, bya muzizo gye muli, 11era binaabanga bya muzizo gye muli; temulyanga ku nnyama yaabyo, n'emirambo gyabyo munaagiyitanga gya muzizo. 12Buli ekitalina maggwa newakubadde amagamba mu mazzi, ekyo kya muzizo gye muli.
13Na bino bye munaayitanga eby'omuzizo ku nnyonyi; tebiriibwanga, bya muzizo: ennunda, n'empungu, ne makwanzi; 14ne kamunye, n'eddiirawamu n'engeri yaalyo; 15buli namuŋŋoona n'engeri yaabo; 16ne maaya, n'olubugabuga, n'olusove, n'enkambo n'engeri yaayo; 17n'ekiwuugulu, n'enkobyokkoobyo, n'ekkufufu; 18n'ekiwuugulu eky'amatu, ne kimbala, n'ensega; 19ne kasida, ne mpaabaana n'engeri ye, n'ekkookootezi, n'ekinyira.
20Ebyewalula byonna ebirina ebiwaawaatiro ebitambuza amagulu ana bya muzizo gye muli. 21Naye bino bye muyinza okulya ku byonna ebyewalula ebirina ebiwaawaatiro ebitambuza amagulu ana, ebirina amagulu waggulu ku bigere byabyo, okugabuusa ku nsi; 22#Mat 3:4bino bye muyinza okulya ku ebyo; enzige n'engeri yaayo, n'enseenene n'engeri yaayo, n'akanyeenyenkule n'engeri yaako, n'ejjanzi n'engeri yaalyo. 23Naye ebyewalula byonna ebirina ebiwaawaatiro, ebirina amagulu ana, bya muzizo gye muli.
24Na bino bye binaabafuulanga abatali balongoofu: buli anaakomanga ku mulambo gwabyo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: 25#Leev 14:47; 15:5; 17:15, Kubal 19:10era buli asitula ku mulambo gwabyo anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 26Buli nsolo eyawulamu ekinuulo, so nga terina kigere kyaseemu, so tezza bwenkulumu, si noongoofu gye muli: buli anaazikomangako anaabanga atali mulongoofu. 27Era buli etambuza ebibatu byayo ku nsolo zonna ezitambuza amagulu ana, ezo si nnongoofu gye muli: buli anaakomanga ku mulambo gwazo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 28Era oyo asitula omulambo gwazo anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: ezo si nnongoofu gye muli.
29 #
Is 66:17
Na bino bye bitali birongoofu gye muli ku byewalula ebyewalula ku nsi; eggunju, n'emmese, n'ekkonkomi eddene n'engeri yaalyo, 30ne anaka, n'enswaswa, n'omunya, n'ekkonkomi, ne nnawolovu. 31Ebyo bye bitali birongoofu gye muli ku ebyo byonna ebyewalula: buli anaabikomangako, nga bifudde, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 32#Leev 15:12Era ekintu kyonna ekinaagwibwangako kyonna kyonna ku byo, nga bifudde, kinaabanga ekitali kirongoofu; bwe kibanga ekintu kyonna eky'omuti, oba kyambalo, oba ddiba, oba nsawo oba kintu kyonna kyonna, ekikoza omulimu gwonna, kikigwaniranga okuteekebwa mu mazzi, era kinaabanga ekitali kirongoofu okutuusa akawungeezi; ne kiryoka kiba ekirongoofu. 33Na buli kintu eky'ebbumba, ekinaagwibwangamu kyonna kyonna ku byo, ekibanga mu kyo kyonna kinaabanga ekitali kirongoofu, nakyo munaakyasanga. 34Eky'okulya kyonna ekirimu ekiriika, ekiyinza okufukibwako amazzi, kinaabanga ekitali kirongoofu: na buli kya kunywa ekinaanywebwanga mu buli kintu (ekiri bwe kityo) kinaabanga ekitali kirongoofu. 35Era buli kintu ekinaagwibwangako ekitundu kyonna eky'omulambo gwabyo kinaabanga ekitali kirongoofu; oba kabiga, oba amasiga g'entamu, kinaamenyebwamenyebwanga: si birongoofu, era binaabanga ebitali birongoofu gye muli. 36Naye oluzzi oba obunnya omuli amazzi agakuŋŋaanyizibwa kinaabanga ekirongoofu: naye ekinaakomanga ku mulambo gwabyo kinaabanga ekitali kirongoofu. 37Era oba nga ku mulambo gwabyo kugwa ku nsigo yonna ey'okusiga egenda okusigibwa, yo eneebanga nnongoofu. 38Naye oba ng'amazzi gafukibwa ku nsigo, ne ku mulambo gwabyo ne kugwa okwo, nga si nnongoofu gye muli.
39 #
Leev 17:15; 22:8, Ma 14:21, Ez 4:14 Era oba ng'ensolo yonna, gye muyinza okulyako, efa; akoma ku mulambo gwayo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 40N'oyo anaalyanga ku mulambo gwayo anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: era n'oyo anaasitulanga omulambo gwayo anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
41Na buli ekyewalula ekyewalula ku nsi kya muzizo; tekiriibwanga. 42Buli ekitambuza olubuto, na buli ekitambuza amagulu ana, oba buli ekirina amagulu amangi, buli ebyewalula ku nsi, ebyo temubiryanga; kubanga bya muzizo. 43#Leev 20:25Temwegwagwawazanga na kyewalula kyonna, so temwefuulanga nabyo abatali balongoofu, mubeere n'empitambi bwe mutyo. 44#Leev 19:2; 20:7,26, 1 Peet 1:16, Leev 4:26; 5:7, Luk 2:24Kubanga nze Mukama Katonda wammwe: kale mwetukuzenga, mubeerenga abatukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu: so temwereeteranga mpitambi olw'engeri yonna ey'ekyewalula ekitambula ku nsi. 45#Kuv 6:7; 20:2Kubanga nze ndi Mukama eyabalinnyisa okuva mu nsi y'e Misiri, okuba Katonda wammwe, kale mmwe munaabanga abatukuvu: kubanga nze ndi mutukuvu.
46Eryo lye tteeka ery'ensolo n'ery'ennyonyi n'erya buli kitonde ekiramu ekitambula mu mazzi, n'erya buli kitonde ekyewalula ku nsi: 47#Leev 10:10; 20:25okwawulamu ebitali birongoofu n'ebirongoofu, n'ekiramu ekiriika n'ekiramu ekitaliika.
Currently Selected:
Eby'Abaleevi 11: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: