Yoswa 22
22
1Awo Yoswa n'ayita Abalewubeeni, n'Abagaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase, 2#Kubal 32:20-22, Ma 3:18-20, Yos 1:16,17n'abagamba nti Mukutte byonna Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira, era muwulidde eddoboozi lyange mu byonna bye nnabalagira: 3temulekanga baganda bammwe ennaku ezo ennyingi okutuuka leero, naye mukutte ekiragiro eky'etteeka lya Mukama Katonda wammwe. 4#Yos 13:8Ne kaakano Mukama Katonda wammwe awummuzizza baganda bammwe, nga bwe yabagamba: kale kaakano mukyuke muyingire mu weema zammwe (mugende) mu nsi ey'obutaka bwammwe, Musa omuweereza wa Mukama gye yabawa emitala wa Yoludaani. 5#Ma 6:5,17; 10:12; 11:1,13,22, Yos 23:11Naye mwekuumenga nnyo okukwatanga ekiragiro n'etteeka, Musa omuweereza wa Mukama lye yabalagira, okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n'okutambuliranga mu makubo ge gonna, n'okukwatanga amateeka ge, n'okwegattanga naye, n'okumuweerezanga n'omutima gwammwe gwonna era n'emmeeme yammwe yonna. 6Awo Yoswa n'abasabira omukisa, n'abasindika: ne bayingira mu weema zaabwe.
7 #
Yos 17:5
Naye ekitundu ekimu eky'ekika kya Manase Musa yakiwa (obusika) mu Basani: naye ekitundu eky'okubiri Yoswa n'akiwa mu baganda baabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba. Era Yoswa bwe yabasindika mu weema zaabwe, n'abasabira omukisa, 8#1 Sam 30:24n'abagamba nti Mukomeewo n'ebintu bingi mu weema zammwe, n'ente nnyingi nnyo, n'effeeza, ne zaabu, n'ebikomo, n'ebyuma, n'engoye nnyingi nnyo; mugabane omunyago ogw'abalabe bammwe ne baganda bammwe.
9 #
Kubal 32:26,29 N'abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase ne baddayo nga bava mu baana ba Isiraeri mu Siiro, ekiri mu nsi ya Kanani, okugenda mu nsi ya Gireyaadi, mu nsi ey'obutaka bwabwe, gye baalya, nga Mukama bwe yalagira mu mukono gwa Musa. 10Bwe baatuuka mu nsi eriraanye Yoludaani, eri mu nsi ya Kanani, abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase ne bazimba awo ekyoto ku Yoludaani, ekyoto ekinene ekitunuulirwa. 11#Ma 13:12-15N'abaana ba Isiraeri ne bawulira nga kyogerwa nti Laba, abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase bazimbye ekyoto ku muyegooyego ogw'ensi ya Kanani, mu nsi eriraanye Yoludaani, ku luuyi olw'abaana ba Isiraeri. 12#Balam 20:1Abaana ba Isiraeri bwe baakiwulira, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne bakuŋŋaanira mu Siiro, okulinnya okulwana nabo.
13 #
Kuv 6:25, Kubal 25:7, Balam 20:28 Abaana ba Isiraeri ne batuma Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona eri abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase, mu nsi ye Gireyaadi; 14era awamu naye abakulu kkumi, buli kika kya Isiraeri omukulu omu ow'ennyumba ya bakitaabwe; buli omu yali mutwe gw'ennyumba za bakitaabwe mu nkumi za Isiraeri. 15Ne bajja eri abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase, mu nsi ya Gireyaadi, ne babagamba 16#Leev 17:8,9, Ma 12:13,14nti Ekibiina kya Mukama kyonna bwe kyogera bwe kiti nti Kyonoono ki kino kye mwayonoona eri Katonda wa Isiraeri, okukyama leero obutagoberera Mukama kubanga mwezimbira ekyoto, okujeemera Mukama leero? 17#Kubal 25:3, Ma 4:3, Zab 106:28, Kos 9:10Obubi bwa Peoli tebwatumala, bwe tutanneerongoosa okutuusa leero, newakubadde nga kawumpuli yajja ku kibiina kya Mukama, 18#Kubal 14:9; 16:22mmwe okuwalirizibwa okukyama leero obutagoberera Mukama? era kubanga mujeemera Mukama leero, enkya n'alyoka asunguwalira ekibiina kyonna ekya Isiraeri. 19#Yos 18:1Naye era ensi ey'obutaka bwammwe oba nga si nnongoofu, kale musomoke muyingire mu nsi ey'obutaka bwa Mukama omuli eweema ya Mukama, mulye mu ffe: naye temujeemeranga Mukama, naffe temutujeemeranga nga muzimba ekyoto wabula ekyoto kya Mukama Katonda waffe. 20#Ma 10:17, Zab 44:20,21Akani omwana wa Zeera teyayonoona kyonoono mu kyaterekebwa, obusungu ne bugwa ku kibiina kyonna ekya Isiraeri? omuntu oli n'atazikirira yekka mu bubi bwe.
21Awo abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase ne baddamu ne bagamba emitwe gy'enkumi za Isiraeri 22nti Mukama, Katonda wa bakatonda, Mukama, Katonda wa bakatonda, ye amanyi, era naye Isiraeri alimanya; singa mu kujeema oba mu kwonoona eri Mukama, (totulokola ffe leero,) 23mwe twazimbira ekyoto okukyama obutagoberera Mukama; oba singa (twakizimba) okukiweerako ekiweebwayo ekyokebwa oba ekiweebwayo eky'obutta oba okukiweerako ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe Mukama yennyini akivunaane; 24#Yos 4:6,21era singa tetwakola bwe tutyo olw'okwegendereza, nga tulowooza, nga twogera nti Mu biro ebigenda okujja abaana bammwe baliyinza okugamba abaana baffe nti Mmwe mulina ki ne Mukama, Katonda wa Isiraeri? 25kubanga Mukama yafuula Yoludaani ensalo wakati mu ffe nammwe, mmwe abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi; temulina mugabo mu Mukama: bwe batyo abaana bammwe bandiresezza abaana baffe okutya Mukama. 26Kyetwava twogera nti Kale tweteeketeeke okwezimbira ekyoto, si lwa byokye, so si lwa ssaddaaka: 27#Lub 31:48, Ma 12:5,6,17,18, Yos 24:27naye kiribeera mujulirwa wakati mu ffe nammwe, ne mu mirembe gyaffe egirituddirira, tulyoke tuweereze Mukama mu maaso ge n'ebyokye byaffe ne ssaddaaka zaffe n'ebyaffe ebiweebwayo olw'emirembe; abaana bammwe baleme okugamba abaana baffe mu biro ebigenda okujja nti Temulina mugabo mu Mukama. 28Kyetwava twogera nti Bwe balitugamba bwe batyo ffe oba emirembe gyaffe mu biro ebigenda okujja, ne tulyoka twogera nti Laba ekifaananyi eky'ekyoto kya Mukama, bajjajjaffe kye baakola, si lwa byokye, so si lwa ssaddaaka; naye ye mujulirwa wakati mu ffe nammwe. 29#Yos 22:16Kikafuuwe ffe okujeemera Mukama, n'okukyama leero obutagoberera Mukama, okuzimba ekyoto olw'ebiweebwayo ebyokebwa, (oba) ebiweebwayo eby'obutta, oba olwa ssaddaaka, wabula ekyoto kya Mukama Katonda waffe ekiri mu maaso g'eweema ye.
30Awo Finekaasi kabona n'abakulu b'ekibiina, gye mitwe gy'nkumi za Isiraeri abaali awamu naye, bwe baawulira ebigambo abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'abaana ba Manase bye boogera, ne basanyuka nnyo. 31#Leev 26:11,12Ne Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona n'agamba abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'abaana ba Manase nti Leero tumanyi nga Mukama ali wakati mu ffe kubanga temwayonoona kyonoono ekyo eri Mukama: kaakano mubawonyezza abaana ba Isiraeri mu mukono gwa Mukama. 32Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona, n'abakulu, ne bakomawo okuva eri abaana ba Lewubeen n'abaana ba Gaadi, mu nsi ya Gireyaadi, ne bajja mu nsi ya Kanani, eri abaana ba Isiraeri, ne babaddiza ebigambo. 33#Luk 1:68; 2:28Ebigambo ne bisanyusa abaana ba Isiraeri; abaana ba Isiraeri ne batendereza Katonda, ne batayogera nate bigambo bya kulinnya okubalwanyisa, okuzikiriza ensi abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi mwe baali. 34#Lub 31:48,52, Yos 22:27Abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi ne bayita ekyoto Edi: nti Ye mujulirwa wakati mu ffe nga Mukama ye Katonda.
Currently Selected:
Yoswa 22: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: