Ekyabalamuzi 7:4
Ekyabalamuzi 7:4 LUG68
Mukama n'agamba Gidyoni nti Abantu bakyayinze obungi; baserengese ku mazzi, nange naabakukemerera eyo: awo olunaatuuka eyo gwe nnaakugamba nti Ono anaagenda naawe, ye anaagenda naawe; era buli gwe nnaakugamba nti Ono taagende naawe, ye ataagende naawe.





