YouVersion Logo
Search Icon

Ekyabalamuzi 3

3
1 # Balam 2:21,22 Gano ge mawanga Mukama ge yaleka okukema Isiraeri olw'abo, bonna ku bo abataamanya ntalo zonna eza Kanani; 2kyokka emirembe gy'abaana ba Isiraeri bamanye, okubayigiriza okulwana, bo abaali tebamanyiiko n'akatono olubereberye; 3#Yos 13:2-6abakungu abataano ab'Abafirisuuti, n'Abakanani bonna, n'Abasidoni, n'Abakiivi abaatuulanga ku lusozi Lebanooni, okuva ku lusozi Baalukerumoni okutuusa awayingirirwa mu Kamasi. 4Era baali ba kukema Isiraeri, okumanya oba nga bagenda okuwulira ebiragiro bya Mukama, bye yalagira bajjajjaabwe ku bwa Musa. 5#Lub 15:20,21, Kuv 3:8; 13:5, Ezer 9:1, Kuv 34:16, Ma 7:3, Ezer 9:12Abaana ba Isiraeri ne batuula mu Bakanani; Omukiiti, n'Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi: 6ne bawasa abawala baabwe okuba abakazi baabwe, ne bawa abawala baabwe bo eri batabani baabwe, ne baweereza bakatonda baabwe.
7 # Kuv 34:13, Ma 16:21 Abaana ba Isiraeri ne bakola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi, ne beerabira Mukama Katonda waabwe, ne baweerezanga Babaali ne Baasera. 8#Balam 2:14Obusungu bwa Mukama kyebwava bubuubuuka ku Isiraeri, n'abatunda mu mukono gwa Kusanurisasaimu kabaka w'e Mesopotamiya: abaana ba Isiraeri ne baweerereza Kusanurisasaimu emyaka munaana. 9#Balam 1:13; 2:16; 3:15; 4:3; 6:7; 10:10, 1 Sam 12:10, Nek 9:27Awo abaana ba Isiraeri bwe bakaabira Mukama, Mukama n'abayimusiza omulokozi abaana ba Isiraeri, eyabalokola, ye Osunieri mutabani wa Kenazi, ye mwanawaabo owa Kalebu. 10#Balam 6:34; 11:29; 13:25; 14:6,19; 15:6,19; 15:14, 1 Sam 11:6Omwoyo gwa Mukama ne gumujjira, n'alamula Isiraeri; n'agenda okutabaala, Mukama n'agabula Kusanurisasaimu kabaka w'e Mesopotamiya mu mukono gwe: omukono gwe ne guwangula Kusanurisasaimu. 11#Balam 3:30; 5:31; 8:28Ensi n'ewummulira emyaka ana. Osunieri mutabani wa Kenazi n'afa.
12 # Balam 2:19 Awo abaana ba Isiraeri ne beeyongera nate okukola ekyali mu maaso ga Mukama ekibi: Mukama n'awa Eguloni kabaka wa Moabu amaanyi okulwana ne Isiraeri, kubanga baali bakoze ekyali mu maaso ga Mukama ekibi. 13#Balam 1:16; 6:33, Zab 83:7Ne yeekuŋŋaanyiza abaana ba Amoni ne Amaleki; n'agenda n'akuba Isiraeri, ne balya ekibuga eky'enkindu. 14Abaana ba Isiraeri ne baweerereza Eguloni kabaka wa Mowaabu emyaka kkumi na munaana. 15#Balam 3:9; 20:16, 1 Byom 12:2Naye abaana ba Isiraeri bwe baakaabira Mukama, Mukama n'abayimusiza omulokozi, Ekudi mutabani wa Gera, Omubenyamini, eyali owa kkono: abaana ba Isiraeri ne bamukwasa ekirabo akitwalire Eguloni kabaka wa Mowaabu. 16Ekudi ne yeeweeseza ekitala eky'obwogi obubiri, obuwanvu bwakyo omukono gumu; n'akyesiba ku kisambi kye ekya ddyo munda mu ngoye ze. 17N'awa Eguloni kabaka wa Mowaabu ekirabo: Eguloni yali musajja munene nnyo. 18Awo bwe yamala okuwa ekirabo, n'asindika abantu abaali beetisse ekirabo. 19#Balam 3:26Naye ye kennyini n'addayo ng'akoma ku mayinja agaali okumpi n'e Girugaali, n'ayogera nti Ntumiddwa ebigambo eby'ekyama eri ggwe, kabaka. N'ayogera nti Musirike. Bonna abaali bayimiridde naye ne bafuluma ne bamuleka. 20Ekudi n'ajja gy'ali; yali atudde omu yekka mu nju ye eya waggulu ey'okuwolawolerangamu. Ekudi n'ayogera nti Nnina ebigambo ebiva eri Katonda gy'oli. N'ayimuka ku ntebe ye. 21Ekudi n'agolola omukono gwe ogwa kkono, n'aggya ekitala ku kisambi ekya ddyo, n'amufumita olubuto: 22n'ekiti nakyo ne kibuliramu; amasavu ne gazibikira ekitala we kiyingiridde, kubanga teyasowola kitala mu lubuto lwe, ne kiviiramu nnyuma. 23Awo Ekudi n'afuluma n'agenda mu kisasi, n'amuggalirawo enzigi z'enju eya waggulu, n'azisiba. 24#1 Sam 24:3Awo bwe yamala okufuluma, abaddu be ne bajja; ne balaba, era, laba, enzigi z'enju eya waggulu nga zisibiddwa; ne boogera nti Aliŋŋanga abisse ku bigere bye mu nju ye ey'okuwolawolerangamu. 25Ne balindirira okutuusa ensonyi lwe zaabakwata: era, laba, nga taggulawo nzigi za nju eya waggulu; awo ne baddira ekisumuluzo, ne baziggulawo: era, laba, mukama waabwe ng'agudde wansi afudde. 26Ekudi n'awona nga bakyalindirira, n'ayita ku mayinja n'awona n'atuuka e Seyiri. 27Awo olwatuuka, bwe yatuuka, n'afuuwa ekkondeere mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi, abaana ba Isiraeri ne baserengetera wamu naye okuva mu nsi ey'ensozi, naye ng'abakulembera. 28#Yos 2:7, Balam 7:24; 12:5, 1 Byom 16:8N'abagamba nti Mungoberere: kubanga Mukama agabudde abalabe bammwe Abamowaabu mu mukono gwammwe. Ne bamugoberera ne baserengeta, ne beekwata emisomoko gya Yoludaani nga balwana n'Abamowaabu, ne bataganya muntu kusomoka. 29Ne batta ku Mowaabu mu biro ebyo abasajja nga kakumi, buli muntu ow'amaanyi, na buli muntu muzira; so tekwawonako muntu. 30#Balam 3:11 Awo Mowaabu n'ajeemulwa ku lunaku olwo n'omukono gwa Isiraeri. Ensi n'ewummulira emyaka kinaana. 31#Balam 2:16; 5:6, 1 Sam 13:19-22Samugali mutabani wa Anasi n'addirira oyo, n'atta ku Bafirisuuti abasajja lukaaga n'omuwunda ogusoya ente: era naye n'alokola Isiraeri.

Currently Selected:

Ekyabalamuzi 3: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in