Ekyabalamuzi 12:5-6
Ekyabalamuzi 12:5-6 LUG68
Ab'e Gireyaadi ne beekwata emisomoko gya Yoludaani okuteega Abaefulayimu: awo olwatuuka (omuntu yenna) ku badduse ba Efulayimu bwe yayogera nti Nsomoke, ab'e Gireyaadi ne bamugamba nti Oli Mwefulayimu? Bwe yayogera nti Nedda; ne balyoka bamugamba nti Kale nno yogera Shibbolesi; n'ayogera nti Sibbolesi; kubanga teyayinza kukiruŋŋamya kukituusa bulungi; ne balyoka bamukwata, ne bamuttira ku misomoko gya Yoludaani; ne bafa ku Efulayimu mu biro ebyo obukumi buna mu enkumi bbiri.




