Bible App logo
Search Icon

Abaggalatiya 2

2
1 # Bik 15:2 Awo oluvannyuma, emyaka bwe gyayitawo kkumi n'ena, nalinnya e Yerusaalemi wamu ne Balunabba ne ntwala ne Tito. 2#Bag 2:6,9Nalinnyayo lwa kubikkulirwa; ne mbanjulira enjiri, gye mbuulira mu b'amawanga, naye mu kyama eri abo abaatenderezebwa, mpozzi nneme okugenderanga obwereere oba nga ŋŋenze. 3#Bik 16:3Naye newakubadde Tito eyali awamu nange, eyali Omuyonaani, teyawalirizibwa kukomolebwa: 4#Bik 15:1,24naye olw'ab'oluganda ab'obulimba abaayingizibwa mu kyama, abaayingira mu kyama okuketta eddembe lyaffe lye tulina mu Kristo Yesu, okututeeka mu buddu: 5#Bag 3:1abo tetwabagonderako ssaawa n'emu okufugibwa bo; amazima g'enjiri ganywerenga gye muli. 6Naye abaatenderezebwa okuba abakulu (nga bwe bali kye kimu gye ndi; Katonda tasosola mu bantu) abaatenderezebwa nze tebannyongerako kintu: 7#Bik 9:15; 15:12; 22:21naye mu ngeri endala, bwe baalaba nga nnateresebwa enjiri y'abo abatali bakomole, nga Peetero ey'abakomole 8(kubanga eyakolera Peetero olw'obutume bw'abakomole ye yakolera nange olw'ab'amawanga); 9#Yok 1:42era bwe baategeera ekisa kye nnaweebwa, Yakobo ne Keefa ne Yokaana, abaatenderezebwa okuba empagi, ne batuwa omukono ogwa ddyo ogw'okussa ekimu nze ne Balunabba, ffe tugende eri ab'amawanga, bo bagende eri abakomole; 10#Bik 11:30; 12:25kyokka, tujjukirenga abaavu; ekyo n'okunyiikira kye nnanyiikirira ennyo okukikolanga.
11Naye Keefa bwe yajja e Antiyokiya, nnamuwakanya nga tulabagana amaaso n'amaaso, kubanga yali mukyamu ddala. 12#Bik 11:3Kubanga olubereberye abantu nga tebannaba kujja kuva wa Yakobo, yalyanga n'ab'amawanga: naye bwe bajja, ne yeeyawula n'abaawukanako, ng'atya abakomole. 13Era n'Abayudaaya abalala bonna ne bakuusakuusa wamu naye; ne Balunabba n'okuwalulwa n'awalulwa obukuusa bwabwe. 14Naye bwe nnalaba nga tebaakwata kkubo ggolokofu mu mazima g'enjiri, ne ŋŋambira Keefa mu maaso gaabwe bonna nti Oba nga ggwe bw'oli Omuyudaaya ogoberera empisa z'ab'amawanga ezitali za Kiyudaaya, owaliriza otya ab'amawanga okugobereranga empisa z'Ekiyudaaya? 15Ffe Abayudaaya ab'obuzaaliranwa abatali ba mu b'amawanga abalina ebibi, 16#Bik 15:10,11, Bef 2:8, Bar 3:20,28; 4:5; 11:6, Zab 143:2naye bwe tumanyi ng'omuntu taweebwa butuukirivu lwa bikolwa bya mateeka wabula olw'okukkiriza Yesu Kristo, era naffe twakkiriza Kristo Yesu, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw'okukkiriza Kristo, naye si lwa bikolwa bya mateeka: kubanga olw'ebikolwa eby'amateeka tewali alina omubiri aliweebwa obutuukirivu. 17Naye bwe twayagala okuweebwa obutuukirivu mu Kristo, oba nga twalabibwa naffe okuba n'ebibi, kale Kristo muweereza wa kibi? Kitalo. 18Kubanga bwe nzimba nate bye nnasuula, nneeraga nzekka okuba omwonoonyi. 19#Bar 7:6Kubanga olw'amateeka nnafa ku mateeka, ndyoke mbe omulamu eri Katonda. 20#Yok 13:1; 17:23, 1 Yok 3:16, Bag 1:4Nnakomererwa wamu ne Kristo; naye ndi mulamu; si ku bwange nate, naye Kristo ye mulamu mu nze: era obulamu bwe nnina kaakano mu mubiri, mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda eyanjagala ne yeewaayo ku lwange. 21Ssidibya kisa kya Katonda: kubanga obutuukirivu bwe buba mu mateeka, nga Kristo yafiira bwereere.

Currently Selected:

Abaggalatiya 2: LUG68

Highlight

Copy

Compare

Share

None

Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in