Bible App logo
Search Icon

Abaggalatiya 2:15-16

Abaggalatiya 2:15-16 LUG68

Ffe Abayudaaya ab'obuzaaliranwa abatali ba mu b'amawanga abalina ebibi, naye bwe tumanyi ng'omuntu taweebwa butuukirivu lwa bikolwa bya mateeka wabula olw'okukkiriza Yesu Kristo, era naffe twakkiriza Kristo Yesu, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw'okukkiriza Kristo, naye si lwa bikolwa bya mateeka: kubanga olw'ebikolwa eby'amateeka tewali alina omubiri aliweebwa obutuukirivu.