Okuva 2
2
1 #
Kuv 6:20, Kubal 26:59 Omuntu ow'omu nnyumba ya Levi n'agenda n'awasa muwala wa Levi. 2#Bik 7:20, Beb 11:23Omukazi n'aba olubuto n'azaala omwana wa bulenzi: naye bwe yamulaba nga mulungi, n'amukwekera emyezi esatu. 3Awo bw'ataayinza kwongera kumukweka, n'amutwalira ekibaya eky'entoogo, n'akisiiga ebitosi n'envumbo; omwana n'amuteeka munda, n'akiteeka mu kitoogo ku lubalama lw'omugga. 4#Kuv 15:20, Kubal 26:59Mwannyina n'ayimirira wala amanye ekinaamubeerako. 5Muwala wa Falaawo n'aserengeta okunaaba ku mugga; abazaana be ne batambula ku lubalama lw'omugga; n'alaba ekibaya mu kitoogo, n'atuma omuzaana we okukireeta. 6N'akisumulula, n'alaba omwana: laba, omwana n'akaaba. N'amusaasira, n'ayogera nti Ono ye munne w'abaana ba Baebbulaniya. 7Awo mwannyina n'amugamba omuwala wa Falaawo nti ŋŋende nkuyitire omulezi mu bakazi Abaebbulaniya akuyonseze omwana? 8Muwala wa Falaawo n'amugamba nti Kale. Omuwala n'agenda n'amutita nnyina w'omwana. 9Muwala wa Falaawo n'amugamba nti Twala omwana ono omunnyonseze, nange ndikuwa empeera yo. Omukazi n'atwala omwana, n'amuyonsa. 10#Bik 7:21Omwana n'akula, n'amuleetera muwala wa Falaawo, n'afuuka omwana we. N'amutuuma erinnya lye Musa, n'ayogera nti Kubanga namuggya mu mazzi.
11 #
Bik 7:23, Beb 11:24 Awo olwatuuka mu nnaku ziri, ng'amaze okukula Musa, n'abajjira baganda be n'alaba emigugu gyabwe: n'alaba omuntu Omumisiri ng'akuba omuntu Omwebbulaniya, ow'omu baganda be. 12#Bik 7:24N'amagamaga eruuyi n'eruuyi n'alaba nga tewali muntu, n'alyoka amukuba Omumisiri, n'amukweka mu musenyu. 13Awo ku lunaku olw'okubiri n'avaayo, laba, abasajja babiri ab'omu Baebbulaniya ne balwana: n'amugamba oli eyakola obubi nti Kiki ekikubizza munno. 14N'ayogera nti Ani eyakuwa obukulu n'okutulamula ffe? Oyagala kunzita nze nga bwe watta Omumisiri? Musa n'atya n'ayogera nti Mazima ekigambo kino kimanyise. 15#Lub 24:11, Bik 7:29Awo Falaawo bwe yawulira ekigambo ekyo, n'ayagala okumutta Musa. Naye Musa n'adduka mu maaso ga Falaawo, n'atuula mu nsi ya Midiyaani: n'atuula wansi okumpi n'oluzzi. 16#Lub 29:2, Kuv 3:1, 1 Sam 9:11Ne kabona ow'e Midiyaani yalina abawala musanvu: ne bajja ne basena ammazi, ne bajjuza ebyesero ne bazinywesa endiga za kitaabwe. 17#Lub 29:10Abasumba ne bajja ne babagoba: naye Musa n'agolokoka n'abayamba, n'anywesa ekisibo kyabwe. 18#Kubal 10:29Bwe bajja eri Leweri kitaabwe, n'ayogera nti Nga muzze mangu leero? 19Ne boogera nti Omuntu Omumisiri yatuwonyezza mu mikono gy'abasumba, nate n'atusenera amazzi, n'anywesa ekisibo. 20#Lub 31:54N'abagamba bawala be nti Ali luuyi wa? Kiki ekibalesezza omuntu oyo? Mumuyite alye emmere. 21Musa n'akkiriza okutuula n'omuntu oyo: n'amuwa Musa muwala we Zipola. 22#Kub 18:3, Bik 7:29N'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Gerusomu: kubanga yagamba nti Nali mugenyi mu nsi etali yange.
23 #
Kuv 3:9; 7:7, Ma 26:7 Awo ennaku ziri bwe zaatitawo ennyingi, kabaka w'e Misiri n'afa: abaana ba Isiraeri ne basinda ku lw'obuddu bwabwe, ne bakaaba, n'okukaaba kwabwe ne kulinnya eri Katonda ku lw'obuddu bwabwe. 24#Lub 28:13, Kuv 6:5, Zab 105:42Katonda n'awulira okusinda kwabwe, Katonda n'ajjukira endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo. 25#Kuv 3:7; 4:31Katonda n'alaba abaana ba Isiraeri, Katonda n'abalowooza.
Currently Selected:
Okuva 2: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: