YouVersion Logo
Search Icon

Okuva 10:21-23

Okuva 10:21-23 LUG68

Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo eri eggulu, ekizikiza kibeere ku nsi ey'e Misiri, ekizikiza ekiwulikika. Musa n'agolola omukono gwe eri eggulu; ekizikiza ekikutte ne kiba mu nsi yonna ey'e Misiri ennaku ssatu; tebaalabagana, newakubadde omuntu yenna teyagolokoka mu kifo kye ennaku ssatu: naye abaana ba Isiraeri bonna baalina omusana mu nju zaabwe.