Okuva 10:13-14
Okuva 10:13-14 LUG68
Musa n'agolola omuggo gwe ku nsi ey'e Misiri, Mukama n'aleeta embuyaga ku nsi ezaava ebuvanjuba ku lunaku luli obudde okuziba n'okukya; bwe bwakya enkya, embuyaga ezaava ebuvanjuba ne zireeta enzige. Enzige ne zirinnya ku nsi yonna ey'e Misiri, ne zigwa mu nsalo zonna ez'e Misiri: zaali nzibu nnyo; edda n'edda tewabanga nzige nga ezo, newakubadde ennyuma waazo tewalibeera nga ezo.





