Okuva 10:1-2
Okuva 10:1-2 LUG68
Mukama n'agamba Musa nti Yingira eri Falaawo; kubanga nkakanyazizza omutima gwe n'omutima gw'abaddu be, ndyoke ndage obubonero bwange buno wakati waabwe: era olyoke obuulire mu matu g'omwana wo ne mu g'omwana w'omwana wo, bye nkoze ku Misiri, n'obubonero bwange bwe nkoze wakati waabwe; mulyoke mumanye nga nze Mukama.




