Bible App logo
Search Icon

Abaefeso 5:18-20

Abaefeso 5:18-20 LUG68

So temutamiiranga mwenge, kubanga mu gwo mulimu okwegayaggula, naye mujjulenga Omwoyo; nga mwogeragananga mu zabbuli n'ennyimba n'ebiyiiye eby'Omwoyo, nga muyimbanga, nga mumukubiranga ennanga mu mutima gwammwe Mukama waffe; nga mwebazanga ennaku zonna olwa byonna Katonda Kitaffe mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo;