Abaefeso 4:14-15
Abaefeso 4:14-15 LUG68
tulemenga okubeera nate abaana abato, nga tuyuugana nga tutwalibwanga buli mpewo ey'okuyigiriza, mu bukuusa bw'abantu, mu nkwe, olw'okugoberera okuteesa okw'obulimba; naye, bwe twogeranga amazima mu kwagalana, tulyoke tukule okutuuka mu ye mu byonna, gwe mutwe, Kristo;





