2 Samwiri 24
24
1 #
1 Sam 26:19, Yak 1:13 Awo obusungu ne bumukwata nate Mukama eri Isiraeri, n'abaweerera Dawudi ng'ayogera nti Genda obale Isiraeri ne Yuda. 2#2 Sam 3:10Awo kabaka n'agamba Yowaabu omukulu w'eggye eyali naye nti Genda nno oyiteeyite mu bika bya Isiraeri byonna, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba, mubale abantu ntegeere omuwendo gw'abantu. 3#Ma 1:11Yowaabu n'agamba kabaka nti Mukama Katonda wo ayongere nno ku bantu, bwe benkana obungi, emirundi kikumi, n'amaaso ga mukama wange kabaka gakirabe: naye mukama wange kabaka lwaki okusanyukira ekigambo ekyo? 4#1 Byom 27:24Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga Yowaabu n'abakulu b'eggye. Yowaabu n'abakulu b'eggye ne bava mu maaso ga kabaka okubala abantu ba Isiraeri. 5#Kubal 32:1, Yos 13:9Ne basomoka Yoludaani ne basiisira mu Aloweri, ku luuyi olwa ddyo olw'ekibuga ekiri mu kiwonvu kya Gaadi n'okutuuka e Yezeri: 6ne balyoka batuuka e Gireyaadi ne mu nsi ey'e Tatimu-kodusi; ne batuuka e Dani-yaani ne beetooloola okutuuka e Sidoni, 7#Yos 19:29, Balam 3:3ne batuuka ku kigo eky'e Ttuulo, ne mu bibuga byonna eby'Abakiivi n'eby'Abakanani: ne bamalira ku bukiika obwa ddyo obwa Yuda e Beeruseba. 8Awo bwe baamala okuyitaayita mu nsi yonna, ne bajja e Yerusaalemi emyezi mwenda ko ennaku abiri nga giyiseewo. 9Yowaabu n'awa kabaka omuwendo gw'abantu gwe babaze: era waaliwo mu Isiraeri abasajja abazira obusiriivu munaana abaasowolanga ebitala; n'abasajja ba Yuda baali abasajja obusiriivu butaano.
10 #
1 Sam 24:5, 2 Sam 12:13 Awo omwoyo ne guluma Dawudi bwe yamala okubala abantu. Dawudi n'agamba Mukama nti Nnyonoonye nnyo olw'ekyo kye nkoze: naye kaakano, ai Mukama, nkwegayiridde, ggyawo obutali butuukirivu bw'omuddu wo; kubanga nkoze eby'obusirusiru bungi nnyo. 11#1 Sam 9:9; 22:5Awo Dawudi bwe yagolokoka enkya, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Gaadi, omulabi wa Dawudi, ng'ayogera nti 12Genda ogambe Dawudi nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkuteekeddewo bino bisatu; weerobozeeko ekimu nkukikole. 13#Lub 41:27, 2 Sam 21:1, 2 Bassek 8:1Awo Gaadi n'ajja eri Dawudi n'amubuulira n'amugamba nti Emyaka egy'enjala musanvu girikujjira mu nsi yo? oba oliddukira emyezi esatu mu maaso g'abalabe bo, bo nga bakuyigganya? oba walibaawo ennaku ssatu eza kawumpuli mu nsi yo? teesa nno olowooze bwe mba mmuddamu oyo antumye.
14 #
Zab 103:8, Kung 3:22,23 Awo Dawudi n'agamba Gaadi nti Nsobeddwa nnyo: tugwe nno mu mukono gwa Mukama; kubanga okusaasira kwe kungi: ne ssigwa mu mukono gwa bantu. 15#2 Sam 24:2, 1 Byom 27:24Awo Mukama n'aleeta kawumpuli ku Isiraeri okuva enkya okutuuka mu biro ebyateekebwawo: awo ku bantu ne kufaako abasajja obukumi musanvu okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba. 16#Kuv 12:23, 2 Bassek 19:35, 2 Byom 3:1, Yo 2:13, Yon 3:10Awo malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa ekibi, n'agamba malayika eyazikiriza abantu nti Kinaamala; zzaayo kaakano omukono gwo. Era malayika wa Mukama yali ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi. 17#Zab 74:1Awo Dawudi n'agamba Mukama bwe yalaba malayika eyalwaza abantu n'ayogera nti Laba, nze nnyonoonye, era nze nkoze eby'obubambaavu: naye endiga zino, bakoze ki bo? nkwegayiridde, omukono gwo gulwane nange n'ennyumba ya kitange.
18 #
2 Byom 3:1
Awo Gaadi n'ajja eri Dawudi ku lunaku olwo n'amugamba nti Yambuka ozimbire Mukama ekyoto mu gguuliro lya Alawuna Omuyebusi. 19Awo Dawudi n'ayambuka nga Gaadi bwe yayogera nga Mukama bwe yalagira. 20Awo Alawuna n'atunula n'alaba kabaka n'abaddu be nga bajja nga bamusemberera: Alawuna n'afuluma n'avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka. 21#Kubal 16:48,50Awo Alawuna n'ayogera nti Mukama wange kabaka ajjiridde ki eri omuddu we? Dawudi n'ayogera nti Okugulaana naawe egguuliro, okuzimbira Mukama ekyoto, kawumpuli aziyizibwe mu bantu. 22#1 Bassek 19:21Alawuna n'agamba Dawudi nti Mukama wange kabaka atwale aweeyo by'anaasiima byonna: laba, ente ez'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ebintu ebiwuula n'amatandiiko g'ente okuba enku: 23#Lub 23:11, Zab 20:3bino byonna, ai kabaka, Alawuna abiwa kabaka. Alawuna n'agamba kabaka nti Mukama Katonda wo akukkirize. 24Kabaka n'agamba Alawuna nti Nedda; naye n'aligulaana naawe n'ebintu; so siiweeyo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wange ebitanzitidde byange. Awo Dawudi n'agula egguuliro n'ente ne sekeri eza ffeeza ataano. 25#Kubal 16:48,50, 2 Sam 21:14Awo Dawudi n'azimbira eyo ekyoto eri Mukama, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe. Awo Mukama ne yeegayiririrwa ensi, kawumpuli n'aziyizibwa mu Isiraeri.
Currently Selected:
2 Samwiri 24: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: