2 Samwiri 19
19
1Awo ne babuulira Yowaabu nti Laba, kabaka akaaba amaziga akungubagira Abusaalomu. 2Awo ku lunaku olwo okuwangula ne kufuuka okukungubaga eri abantu bonna: kubanga abantu ne bawulira nga boogera ku lunaku olwo nti Kabaka anakuwalira mutabani we. 3Abantu ne badda mu kibuga ku lunaku olwo nga basooba, ng'abantu abakwatiddwa ensonyi bwe basooba nga badduse mu lutalo. 4Kabaka n'abikka ku maaso ge, kabaka n'akaaba n'eddoboozi ddene nti mwana wange Abusaalomu, ai Abusaalomu, mwana wange, mwana wange! 5Awo Yowaabu n'ayingira mu nnyumba eri kabaka, n'ayogera nti Oswazizza leero amaaso g'abaddu bo bonna, abaawonyezza leero obulamu bwo n'obulamu bwa batabani bo ne bawala bo n'obulamu bwa bakazi bo n'obulamu bw'abazaana bo; 6kubanga oyagala abakukyawa n'okyawa abakwagala. Kubanga oyatudde leero ng'abakulu n'abaddu si kintu gy'oli: kubanga leero ntegedde, singa Abusaalomu abadde mulamu naffe fenna nga tufudde leero, kale wandikisiimye nnyo. 7Kale nno golokoka ofulume oyogere n'abaddu bo bulungi: kubanga ndayira Mukama, bw'otoofulume, tewaabeere naawe ekiro kino omusajja n'omu: n'ekyo kirisinga obubi ennaku zonna ze waakalaba okuva mu buto bwo ne kaakano. 8#2 Sam 18:24,33Awo kabaka n'agolokoka n'atuula mu mulyango. Ne babuulira abantu bonna nti Laba, kabaka atudde mu mulyango: abantu bonna ne bakiikira kabaka.
Awo Isiraeri yali addukidde buli muntu mu weema ye. 9#2 Sam 5:20; 8:1-14Abantu bonna ne baba nga bawakana mu bika bya Isiraeri byonna nga boogera nti Kabaka ye yatuwonya mu mukono gw'abalabe baffe, n'atulokola mu mukono gw'Abafirisuuti; kale kaakano adduse Abusaalomu okuva mu nsi. 10Ne Abusaalomu gwe twafukako amafuta okutufuga afiiridde mu lutalo. Kale nno kiki ekibalobera okwogera ekigambo eky'okukomyawo kabaka?
11 #
2 Sam 15:29
Awo kabaka Dawudi n'atumira Zadooki ne Abiyasaali bakabona ng'ayogera nti Mugambe abakadde ba Yuda nti Kiki ekibalwisa mmwe okukira bonna okukomyawo kabaka mu nnyumba ye? kubanga ebigambo bya Isiraeri yenna bituuse eri kabaka, okumuleeta mu nnyumba ye. 12#2 Sam 5:1Mmwe muli baganda bange, mmwe muli magumba gange n'omubiri gwange: kale kiki ekibalwisa okukira bonna okukomyawo kabaka? 13#2 Sam 8:16; 17:25Era mugambe Amasa nti Toli magumba gange na mubiri gwange? Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, oba nga toliba mukulu wa ggye mu maaso gange ennaku zonna mu kifo kya Yowaabu. 14N'akutamya emitima gy'abasajja bonna aba Yuda ng'omutima gw'omuntu omu; n'okutuma ne batumira kabaka nga boogera nti Komawo ggwe n'abaddu bo bonna. 15Awo kabaka n'akomawo n'ajja ku Yoludaani. Abayuda ne bajja e Girugaali okugenda okusisinkana ne kabaka, okusomosa kabaka Yoludaani.
16 #
2 Sam 16:5, 1 Bassek 2:8 Awo Simeeyi mutabani wa Gera, Omubenyamini ow'e Bakulimu n'ayanguwa n'aserengeta wamu n'abasajja ba Yuda okusisinkana ne kabaka Dawudi. 17#2 Sam 16:1-4; 19:29Era ne waba naye abasajja lukumi aba Benyamini, ne Ziba omuddu w'ennyumba ya Sawulo ne batabani be kkumi na bataano n'abaddu be amakumi abiri nga bali naye; ne basomoka Yoludaani kabaka nga waali. 18Eryato ne liwunguka okuwungula ab'omu nnyumba ya kabaka n'okukola nga bw'anaasiima. Simeeyi mutabani wa Gera n'avuunamira kabaka ng'asomose Yoludaani. 19#2 Sam 16:5-13N'agamba kabaka nti Mukama wange aleme okunzisaako obutali butuukirivu, so tojjukira ekyo omuddu wo kye yakola ng'agira ekyejo ku lunaku mukama wange kabaka lwe yava mu Yerusaalemi, kirumye omwoyo kabaka. 20Kubanga omuddu wo amanyi nga nayonoona: laba, kyenvudde njija leero nga nze nsoose ennyumba yonna eya Yusufu okuserengeta okusisinkana ne mukama wange kabaka. 21#2 Sam 16:9, Bik 23:5Naye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'addamu n'ayogera nti Simeeyi tattibwe olwa kino kubanga yakolimira oyo Mukama gwe yafukako amafuta? 22#1 Sam 11:13, 2 Sam 16:10Dawudi n'ayogera nti Nfaayo ki eri mmwe, mmwe batabani ba Zeruyiya, mmwe okubeera leero abalabe bange? wanaabaawo anattibwa leero mu Isiraeri? kuba simanyi nga ndi kabaka wa Isiraeri leero? 23#1 Bassek 2:8,9,37,46Kabaka n'agamba Simeeyi nti Toofe. Kabaka n'amulayirira.
24 #
2 Sam 9:6
Awo Mefibosesi mutabani wa Sawulo n'aserengeta okusisinkana ne kabaka; era yali tanaabanga bigere newakubadde okumwa ebirevu newakubadde okwoza engoye ze okuva ku lunaku kabaka lwe yagenderako okutuusa ku lunaku lwe yakomawo emirembe. 25Awo olwatuuka bwe yatuuka e Yerusaalemi okusisinkana ne kabaka, kabaka n'amugamba nti Kiki ekyakulobera okugenda nange, Mefibosesi? 26#2 Sam 9:3N'ayogera nti Mukama wange, ai kabaka, omuddu wange yannimba: kubanga omuddu wo yayogera nti Naateeka amatandiiko ku ndogoyi ngyebagale ŋŋende ne kabaka; kubanga omuddu wo mulema. 27#2 Sam 14:17,20; 16:3Era yawaayiriza omuddu wo eri mukama wange kabaka; naye mukama wange kabaka aliŋŋanga malayika wa Katonda: kale kola ekiri mu maaso go ekirungi. 28#2 Sam 9:7Kubanga ennyumba yonna eya kitange baali bafu bufu mu maaso ga mukama wange kabaka: naye n'otuuza omuddu wo mu bo abalya ku mmeeza yo ggwe. Kale nnina nsonga ki neeyongere okukaabira kabaka? 29#2 Sam 16:4Kabaka n'amugamba nti Ekikwogeza ki nate ku bigambo byo? Nze njogera nti Ggwe ne Ziba mugabane ensi. 30Mefibosesi n'agamba kabaka nti Weewaawo, atwale byonna, kubanga mukama wange kabaka atuuse mirembe mu nnyumba ye ye.
31 #
2 Sam 17:27-29, 1 Bassek 2:7 Awo Baluzirayi Omugireyaadi n'aserengeta okuva e Logerimu; n'asomoka Yoludaani wamu ne kabaka okumusomosa Yoludaani. 32Era Baluzirayi yali musajja mukadde nnyo, nga yaakamaze emyaka kinaana: era yali amuliisizza kabaka bwe yali atuula e Makanayimu; kubanga yali musajja mukulu nnyo. 33Kabaka n'agamba Baluzirayi nti Jjangu osomoke nange, nange ndikuliisiza wamu nange mu Yerusaalemi. 34Baluzirayi n'agamba kabaka nti Ennaku ez'emyaka egy'obulamu bwange zenkana wa, nnyambuke ne kabaka ŋŋende e Yerusaalemi? 35#Zab 90:10Leero naakamaze emyaka kinaana: nnyinza okwawulamu ebirungi n'ebibi? omuddu wo awoomerwa bye ndya oba bye nnywa? nkyayinza okuwulira eddoboozi ly'abasajja abayimba n'abakazi abayimba? kale omuddu wo yandibeeredde ki nate azitoowerera mukama wange kabaka? 36Omuddu wo ayagala okusomoka Yoludaani obusomosi wamu ne kabaka, era olw'ekyo kabaka yandimpeeredde ki empeera eyenkanidde awo? 37#1 Bassek 2:7Nkwegayiridde, omuddu wo addeyo nate afiire mu kibuga ky'ewaffe, awali entaana ya kitange ne mmange. Naye, laba, omuddu wo Kimamu; oyo ye aba asomoka ne mukama wange kabaka; era omukolanga ky'olisiima. 38Kabaka n'addamu nti Kimamu anaasomoka nange, era ndimukola ky'olisiima: era kyonna ky'olyagala okunteekako, ndikukikolera. 39Abantu bonna ne basomoka Yoludaani kabaka n'asomoka: kabaka n'anywegera Baluzirayi n'amusabira omukisa; n'addayo mu kifo kye ye.
40 #
Yos 4:19
Awo kabaka n'asomoka n'agenda e Girugaali, Kimamu n'asomoka naye: abantu bonna aba Yuda ne basomosa kabaka era n'ekitundu ky'abantu ba Isiraeri. 41#2 Sam 19:15Awo, laba, abasajja ba Isiraeri bonna ne bajja eri kabaka ne bagamba kabaka nti Baganda baffe abasajja ba Yuda bakubbidde ki, ne basomosa Yoludaani kabaka n'ab'omu nnyumba ye n'abasajja ba Dawudi bonna wamu naye? 42#2 Sam 19:12Awo abasajja ba Yuda bonna ne baddamu abasajja ba Isiraeri nti Kubanga kabaka atuli kumpi mu luganda: kale musunguwalira ki olw'ekigambo ekyo? twali tulidde n'akatono ekintu kyonna ekya kabaka? oba atuwadde ekirabo kyonna? 43#1 Bassek 11:30,31Awo abasajja ba Isiraeri ne baddamu abasajja ba Yuda ne boogera nti Ebitundu kkumi ebya kabaka byaffe, era ffe tulina bingi mu Dawudi okukira mmwe: kale mwatunyoomera ki obutasooka kubuuza ffe nga muteesa naffe okukomyawo kabaka waffe? Ebigambo eby'abasajja ba Yuda ne bisinga obukambwe ebigambo eby'abasajja ba Isiraeri.
Currently Selected:
2 Samwiri 19: LUG68
Highlight
Copy
Compare
Share
Want to have your highlights saved across all your devices? Sign up or sign in
Luganda Bible 1968 Edition © United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013.

: